TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayagala gav't etandikewo yunivasite y'amagye

Museveni ayagala gav't etandikewo yunivasite y'amagye

By Muwanga Kakooza

Added 20th January 2018

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti ayagala gavumenti etandikewo yunivasite y’amagye ng’etendeka emirimu gy’ekikugu nga; obusawo, obwayinginiya n’ebirala nga bw'esomesa n'abantu baabulijjo abasobola okwesasulira.

Dt19liwxkaans1r 703x422

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti ayagala gavumenti  etandikewo yunivasite y’amagye ng’etendeka emirimu gy’ekikugu nga; obusawo, obwayinginiya n’ebirala nga bw'esomesa n'abantu baabulijjo abasobola okwesasulira.

Pulezidenti bino yabitegeezezza b'ofiisa b’eggye erimukuuma erya SFC mu lukung’aana lw’ennaku ebbiri olukwata ku bwasseruganda bw’omufirika (Panafricanism), enkulaakulana y’abantu, omuntu okwekulaakulanya ssekinnoomu n’okubeera mu bulamu obulungi ogubadde e Ntebe.

Yagambye nti omwoyo gw’eggwanga n’obwasseruganda bw’Omufirika bijja kuymba okutereeza eby’okwerinda n’okufuna obutale bw’ebikolebwa.

Museveni yategeezezza nti ye ng’omuntu tali mu yinsuwa n’agamba nti yinsuwa ye kwe kuba nga Uganda erimu emirembe.

Yayongeddeko nti ensi ekula olw’enkulaakulana mu by’okusoma, ebyempuliziganya, ne tekinologiya okutambula obulungi, n’akunga abali mu bifo by’obuvunaanyizibwa nti kibakakatako okutuukiriza emirimu gyabwe nga bawereza eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe