TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen. Mugisha Muntu avuddemu omwasi: 'Nnnyinza okwabuulira FDC'

Gen. Mugisha Muntu avuddemu omwasi: 'Nnnyinza okwabuulira FDC'

By Muwanga Kakooza

Added 20th January 2018

GEN. Girigooli Mugisha Muntu agambye nti ayinza okwabulira FDC singa anaalemwa okukwatagana nabo ku butategeeragana obugenda maaso mu kibiina kino.

Mugisha20 703x422

Mugisha Muntu (kkono) ng’ayogera gye buvuddeko. Ku ddyo ye mwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda era omubaka wa Kira munisipaali.

Kyokka yagambye nti kikafuuwe okuddayo mu NRM gye yava  kuba ‘’Pulezidenti Museveni  yava dda ku mulamwa’’ ng’ate ekibiina ky’akulembera kiri ku ndiri kyolekedde okufa.

Yabadde ayogera ku leediyo ya FM emu mu Kampala n’agamba nti ali mu kutalaaga ggwanga ng’asisinkana aba FDC n’abantu abalala okusalawo ekiddako.

Mugisha Muntu yali muduumizi wa ggye lya UPDF n’avaayo ne yesogga FDC n’afuuka pulezidenti w’ekibiina kino okumala emyaka etaano gy’ayogerako olunnye nti tegimubeeredde myangu olw’okugugulana okubadde munda mu kibiina.

Kyokka yagambye nti ekyamutuuseeko w’abeeredde pulezidenti w’ekibiina tayagala kituuke ku munne Patrick Amuriat eyamuddidde mu bigere n’asuubiza okwogeraganyanga naye ku nsonga zino.

Amuriat  akkiririza mu kuguguba omuli n’okwekalakaasa nga balwanyisa gavumenti ya Pulezidenti  Museveni agamba nti ‘’tosobola kuweeweeta nnakyemalira n’omuggya mu buyinza’’ kyokka Mugisha Muntu  agamba nti kyetaagisa kuzimba kibiina kino okuva  ku byalo kiryoke kifune embavu okutwala obuyinza kyokka banne tebamuwuliriza.

Wabula Mugisha Muntu yagambye nti obwongo bwe bukyali buggule ng’agenda maaso n’enkung’aana z’okwebuuza ku bantu asalewo ekisembayo awatali kupapirira.

Abamu ku bantu okwabadde n’abakubi b’amasimu baamugambye atandike ekibiina ekikye kye yagambye nti akirowoozaako singa ebya FDC binaagaana.

Yagambye nti abamu ku bamuwagira mu FDC bagamba ekibiina akiveemu, abalala baagala asigalemu.

Kyokka yagambye nti entebe y’Obwapulezidenti agyagala era Katonda bw’amuwa omukisa ajja kwesimbawo omulundi oguddako.

Omutandisi w’ekibiina kino Col. Kiiza Besigye ng’ayogera gye buvuddeko yeegaana eby’okuyeekera Mugisha Muntu ng’amulemesa okudda ku bwapulezidenti bw’ekibiina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kas11 220x290

Abadde akulira poliisi y'ebidduka...

Abadde akulira poliisi y'ebidduka mu ggwanga awaddeyo office

Mbizzi1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

BW’OBA waakufuuka mulimi oba omulunzi ow’enjawulo tosooka kutunuulira ssente mmeka z’osuubi ra kufuna wabula lwana...

Zan13 220x290

Agambibwa okufera abantu emirimu...

Agambibwa okufera abantu emirimu akwatiddwa

Mutu 220x290

Muwala wa munnamagye Kyaligonza...

PAULINE Ntegeka abadde abeera mu Bungereza, ku Lwokutaana yabadde agenda mu kinaabiro n’aseerera n’agwa n’akubawo...

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...