TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulabirizi wa West Buganda alabudde ku ntalo z'eby'obufuzi

Omulabirizi wa West Buganda alabudde ku ntalo z'eby'obufuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2018

Omulabirizi wa West Buganda alabudde ku ntalo z'eby'obufuzi

Kat1 703x422

Bya Maria Nkayeyune
 
OMULABIRIZI wa West Buganda Henry Katumba Tamale asabye Bannabyabufuzi mu Disitulikiti  y'e Ssembabule okukomya entalo mu byobufuzi ekiyinza okubaviirako okuttingana.

Ono abalabudde okubeera n'obuntu bulamu mu mirimo gye bakola, okuwangana ebitiibwa ssaako okufuba okugattibwa mu bufumbo obutukuvu ng'omulanga gw'omwaka guno bwe gwesigamiziddwa ku kukuuma amaka amatukuvu.

 

Okwogera bino abadde mu kusabira abakulembeze ku Disitulikiti eno ng'okusaba kubadde mu Kizimbe omutuula Kkanso ya Disitulikiti y'eSsembabule nga kwetabiddwaamu ne Bannaddiini abalala okuva mu Busabadinkoni obwenjawulo. 

 

Ssentebe wa Disitulikiti eno Dr Elly Muhummuza yeeyamye okutwala mu maaso enkolagana y'eKkanisa ne Disitulikiti mu maaso n'okukyusa enneeyisa yaabwe eri be bakulembera n'asiima ekkanisa olwokuyambako Gavumenti mu kutandikawo amasomero ate ne gayisa bulungi abayizi. 

Omubaka wa President eSsembabule Henry Baguma alabudde abakulembeze okubeera ekyokulabirako eri abaana baabwe baleme kubavumaganya n'alaga obwennyamivu olw'agamu ku masomero g'ekkanisa obutaba na basomesa bamala n'asaba Omulabirizi okugenda mu Ministry ebayambeko. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...