TOP

Eyaguza minisita Kibuule ettakaakwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2018

Eyaguza minisita Kibuule ettakaakwatiddwa

Lob1 703x422

ennyumba ye. Bamugemereire yagambye nti Kateregga ng'akolagana n’abanene abamu bandiba nga baamukozesa okulimba Natoolo 90, n'amuwa obuyinza okusala mu ttaka eritali lirye ng’oluvannyuma lwa Kateregga okwewa omugabo gwe abanene abaamukozesa ne balyeddiza. Wano Bamugemereire we yasinzidde okulagira akwatibwe annyonnyole abantu bonna be yakolagana nabo okweddiza ettaka lya Kabaka mu bukyamu n’engeri gye yatuukamu okuba ne poliisi mu maka ge. Kateregga nga bamutwala annyonnyole.

BBULOOKA w’ettaka eyaguza minisita Ronald Kibuule ettaka eriweza yiika 85 e Kigaya akakiiko kamukutte ayongere okunnyonnyola be yeekobaana nabo mu ofiisi y’ebyettaka okusala mu ttaka lya Kabaka n’okufulumya ebyapa ebifu.

Musa Kateregga yakwatiddwa oluvannyuma lwa ssentebe w’akakiiko kano Omulamuzi Catherine Bamugemereire okukizuula nti, alina abanene n’ebyama bye yabadde akwekerera ebikwata ku ttaka lino eriri ku bbulooka 369 poloti 3 e Kigaya - Golomolo. Bamugemereire yalagidde abaserikale bamutwale bamuggyeko sitetimenti annyonnyole be yakolagana nabo.

Abatuuze be Kigaya baagenda mu kakiiko nga balumiriza minisita Kibuule okubateeka ku bunkenke n’okubatulugunya ng'abagobaganya mu bibanja byabwe oluvannyuma lw’okugula ettaka ku Kateregga. Kateregga bwe yabadde akunyizibwa yagambye nti, ettaka lino lya Namasole Sarah Natoolo eyamukwasa omulimu gw’okulirabirira n’okumuyamba okufuna ekyapa kyalyo mu 2009.

Yagambye nti, mu kumwebaza yamuwaako yiika 100 nga kuno kwe yatoola n'aguzaako Kibuule yiika 85 ku bukadde 120. Yagambye nti okutuuka okufuna ekyapa yasooka mu ofiisi y’ebyettaka e Ntebe n'akola 'saaki' ng'ettaka teribeerangako na kyapa ne bamuwa ne maapu yaalyo gye yatwala mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono, n'akolagana n’abakulu baayo batajjukira abaamuyambako ekyapa okufuluma.

Bamugemereire yamutadde ku nninga ayogere abantu abo abamuyamba okufulumya ekyapa kyokka nga ettaka lyalina ekyapa ekituufu ekyafuluma mu 1923 Kateregga n'atandika okutamattama.

Yagambye nti, munne Mudasiru Nonda y'asinga okumanya abakulu bano mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono nga ye ateekamu buteesi ssente.Oluvannyuma lw’okumukunya ennyo Kateregga yagambye nti e Mukono yayambibwako omuwandiisi w’ebyapa gwe yayise Atalo, abalala takyabajjukira. Kateregga yagambye nti ng’amaze okufuna ekyapa, Natoolo yamusalirako yiika 100 naye n'agoba ku kyapa kye n'akifuna.

Oluvannyuma baamuyunga ku minisita Kibuule n'amuguzaako. Kateregga yalumirizza nti okuva edda ng’amanyi Natooloye Namasole omutuufu (maama wa Kabaka) nga n’ettaka lirye kubanga talabangako muntu awakanya bwannannyini bwe. Yagambye nti okutunza Kibuule teyasooka kutegeeza baabibanja kubanga abantu baali bamulaalise okumutta n'adduka ne ku kyalo.

Yabuuziddwa abava ku poliisi abatigomya abantu nga basula mu nnyumba ye gye yatunza Kibuule n'agamba nti poliisi yennyini ye yamusaba bapangise ennyumba ye ng’obumenyi bw'amateeka bususse mu kitundu kyokka bwe baamusabye lisiiti poliisi kw'emusasulira buli mwezi nga tazirina.

Bwe yalagiddwa annyonnyole engeri Dick Wasswa eyali awakanya Kibuule okugoba abantu mu bibanja byabwe gye yattibwamu aba poliisi mu nnyumba ye, Kateregga n'abalata nti, okufa kya tteeka. Looya w’akakiiko Ebert Byenkya yaggyeeyo obujulizi obulaga nti, Kateregga yasibisa ssentebe w'e Kigaya James Banda olw’okukunga abantu bagaane okuva mu bibanja byabwe n'agamba nti, Banda yamusibisa olw’okuduumira abantu bakoone ennyumba ye.

Bamugemereire yagambye nti Kateregga ng'akolagana n’abanene abamu bandiba nga baamukozesa okulimba Natoolo 90, n'amuwa obuyinza okusala mu ttaka eritali lirye ng’oluvannyuma lwa Kateregga okwewa omugabo gwe abanene abaamukozesa ne balyeddiza.

Wano Bamugemereire we yasinzidde okulagira akwatibwe annyonnyole abantu bonna be yakolagana nabo okweddiza ettaka lya Kabaka mu bukyamu n’engeri gye yatuukamu okuba ne poliisi mu maka ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze