TOP

Rogers Mulindwa alumbye ab'oludda oluvuganya

By Muwanga Kakooza

Added 18th January 2018

Rogers Mulindwa alumbye ab'oludda oluvuganya

Sed1 703x422

Rogers Mulindwa ng'ayogera

AVUNAANYIZIBWA ku by’amawulire ku kitebe kya NRM Rogers Mulindwa avuluze ab’oludda oluvuganya gavumenti  nti ‘’bakazannyikirizi’’ abatawa kibiina kino kuvuganya kwa kaasameeme.

Era ategeezezza nti kampeyini ya ‘’Tubalemese’’ eyalangiriddwa Col. Kiiza Besigye ne banne terina ky’egenda kukola ku NRM  n’agamba nti ab’oludda oluvuganya bajja kumaliriza bakoze ndala ya  kwegatta ku NRM ng’okuvuganya kubalemye gye yayise ‘’katubeegatteko’’.

Wabula nampala w’ababaka ba DP mu palamenti Joseph Ssewungu (Kalungu West) alabudde Mulindwa akomye okunafuya ab’oludda oluvuganya ng’agamba nti be baatambuliza aba NRM ku bunkenke mu kiseera we babeeredde mu kukyusa Konsityusoni nga batya n’okutuukirira abantu.

Abakulu bombi baabadde bakubaganya birowoozo bya byabufuzi ku leediyo ya FM emu mu Kampala. Mulindwa n’ajjgerega abavuganya gavumenti banafu nnyo era bafuuka bakazanyirizi. ‘’Olaba beesibye obuwero obumyufu. Beesibye ebimyu n’ebirala ebitalina kye bigenda kuyamba’’ bwe yalumirizza.

N’agamba nti NRM ejja kwongera okusokoola ebibiina ebigivuganya ng’ebiggyamu abantu abalimu omulamwa eyongere okusajjalaata.Kyokka ne Ssewungu yagambye nti n’ab’oludda oluvuganya nabo basokoola aba NRM n’agamba nti mu biseera by’okukyusa Konsityusoni abamu (aba NRM) beegasse ku b’ebibiina okukiwakanya.

Kyoka Ssewungu yamugambye nti abasokoolwa mu bibiina ebivuganya ne beegatta ku NRM bonna bafuuka ‘’damegi’’ kuba eryaanyi lye baba nalyo mu ludda oluvuganya ligweerawo ddala.Mulindwa yazzeemu okwegatta ku ba NRM banne okusaba bannaddiini okuggya ebyobufuzi ku bituuti ng’agamba nti ‘’ebyobufuzi  mazina ga nkima’’  tekyetaaaga  mikira gyazo (enkima) gikoone ku maganduula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...