TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa takisi abuliddwa eza loogi omukwano n'agusindira mu bbaala

Owa takisi abuliddwa eza loogi omukwano n'agusindira mu bbaala

By Moses Lemisa

Added 20th January 2018

DDEREEVA wa takisi bamukutte asinda omukwano ne muganzi we mu bbaala n’ategeeza nga bw’atabadde na ssente za loogi.

Daakinenalwaddaabaasangiddwangabasindaomukwanomubaala1 703x422

Owa takisi Daaki ne muganzi we be baakutte.

DDEREEVA wa takisi bamukutte asinda omukwano ne muganzi we mu bbaala n’ategeeza nga bw’atabadde na ssente za loogi.

Alex Daaki omutuuze w’omu Kibe zooni ng’avuga takisi ku luguudo lw’e Salaama ne Cissy Nalwadda 20, ng’alina ebbaala mu Kaleerwe beebaakwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga.

Baasangiddwa lubona nga basindira omukwano mu bbaala. Okukwatibwa baalabiddwa omu ku kasitoma eyabadde asigadde mu bbaala ng’era ye yabalonkomye poliisi n’ebakwata.

Nalwadda yategeezezza nti kituufu baabasanze basinda omukwano naye kyabadde kya lumu ng’era Daaki muganzi we bamaze naye emyezi munaana.

Yagasseeko nti mu bbaala abadde tasulamu ng’asula wa muganda we wabula ku luno muganzi we olwazze ng’ate talinaamu za loogi ne basalawo okwesanyusiza mu bbaala.

Yagambye nti alina abaana babiri nga yabazaala mu Isaac Bugira makanika mu kibuga ng’ono baayawukana naye kati mwaka mulamba.

“Bannange baafande ebintu by’omukwano mubimanyi ate ekirala ebbaala yange lwa kuba ensobi gye twakoze kukoleramu bikyamu nsaba munsonyiwe sigenda kuddamu tujja kufunanga loogi,” Nalwadda bwe yategeezezza.

Daaki agamba nti talina mukazi nga Nalwadda ye muganzi we ng’era bulijjo babadde bagenda mu loogi oba n’amutwala ewuwe naye ku luno sitaani yabakemye ne basindira omukwano mu bbaala ng’ekizibu kyavudde ku butaba na ssente.

“Afande naawe oli musajja okimanyi bulungi nti omukwano ebiseera ebimu waliwo we gutuuka nga tokyasobola kugufuga naye nsaba kisonyiwo sigenda kuddamu kikolera mu bbaala,” Daaki bwe yategeezezza.

Julius Mutyaba omu ku batuuze yategeezezza nti ekitundu kyabwe kirimu obuseegu bungi ng’abantu abamu bamanyi n’okusindira omukwano ku bifuji by’amayumba ekivuddeko abaana okwonooneka.

Yasabye abakulembeze okusitukiramu okulwanyisa ebikolwa by’obuseegu kuba abasinga babikola batamidde.

Daaki ne Nalwadda bagguddwaako omusango gw’okukola ebitasaanidde mu bantu ku fayiro SD: 04/12/01/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.