TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Trump alabudde abagenda mu North Korea: 'Muve awaka nga mulaamye'

Trump alabudde abagenda mu North Korea: 'Muve awaka nga mulaamye'

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2018

AMERIKA erabudde bannansi baayo nti yenna ayagala okutambula okugenda e North Korea mu mbeera yonna, aleke ng’akoze ekiraamo ekirambika obulungi engeri gy’ayagala okumuziikamu n’ebintu bye abigabanye mu benganda.

Cttrumpnorthkoreanuclearwar20170320 703x422

Trump ne Kim

Obubaka baabutadde ku mutimbagano gwa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga bannansi bangi kwe bayita okusaba Visa nga baagala okutambula.

Amerika yatadde North Korea mu luse lw’amawanga ag’obulabe okugendamu mu nkola gye bayita ‘Level 4 - Do Not Travel’ Teyakomye ku North Korea, yanokoddeyo n’amawanga amalala agali mu kiti kino okuli: Iraq, Iran, Afghanistan, Central African Republic, Libya, Mali, Somalia, South Sudan, Syria ne Yemen.

Ekitongole kyayongedde okulabula Bannansi nti newankubadde ekitebe kya Sweden mu North Korea kisobola okubawa obukuumi bwe beetaaga, ssinga wabeerawo afuniddeyo obuzibu, kiyinza okubeera ekizibu Gavumenti ya Amerika okumutuukako okumuwa obuyambi bw’abeera yeetaaga.

Obukodyo bwe babawadde obulala, ssinga oyo ayagala okutambula alaba nga tekyewalika asobola okukolagana ne mukama we amukozesa oba ekitongole ekimukyaza e North Korea n’alambulula enteekateeka gy’ayagala okwekuumamu ng’omuntu.

Mu November omwaka oguwedde, Pulezidenti Trump yavuddeyo n’ategeeza nti North Korea ewagira abatujju abatigomya ensi ng’eyita mu mawanga okuli: Iran, Sudan ne Syria.

North Korea yali ku lukalala lwe lumu kyokka Pulezidenti Bush yagiggyako mu 2008 nga tannaba kuwaayo buyinza.

Trump yawadde eky’okulabirako ky’omuyizi Omumerika Otto Warmbier gwe baasibidde mu North Korea ku ntandikwa ya 2016 okumala omwaka mulamba kyokka baamukubye ebiyiso by’obutwa ne bamuyimbula okudda ewaabwe ng’aweddeyo era yamazeewo wiiki emu n’afa.

Okwesigama kw’ebyo kwe yasinzidde okugizza ku lukalala lw’abatujju. Basoose kumuwozesa nga bamuvunaana okubba ne bamusingisa omusango era yaweereddwa ekibonerezo kyakusibibwa emyaka 15 nga bamukozesa akasanvu.

Bwe baalabye ali bubi kwe kumuyimbula addeyo nga bakimanyi nti agenda kufa.

Amerika okulabula bannansi baayo, kizze nga waakayitawo wiiki ntono nga North Korea erabudde okukasuka mizayiro zikube Amerika era Kim n’alabula nti eppeesa erinasula nukiriya agenda okukuba Amerika alirina ku mmeeza ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...

Bba 220x290

Bba w’omuserikale bamukwatidde...

BBA w'omuserikale wa Poliisi bamukwatidde mu bubbi ng’amenya edduuka abatuuze ne bamukuba ne bamwasa omutwe ne...

Soma 220x290

Abaana ba baze be nnakuza bangobaganya...

NZE Rebecca Namubiru, omutuuze w’e Kirinya Main mu Division y’e Bweyogerere mu Munisipaali y’e Kira. Neevuma lwaki...

Newsengalogob 220x290

Byansaba nnaabisobola?

Nnina omuwala gwe nafunye naye ansaba tutuukire kumu ku ntikko. Bino simanyi oba nnabisobola.

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...