TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baganda ba Mulindwa Muwonge bakkirizza eby’okuziikula omugenzi

Baganda ba Mulindwa Muwonge bakkirizza eby’okuziikula omugenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2018

Baganda ba Mulindwa Muwonge bakkirizza eby’okuziikula omugenzi

Lin1 703x422

Omugenzi Mulindwa Muwonge

BAGANDA ba Mulindwa Muwonge ababadde bawakanya okuziikula omugenzi bamaze ne bakkiriza kikolebwe basobole okuggya obutoffaali ku mulambo okukakasa obuzaale bw’abaana.

Okukebera abaana okwasooka, baafuna abaana ba Mulindwa Muwonge 8 ebyava mu musaayi ne biraga nga byonna bikwatagana era bano be baakozesa okukebera abalala gye baazuulidde nti abaana abamu tebaali ba mugenzi. Wabula kati baganda b’omugenzi okuli Sulaiman Muwonge ne Swaibu Muwonge bagamba nti nabo kati bakkirizza omugenzi aziikulwe bwe kiba nga kye kinaayamba okumanya ekituufu ku buzaale bw’abaana buli kimu kiggwe bulungi.

Kyokka baganda b’omugenzi baategeezezza nti okuziikula omufu kirina kukolebwa nga bayita mu mateeka nga ne ofi isi ekola ku nsonga z’abafu ekyenyigiddemu kubanga yayingizibwa dda mu nsonga zino era ezimanyi bulungi Baawagiddwa Aloysious Matovu Joy eyagambye nti kituufu okuziikula Mulindwa Muwonge aggyibweko obutoffaali bwe buba bweyambisibwa okukebera obuzaale bw’abaana n’avumirira enkola eyakozesebwa mu kusooka n’agamba nti yali nkyamu.

Swaibu Muwonge yawakanyizza ebyogerwa nti baagala kubba bintu bya mufu n’agamba nti muganda waabwe teyalina byabugagga ne ssente z’awulira obukadde 70 eziri ku akawunti ye tazirabangako n’ekirala bo bantu abaliko byebeekolera mwebaggya sente ezibayimirizaawo.

Yajjukizza nti n’okukebera abaana omusaayi, kyajja lwa bamulekwa okutandika okukaayana bokka na bokka naddala abakulu nga baagala okugabana ebintu bya kitaabwe n’olwekyo tewabangawo muntu mulala wa luganda akaayanira bintu nga bwe kigenda kyogerwa.

Yalumirizza nnamwandu Hellen Nambi nti ye yalina entegeka z’okukyusa ekyapa ky’e Nalumunye ne bamulabuukirira mangu ne bamulemesa bwe baakimulaga nti amaka gano gateekeddwa kubeera ga baana bonna so sibabe bokka kugeeyagaliramu. Swaibu agattako nti Nambi alina abaasooka okumuwubisa nti ab’ekika kya Mulindwa Muwonge baali bagenda kumugoba mu nnyumba ekitaali kituufu ye kwe kukola obwangu ageeekomye yekka n’abaana be.

 atovu oy ngasoma ukedde ku bya ulindwa uwonge Matovu Joy ng’asoma Bukedde ku bya Mulindwa Muwonge.

 

Agattako nti baakola olukiiko lw’abeekika okwali n’abaana ba Muwonge ne babuuza Nambi wa gy’alowooza abaana ba Mulindwa (Nambi b’atazaala) gye balibeera ne gye balikoleranga emikolo bwe balibeera bagifunye ye n’addamu nti; Bwe balibanga baagala okukozesa awaka, bajjanga kusaba olukusa. Swaibu agamba nti ekyo nakyo kyabakuba wala.

Swaibu agamba nti eky’okukebera abaana omusaayi kyava ku bamu ku baana okutegeeza nti abaana ba Nambi abaali bateekeddwa ku kyapa ky’e Nalumunye tebaali ba mugenzi era newabaawo okusaba buli mwana wa Mulindwa Muwonge akeberebwe okukakasa obuzaale bwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...