TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni asisinkanye bagenero ne bateesa ku ngeri y'okufufuggaza aba ADF

Museveni asisinkanye bagenero ne bateesa ku ngeri y'okufufuggaza aba ADF

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2018

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abaduumizi n’abakulira ebitongole bya bambega b’amagye mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa, Congo ne South Africa ne bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu omuli n’ez’okulwanyisa abatujju naddala ab’ekibiina kya ADF.

Kagu1 703x422

Museveni ng'abuuza ku b'amagye

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abaduumizi  n’abakulira ebitongole bya bambega b’amagye mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa, Congo ne South Africa ne bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu omuli n’ez’okulwanyisa abatujju naddala ab’ekibiina kya ADF.

ADF eyekkukkumye e Congo esinga kutigomya bantu ba mu nsi eyo  oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’ezinnya Uganda olugujje era aba UPDF nga bayambibwako amagye amalala  baabalumbyeyo ne bubeefuka gye buvuddeko.

Ensisinkano wakati wa Pulezidenti Museveni n’abaduumira amagye wamu n’abakulira ebitongole bya bambega b’amagye mu mawanga mawanga  Burundi, Kenya, Rwanda, South Sudan, Tanzania ne Uganda yabadde mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe ,okusinziira ku mawulire agaafulumiziddwa amaka g’obwa Pulezidenti.

Museveni ye ssentebe w’omukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa era baayogedde ku nsonga nnyingi okuli okwekenenya ebikwata ku by’okwerinda wamu n’okutema empenda z’okumalawo obutujju mu kitundu kino naddala obukolebwa ADF.

Abeetabye mu nsisinkano eno basanyukidde ebikwekweeto ebikolebwa amagye ga Congo nga gayambibwako UPDF n’ag’ekibiina ky’amawanga amagatte ekya ‘United Nations Organisation Stablisation Mission (MONUSCO).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye