TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okubba Vanilla bamutemyetemye ne bamutta

Agambibwa okubba Vanilla bamutemyetemye ne bamutta

By Paddy Bukenya

Added 18th January 2018

Agambibwa okubba Vanilla bamutemyetemye ne bamutta

Pu1 703x422

Kateganyi agambibwa okutema omubbi wa Vannila N'amutta ng'ali ku pollisi ye Mpigi

POLIISI ekutte omusajja ssemaka omulimi eyateeze omubbi abadde amubbira Vanira we ekiro n'amutemaatema n'amutta.

Akwatiddwa ye Ansanansio Kateganyi 48 omutuuze we Vumba mu muluka gwe
Jjeza mu gombolola ye Muduuma mu Mpigi nga kigambibwa nti yakakkanye ku musajja gweyataayizza ng'abba Vanilla we n'amutemaatema ebijambiya bw'atyo n'afa nga yaakatuusibwa mu ddwaliro e Mulago.

Wabula Kategenyi bino abyegaanye n'ategeza nti yabadde akuuma vanira we olw'ababbi abamaze ebbanga nga bamubba n'alaba abavubuka abaze ne ttooci ne batandika okunoga Vanilla kati bweyakubye enduulu abatuuze kwekujja ne bataayiza abavubuka abo ne batandika okubakuba.

Agamba nti omuvubuka ono bwebamubuuzizza ebimukwatako natandika okubalimbalimba nti bamuzaala mu Mpigi kyokka nga tayogera mannyage bamututte ewa ssentebe we kyalo Benald SSewanyana kyokka naye n'amuweereza ewa ssentebe w'omuluka abatuuze gye bamusanze ne bamukuba bubi nyo nga agezaako okukweka amannyage poliisi n'emusanga ng'ali bubi n'emuddusa mu ddwaliro gye yafiiridde.

Akulira poliisi ye Mpigi Erias Twesigye ategeezeza nti Kateganyi aguddwaako omusango gw'okutta omuntu ku fayiro namba SD;34/16/01/2018 era wakutwalibwa mu kooti abitebye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....