TOP

Gavt. ekomyawo etteeka ly’ettaka

By Kizito Musoke

Added 20th January 2018

GAVUMENTI etegeezezza nga bw’egenda okukomyawo etteeka ly’ettaka mu Palamenti eriruubirira okugiwa obuyinza obutwala ettaka ne balikozesa nga tebamaze kukkaanya na nnannyini ku ssente z’okumuliyirira.

20131largeimg229jan2013112134757703422 703x422

Kahinda Otafiire, minisita w’ensonga za Ssemateeka yategeezezza akakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka akakubirizibwa Jacob Oboth Oboth (West Budama South) nti oluvannyuma lw’okuyisa etteeka eriggyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti, kati essira bagenda kuliteeka ku tteeka ly’ettaka.

Kyaddiridde ababaka okubuuza Otafiire, Gavumenti weeyimiridde ku tteeka ly’ettaka kuba yali asuubizza okukomawo ku nsonga y’emu mu kakiiko oluvannyuma lwa wiiki bbiri kyokka n’ataddamu kulabikako.

Etteeka ly’ettaka lyali lifunye okuwakanyizibwa okuva mu bantu ab’enjawulo okuli; bannaddiini, abakulembeze b’ensikirano n’abakulembeze abalala ekyawaliriza minisita okusaba akakiiko okumuwaayo ekiseera abeereko bye yeebuuza.

Otafiire yawakanyizza ebigambibwa nti Gavumenti yabadde eri mu ntegeka za kusuula mu kasero etteeka ly’ettaka oluvannyuma lw’okuyisaawo etteeka eriggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

“Gavumenti terina ntegeka za kuleka tteeka lya ttaka kuba tulyetaaga, era tujja kuliwa obuwagizi bwonna obwetaagisa okulaba nga tuliyisa lifuuke etteeka,” Otafiire bwe yagambye.

Kyokka Gaster Mugoya (Bukooli North) yawakanyizza ebigambo bya minisita n’ategeeza nti ababaka ba kabondo ka NRM bakkiriziganya okukola ennoongoosereza mu bbago ly’etteeka ly’ettaka era ne bateekawo n’akakiiko kakole enoongoosereza.

Oluvannyuma lw’etteeka lino okuwakanyizibwa okuviira ddala mu babaka ba NRM, nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa yayita ababaka ba NRM ne bakkaanya okuteekawo akakiiko kanoonyereze ku nsonga abantu ze baali beemulugunya mu tteeka.

Ebbago ly’etteeka ly’ettaka lyayanjulwa mu Palamenti mu 2017 nga lyagala kukyusa ennyingo ya 26 eya Ssemateeka w’eggwanga ebadde egamba nti Gavumenti nga tennaba kutwala ttaka lya muntu yenna kulikolerako , nannyini alina kusooka kuliyirirwa era ng’akkiriziganya n’omuwendo gwe bamuwadde.

Ennongoosereza ezireeteddwa Gavumenti bw’emala okusiima ettaka, omubalirizi wa Gavumenti omuwendo gw’aba abaliridde gwe baliyirira nnannyini ttaka.

Nnannyini ne bw’abeera tamatidde abeera alina okuva ku ttaka, olwo ne yeekubira enduulu mu kkooti, kyokka nga pulojekiti ya Gavumenti teyimiridde.

Embeera y’okuwakanya etteeka yawaliriza Pulezidenti Museveni okutandika okutalaaga ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’agenda asomesa abantu ku tteeka ng’akozesa leediyo z’omu bitundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.