TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ssekandi asiimye essomero lya Kkingo e Lwengo

Ssekandi asiimye essomero lya Kkingo e Lwengo

By Musasi wa Bukedde

Added 20th January 2018

OMUMYUKA wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi ayozaayozezza abayizi b’essomero lya Kkingo Parents P.s abasobodde okuteeka Uganda ku maapu y’ensi yonna bwe baakola obulungi ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu omwaka oguwedde ne bakwata ekifo eky’okutaano n’okubeera nnamba emu mu ssomo lya SST.

Wona 703x422

Omumyuka wa Pulezidenti, Kiwanuka Ssekandi ng'ali ku mukolo. Ku kkono ye dayirekita wa Kingo Parents

Ssekandi ku mukolo kwe yakwasirizza abayizi satifikeeti zaabwe n’okutikira abayizi 28 abaavudde mu kibiina ekya Nursery.

Ssekandi obuwanguzi buno abujuliza abazadde n’abasomesa abakoze omulimu amatendo okusomesa abayizi n’akuutira abazadde okwongera obungi bw’abaana mu ssomero lino erigenze mu byafaayo mu Lwengo ne Uganda okutwaliza awamu.

“Abazadde temulowooza nti abaana bammwe bwe mbakwasizza ebbaluwa zino nti n’okusoma kuweddeyo, muweerere abaana basobole okufuuka nga nze enkya,” Ssekandi bwe yategeezezza Mu ngeri y’emu, essomero lino lyakuziza amazaalibwa ga Ssekandi ne bamusalira keeki ey’okumuyozaayoza.

Avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu Lwengo, Robert Tuwanje yasinzidde ku mukolo guno ne yeebaza Gavumenti eyazimbidde Bannalwengo amasomero mwenda ng’eyita mu Bbanka y’ensi yonna eya World Bank.

Dayirekita w’essomero lino, Robert Asiimwe yeebazizza Gavumeni okubatwala kye kimu n’amasomero gaayo ne yeeyama okwongeramu amaanyi mu by’ensoma by’abayizi.

Yasiimye ekitongole ekikuuma ddembe ekisobodde okulawunanga mu ssomero lino abayizi ne basoma nga tebalina kibateteganya.

Abasomesa ba SST bakwasiddwa pikipiki ng’akasiimo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana