TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde engeri gy'oyinza okukozesa katunguluccumu mu kwejjanjaba ate nga bw'omunogamu ne ssente

Mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde engeri gy'oyinza okukozesa katunguluccumu mu kwejjanjaba ate nga bw'omunogamu ne ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2018

Mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde engeri gy'oyinza okukozesa katunguluccumu mu kwejjanjaba ate nga bw'omunogamu ne ssente

Sob1 703x422

WIIKI ewedde nakulaze emigaso egy’enjawulo egya katunguluccumu ne nkulaga n’erinnya eryo gye lyava. Ka nnyongere okukulaga emigaso emirala gy’ofuna ssinga wettanira katunguluccumu, jjukira nti namukamuddemu omubisi era tawunya ssinga omukozesa nga bwe gubadde ng’olidde ow’empeke.

Ayongeza ku baserikale abakuuma omubiri, Abayindi n’Abachina tebamala ssente na budde mu ddwaaliro babeera mu bizinensi zaabwe nga bakola kuba bakozesa nnyo katunguluccumu.

Katunguluccumu ayamba abaserikale ne balwanyisa endwadde ezandirumbye omubiri ne gusigala nga gwa maanyi.

Abakyala abatera okugenda mu bifo nga si biyonjo ne bafuna obuzibu mu bitundu ebyekyama, abayamba ku kuziyiza n’okuwonya ebirwadde ebyo nga otonnyezzaayo amatondo 10.

Osobola okuko la ensigo za katunguluccumu l Katunguluccumu alimu ssente, era waliwo abalimi abagezezzaako okumulima ne bigaana.

 

Abachina mu nsi yonna be basinga okulima katunguluccumu, era 80 ku 100 atundibwa mu yonna ava China. Kyokka baamuteekamu ekirungo kya ‘Methyl Bromide’ ng’ekirungo kino kiziyiza katunguluccumu okukola, era bw’ogenda mu supamaketi n’omugula n’osimba oyo takula olw’ekirungo kino.

Ky’ova olaba ng’owaabwe abeera atukula, kyokka bw’olima wano obuba buvuddeko buba tebutukula kuba tebubeeramu kirungo kibwerusa. Okukiggyamu osobola okuteeka katunguluccumu mu firiigi okumala emyezi mukaaga, bw’oba togirina oyinza okunoonya ekifo ekinnyogoga n’omukuumiramu ebbanga lye limu era ekirungo ekyo kiba kivaamu n’omulima n’adda bulungi n’ofuna ssente.

Awo katunguluccumu bw’omusimba, ajja kukola bulungi ate oluvannyuma n’osimba oyo. Abachina okumuggyamu ekirungo kino bamutereka mu bunnyogovu obulinga obw’omuzira ne kivaamu n’eba nga nsigo.

Ajja kusigala ng’agejja ate ng’alabika bulungi era ku ofune akatale akalungi. l Ku baana abalina lubyamira, ayamba okwoza amawuggwen’ayozaamu amazzi ago agabalemesa okussa obulungi.

Aggyamu amazzi g’akalulwe mu musaayi n’owona okwengerera, eri abo abafuuka kyenvu.

Ku muntu eyeerabira ennyo, okugeza oli asobola okwerabira akambe mu nkwawa n’akuba n’abaana kyokka ng’alina ayamba okuzigula obwongo, kyova olaba Abayindi n’Abachina tebeerabira ate bagezi nnyo. Azza buggya obutoffaali bw’obwongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....