TOP

Kiki ekirwanya Qatar ne UAE?

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2018

EMBIRANYE wakati w’Amawanga g’omu Buwalabu ag’enjawulo eyatandika mu July wa 2017 esajjuse buto era katono Qatar ne United Arab Emirates bibabugume ku ntandikwa ya wiiki eno.

Mwana 703x422

Ekitundu mu UAE Omulangira wa Qatar ku kkono gy’agamba gye baamuwambidde.

Entabwe yav udde ku Mulangira wa Qatar, Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani okuweereza obubaka nti awambiddwa UAE.

Sheikh ono eyeewaggula mu June wa 2017 ku Qatar, aboobuyinza mu United Arab Emirate (UAE) ne bamuwa obubudamu n’atandika okusojja aboolulyo Olulangira olufuga mu Qatar.

Ekiseera ekyo amaw ulire ge gasaasaana nti Saudi Arabia ne UAE ziteekateeka okulumba Qatar ziggyeko omukulemebeze waayo (Amir) Sheikh Tamim bin Hamad Al Thani zimusikize Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani.

Ekyo ky’ekiseera Saudi Arabia lwe yasibira Qatar ekikookolo bwe yalangirira nga June 5, 2017 nti yali emenyeewo mbagirawo enkolagana yaayo ne Qatar era n’eggalawo ensalo zaayo ez’oku ttaka, ku nnyanja, n’ezomu bwengula n’efuumuula bannansi ba Qatar n’okuggalawo amakampuni gaayo agali mu Saudi Arabia.

Enkeera nga June 6, 2017 amawanga agalinnya mu kimu ne Saudi Arabia okuli; UAE, Yemen, Misiri, Bahrain, Mauritania, n’ekizinga ekya Maldives, geegatta ku Saudi Arabia nago ne galangirira nga bwe gaali gamenyewo enkolagana yaago ne Qatar mu buli kimu era nago gaagaana Qatar okubuusiza ennyonyi zaayo mu bwengula bwabwe.

 nnyonyi ezigambibwa nti za atar ezaasazeeko eza  omwabadde abasaabaze Ennyonyi ezigambibwa nti za Qatar ezaasazeeko eza UAE omwabadde abasaabaze.

Nga Qatar bigisobedde olw’engeri ey’ekibwatukira Saudi Arabia n’amawanga ago gye gaag yefuulira nga teweereddwa mukisa kumanya musango gwe yazzizza n’entabwe we yav udde, Omulangira Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani baamwekangira ku mikutu gy’amawulire egy’omu UAE ne Saudia Arabia ng’ata akakaka.

Omulangira Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani yayogerera Qatar ebikakana era n’awagira ebyali bisaliddwaawo Saudi Arabia eyatuuka n’okukissa ku Qatar nti ensi ewagira obutujju era evujjira abatujju abazze batega bbomu mu mawanga ga Buwalabu, Bulaaya ne Amerika.

OMULANGIRA ‘KAGIIKO NATTABULA’ ATUUKA MU KUWAIT

Emyezi musanvu egiyise, Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani abadde afunvubidde mu kulima Qatar empindi ku mabega kyokka ku Ssande nga Januar y 14, 2018, Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani bwe yeekutte ku katambi ka vidiyo n’akasaasaanya mu mikutu gy’amawulire ng’agamba nti ali mu buwambe mu UAE.

Mu katambi, Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani yagambye nti mu kiseera kino muwambe mu UAE era alina okutya nti ekiseera kyonna bayinza okumutuusaako obulabe n’alumiriza Omulangira wa Abu Dhabi alinze okusikira nnamulondo, Shiekh Mohammed bin Zayed Al Nahyan.

“ Ndi wano Abu Dhabi, mbadde mugenyi wa Sheikh Mohammed bin Zayed Al Nahyan naye sikyali mugenyi we wabula ndi musibe we. Mpeereddwa ebiragiro nti sikkirizibwa kuva wano, ndi mu kutya kungi. Njagadde ensi yonna ekitegeere naddala abantu b’omu Qatar nti ssinga wabaawo ekituuka ku bulamu bwange, Gavumenti ya Qatar si y’eneeba ekikoze wabula eya UAE”, bwe yagambye.

 mulangira wa atar eyeewambye heikh bdullah bin li l hani Omulangira wa Qatar eyeewambye, Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani.

Newankubadde Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani abadde alima Qatar empindi ku mabega, akatambi ke yafulumizza ab’obuyinza mu Qatar baakakumyemu omuliro nga balumirizi UAE okuwamba n’okuggalira Omulangira waayo ne batiisatiisa okukolawo akatiisa mu ssaawa 12 eziddako.

ABA UAE BEERWANAKO

Eby’okuwamba Omulangira Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani, UAE yabyegaanyi, era akulira ekitongole eky’Ebyokwerinda ekirwanyisa obwannalukalala, Ali Rashed al-Nuaimi, yagambye nti Sheikh Abdullah si muwambe n’annyonnyola nti ye (Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani) ye yasaba gavumenti ya Abu Dhabi okumukuuma ng’agamba nti k’adduse mu Qatar , obulamu bwe buli mu katyabaga UAE yapondoose n’essa Omulangira Shiekh Abdullah bin Ali Al Thani ku nnyonnyi eyamututte mu Kuwait.

Sheikh Abdullah yalabiddwa nga bamuvugira mu kagaali k’abalema ng’atuuse mu Kuwait gye yatwaliddwa butereevu mu ddwaaliro.

QATAR NE UAE ZIFA KI?

Ku Mmande nga January15, 2018, embeera yeeyongedde okutabuka, Qatar bwe yay ungudde ennyonnyi zaayo ennwaanyi ne zitaayiza ennyonnyi z’abasaabaze eza UAE mu ngeri abakulembeze b’omu UAE gye baagambye nti yatadde obulamu bw’abasaabaze mu bulabe.

UAE yalumirizza Qatar nti ennyonyi zaayo ennwaanyi zaataayizza ennyonyi za UAE bbiri ez’abasaabaze.

 abaka wa audi alman ku kkono ali nmulangira wa atar heikh bdullah bin li l hani omwaka oguwedde Kabaka wa Saudi Salman, (ku kkono), ali n’Omulangira wa Qatar Sheikh Abdullah bin Ali Al Thani omwaka oguwedde.

Ennyonyi ey’ekika kya Boeing 777 eya kkampuni ya Emirates ey’omu Dubai n’ennyonyi endala eya kkampuni ya Etihad eya Abu Dhabi nga zombi zaabadde zigenda Bahrain ze zaataayiziddwa.

Dayirekita ow’ekitongole eky’entambula z’ennyonyi mu UAE Saif al-Suwaidi yategeezezza ab’ekitongole ky’amawulire ekya WAM News Agency eky’omu UAE nti ennyonyi ennwaanyi eza Qatar zaasoose kwekiika mu kkubo ly’ennyonnyi ya Emirates ku ssaawa 4:30 ez’oku makya ne ziddamu era ne zeekiika mu kkubo ly’ennyonyi ya Etihad ku ssaawa 5:05 ez’oku makya.

Suwaidi yannyonnyodde nti Qatar yakoze ekintu eky’obulabe ekyatadde obulamu bw’abantu mu katyabaga kuba ennyonyi ennwaanyi zaabadde mu bbanga lya mayiro nga bbiri zokka okuva ku nnyonyi z’abasaabaze n’agattako nti ekikolwa kya Qatar kyatadde obulamu bw’abantu 277 abaabadde ku nnyonyi zombi mu bulabe.

Kyokka omwogezi wa minisitule ey’Ensonga ez’ebweru mu Qatar, ZLolwa Al Khater, yawakanyizza eby’ennyonyi zaabwe ennwaanyi okutaayiza oba okwekiika mu kkubo ly’ennyonyi za UAE.

ZLolwa Al Khater, yalumirizza UAE nti mu wiiki nga bbiri eziyise, ennyonyi ennwaanyi eza UAE zaasalimbidde mu bwengula bwa Qatar era ensonga Qatar yaziroopa mu kibiina ky’amawanga amagatte.

Ng’oggyeeko okuloopa mu kibiina ky’amawanga amagatte, Qatar era yaloopa UAE mu kitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa mu ntambula ez’omu bbanga ekya International Civil Aviation Organization nga baagala UAE ekangavvulwe. Qatar yalumiriza UAE nti ennyonyi zaayo ennwaanyi zaasaalimbira mu bwengula bwa Qatar enfunda bbiri; nga December 21 2017 ne January 3, 2018 kyokka (Qatar) baakuumye obukkakkamu kuba baabadde basobola okuzikuba.

mulangira wa bu habi heikh ayed gwe baawayirizza nti awambye owa atarOmulangira wa Abu Dhabi Sheikh Zayed, gwe baawayirizza nti awambye owa Qatar.

AMERIKA EBIYINGIDDEMU

Embeera yeeyongedde okutabuka ku Lwokusatu, amawanga gombi, Oatar ne UAE bwe geetiisatiisizza okukubagana nga buli ggwanga lirumiriza linnaalyo okwenyigira mu bikolwa ebisosonkereza n’okwagala okutandika olutalo.

Ku Lwokuna, UAE nayo yategeezezza nga bwe yeekubidde enduulu mu kibiina ky’Amawanga Amagatte ekiyitibwa International Civil Aviation Organisation nga baawaabira Qatar okwegeza mu kutta abantu 277 abaabadde mu nnyonyi ebbiri ezigambibwa okutaayizibwa ku Mmande Omumyuka wa Dayirekita w’ekitongole kya UAE eky’entambula z’ennyonyi General Civil Aviation Authority, Ismaeil Mohammed Al Blooshi, yagambye nti UAE eyagala ekibiina ky’amawanga amagatte kinoonyereze ku Qatar era ekangavvulwe.

Wabula Amerika ng’erina ekitebe ky’ebyekijaasi ekya U.S. Air Force Central Command ekisangibwa mu Qatar yategeezezza nti ebyuma byabwe ebikessi ebiri mu bwengula tebyalabye nnyonyi nnwaanyi eza Qatar nga zitaayiza ennyonnyi za UAE.

Omwogezi w’ekitebe kya Amerika ekya U.S Air Force Central Command ekirina ekitebe mu al-Udeid Air Base, Lt. Col. Damien Pickart yagambye nti ssinga ennyonnyi za Qatar zaabadde zigezezzaako okwekiika mu maaso g’ennyonyi za UAE bandibadde bakirabye.

ulezidenti wa merika lwe yayanirizza mulangira wa bu habi heikh ayedPulezidenti wa Amerika lwe yayanirizza Omulangira wa Abu Dhabi Sheikh Zayed.

 

OBUZIBU BUVA WA?

Obutakkaanya bwa Qatar ne UAE katundu butundu ku mbiranye ey’amaanyi mu Bawalabu ng’oludda olumu kuliko Saudi Arabia ate oludda olulala luliko Iran amawanga agatalima kambugu era agamaze emyaka n’ebisiibo nga gawalaggana.

Saudi Arabia y’ekulembedde amawanga okuli; UAE, Misiri, Bahrain, Yemen n’amawanga amalala agasingamu Abasiraamu Abasunni’.

Iran ekulembedde amawanga g’Abawalabu agalina obutakkaanya ne Saudia naddala okuli; Oman, Syria, Lebanon, Iraq n’amalala agasingamu Abasiraamu Abashia.

Mu lutalo lwayo ne Iran, Saudi Arabia yalemwa okwahhanga Iran obutereevu n’erumbako Qatar gye wandiyise ensi ‘nnyamayaalwo’ olw’obutono bwayo mu sayizi nnewankubadde nga mu byenfuna, nsi y’amaanyi

SAUDI ARABIA ERWANIRA

kubeera ku NTIKKO Okumanya nga Qatar nsi akasirikitu, Saudia Arabia egikubisaamu emirundi 186 kuba Qatar eri ku ttaka lya bugazi bwa 11,586 sq km, so nga Saudi Arabia eri ku ttaka lya bugazi bwa 2,149,690 sq km.

Uganda eri ku ttaka lya bugazi bwa 241,038 Sq km, ekitegeeza nti Uganda ekubisaamu Qatar emirundi 20 ate nga weetaaga Uganda 9 okufuna Saudi Arabia.

Saudi Arabia erwana okufuuka ensi esinga amaanyi, n’obuyinza mu Buwalabu nga kino okukituukako erina okusooka okufutiza n’okunafuya Iran n’amawanga aga Abashia agali mu Buwalabu.

Eno y’ensonga lwaki Saudi Arabia ewagira abalabe ba Iran era ekoze buli ekisoboka okulaba nti ensi za Bulawabu ne Bulaaya zikyawa Iran gye balumiriza okuwagira obutujju mu Bulawabu, ne Bulaaya wamu n’okugezaako okuweesa ebyokulwanyisa nnamuzisa, ekintu Iran kyewakanya.

Mu kiseera kino Iran ne Saudi Arabia ziri mu kulwanaganira mu Yemen, ensi etaaguddwataaguddwa olutalo nga terina njawulo na Libya.

Saudi Arabia erumiriza Iran okuwagira obutujju n’okupokera abayeekera ensimbi n’ebyokulwanyisa okuwamba gavumenti ez’enjawulo mu mawanga aga Buwalabu.

Mu butakkaanya bwayo ne Iran, Saudi Arabia ewagirwa Amerika kyokka ku butakkaanya obuliwo ne Qatar, Amerika yalangira nti yo terina ludda era enteeseganya ez’okumalawo obutakkaanya bwa Saudi Arabia ne Qatar, Amerika eziri wakati.

Amawanga ga Bulaaya amalala ne Asia nga Bungereza, China, nago gagamba nti tegalina ludda Baminisita ba Amerika, Rex W. Tillerson ow’ensonga ez’ebweru ne James Mattis ow’ebyokwerinda balina kaweefube gwe baliko okulaba nti embeera edda mu nteeko.

Saudi Arabia yassaawo obukwakkulizo 10 bw’eyagala Qatar okutuukiriza okuzzaawo enkolagana nga mulimu: Okulangirira nti tejja kuddamu (Qatar kuwagira butujju, okuggala emikutu gy’amawulire okuli Al Jazeera, Arabi21, Rassd, Al-Araby Al-Jadeed ne Middle East Eye, okuggala enkambi y’amagye ga Butuluuki mu Qatar, n’obukwakkulizo obulala kyokka Qatar yategeeza nti tewagira butujju.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...