TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasibe basattira lwa Museveni okusalawo okubawanika ku kalabba

Abasibe basattira lwa Museveni okusalawo okubawanika ku kalabba

By Kizito Musoke

Added 21st January 2018

Uganda yakoma okuwanika omuntu ku kalabba nga April 7, 1999 bwe baawanika Hajji Musa Ssebirumbi eyali ssentebe wa UPC e Luweero.

Hangmansnoose1 703x422

Omuguwa ogufaanana nga gwebakozesa okusiba akalabba

  Bya KIZITO MUSOKE  ne JOSEPH MAKUMBI

ABASIBE abaasalirwa ogw’okufa babuutikiddwa ekiyongobero Pulezidenti Museveni bwe yategeezezza nti, alowooza ku ky’okutandika okussa omukono ku fayiro z’abantu abaasalirwa ogw’okufa bawanikibwe ku kalabba.

Ensonda mu kkomera e Luzira zaategeezezza nti, abamu ku basibe bano emmere yabalemye okulya oluvannyuma lw’okutegeezebwa ebyayogeddwa Pulezidenti Museveni nga n’abamu ku bo baali bataddeyo okusaba abasonyiwe ng’akozesa obuyinza obumuweebwa nga Pulezidenti.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde mu kkomera e Luzira yagambye nti, ebikolwa eby’okutta abantu mu ggwanga bisusse ebitakyayinza kugumiikirizika nti, abadde yattira abantu bano abaasalirwa ogw’okufa ku liiso olw’endowooza ye nga Omukrisitaayo naye ajja kugissa ku bbali abatemu nabo bawanikibwe ku kalabba.

Mu kiseera kino abasibe 209 be balindiridde okuwanikibwa ku kalabba nga ku bano kuliko abakazi 11 ate 198 basajja.

Bano bonna baasingisibwa emisango gy’obutemu ne bajulira mu kkooti zonna ne ziggwaayo.

 bakazi bano bonna baasalirwa kalabba ano baali basisinkanye omubaka wa ufaransa mu ganda tephanie ivoal Abakazi bano bonna baasalirwa kalabba. Wano baali basisinkanye omubaka wa Bufaransa mu Uganda, Stephanie Rivoal.

 

OKUVA 1999 TEBAWANIKA KU KALABBA 

Uganda yakoma okuwanika omuntu ku kalabba nga April 7, 1999 bwe baawanika Hajji Musa Ssebirumbi eyali ssentebe wa UPC e Luweero. Baamulanga kutta Edidian Luttamaguzi eyali akolagana n’abayeekera ba NRA abaali bakulemberwa Yoweri Museveni. 

Abalala abazze battibwa kuliko; Kassim Obura ne Lukoda Mugaga abattibwa nga March 15, 1989. Obura yali mukozi wa kitongole kya Public Safety Unit, ekyali ekya Idi Amin ng’ono yasingisibwa omusango gw’okutta omusibe mu Novermber wa 1973.

ABASIBE ABEENENYA OLWA BE BATTA

Mu October w’omwaka oguwedde, abamu ku basibe bano baayogera bye bayitamu oluvannyuma lw’okusindikibwa ku kalabba era mu bamu ku baayogera mwe muli: Annet Nakafeero yali yasalirwa gwa kufa yategeeza nti, kkooti olwalangirira nti agenda kuttibwa yagwa wansi n’azirika. 

“Nazirikira mu kaguli nagenda okudda engulu nga ndi Luzira mu kifo gye basibira abasaliddwa eky’okufa. Nze nnali maama era taata w’abaana bange, nalowoozanga ekigenda okuddako eri abaana bange nga nfiiridde mu kkomera” Nakafeero bw’alojja.

Newankubadde ekibonerezo kyakendezebwa okuva ku ky’okufa, teyafuna ddembe kubanga kkooti Enkulu yamusalira okusibwa emyaka 45.

Nakafeero yali avunaanibwa gwa butemu nti, yatta bba eyamutulugunyiza mu bufumbo. Agamba nti kituufu omusango yaguzza naye yeetonda n’aweebwa omukisa ogw’okubiri okubeera ku nsi.

Jamilah Zubedah ye musibe asinga obuto kw’abo abali ku kibonerezo ky’okuttibwa. Yasibibwa nga wa myaka 14 lwa kutta muntu.

Bba yali yamuwamba n’amuteeka mu bufumbo ng’alinga omusibe afumba ne baggya be bataano. Yakwata obuweke bw’okwebaka n’abutabula mu mmere y’omusajja ng’ayagala yeebake nga tazuukuka akozese omukisa guno atoloke.

 kulira amakomera yabashaija ngali nabamu ku baserikale bamakomera Akulira amakomera Byabashaija ng'ali n'abamu ku baserikale b'amakomera.

 

Agamba nti tekyatuukirira kubanga emmere eyali ey’omusajja mwana ye yagirya n’afa. yalaajanira Gavumenti emuwe omukisa ogwokubiri kubanga aboneredde.

Thomas Nkurungira (Tonku) kkooti yamusindika ku kalabba mu 2011 lwa kutta muganzi we Brenda Karamuzi.

Mu 2010 Tonku yakwatibwa olw’okutta Karamuzi omulambo n’agunnyika mu kinnya kya kazambi e Bukasa gye yali abeera.

Kkooti Enkulu yamusingisa ogw’obutemu mu 2011. Yateekayo okujulira wabula ne kkooti Ejulirwamu omwaka oguwedde yanywezezza ekibonerezo kino n’ekakasa nti alina okuttibwa.

ABASIBE MWENDA LWE BATTIBWA 

Mu 1991 abasibe mwenda battibwa olw’okuzza emisango egy'enjawulo era ne bawanikibwa ku kalabba.

Mu 1993 abasibe mwenda battibwa e Luzira okwali; Christopher Ssentamu ne Yozefu Kizza. 

Mu kiseera kino ensi eziwera 155 ku 195 zaamala okusalawo okuggyawo ekibonerezo ky’okufa. Ensi 105 zaamala okujjirawo ddala ekibonerezo ky’okufa omuli n’amawanga 19 aga Afrika.

Ensi mukaaga zajjawo ekibonerezo ku misango emitono, kyokka ng’agawera 36 gakyattira ddala.

ENGERI GYE BATTA ABASIBE E LUZIRA 

Frank Baine, omwogezi w'ekitongole ky'amakomera yagambye nti, mu Uganda tulina akalabba ka mulundi gumu ka kutuga. 

Akalabba akalala akaliwo ka ‘firing squad’ naye amagye ge gakozesa enzita eno. Asingisiddwa omusango gw’okufa bamukuba amasasi mu lujudde.

Baine yagambye nti, etteeka ly’okuwanika abantu ku kalabba kkadde nnyo eryassibwawo abafuzi b'amatwale mu 1896 nga Uganda ky'ejje efuuke ettwale lya Bungereza. 

 mugenzi renda aramuzi eyattibwa muganzi we homas kurunziza onku Omugenzi Brenda Karamuzi eyattibwa muganzi we Thomas Nkurunziza 'Tonku'.

 

BAKUBAGANYE EMPAWA KU KALABBA

Ambrose Tebyasa, munnamateeka okuva mu kkampuni ya Ambrose Tebyasa and Company Advocates yawagidde eky’okuwanika abantu ku kalabba n’agamba nti kyalwawo dda.

Yagambye nti, omusibe singa asalirwa omusango n’ajulira mu kkooti zonna kibeera kitegeeza nti tewakyali kubuusabuusa nti, yazza omusango era talaba nsonga lwaki Gavumenti egenda mu maaso n’okumusasaanyaako ssente okumulabirira.

Munnamateeka Ladislaus Rwakafuuzi agamba nti, okuwanika abantu ku kalabba tekijja kumalawo bumenyi bw'amateeka wabula Gavumenti erina kunoonyereza ebivaako abantu okukwenyigira mu bikolwa bino kubanga omuntu okutta omulala wabaawo ensonga nnyingi.

Livingstone Ssewannyana akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Foundation for Human Rights Initiative.

"Ng’abalwanirizi b'eddembe ly’obuntu tetukkiriziganya na kuwanika bantu ku kalabba. Ensi ezisinga zaadibya enkola eno olw’okuba kyazuulibwa nti, okutta abantu tekirina ngeri gye kikendeeza bumenyi bw'amateeka. 

Yagasseeko nti, obumenyi bw’amateeka okweyongera kivudde ku bitongole by’ebyokwerinda okubeera ebinafu n’obutaba na bukugu mu kunoonyereza ku misango ne bakwata abantu abakyamu abamenyi b’amateeka ne basigala nga bataayaaya.

Okuggyako ng’obufere mu bitongole by’okwerinda n’obwavu obuyitiridde bunogeddwa eddagala tewali kijja kukyuka.

Julius Barisonga ono nga munnamateeka agamba nti, "mu kukola ku misango basooka kumanya nsibuko y’omuntu kwe yasinzidde okuguzza n’onoonyereza kwe kyavudde.

Gavumenti erina okumanya lwaki abantu bazza emisango olwo ne balyoka bakinogera eddagala.  Ekibonerezo eky’okufa mu Ssemateeka kyateekebwamu okutiisatiisa abantu obutazza misango   naye bwe baba baava ku tteeka ne bazza emisango muba mulina okwebuuza kwe kiva ne mukinogera eddagala. Okuwanika ku kalabba kiyinza obutayamba."

 homas kurunziza onku ku kkono lwe yali mu kkooti Thomas Nkurunziza 'Tonku' (ku kkono) lwe yali mu kkooti.

 

ABASIBE LWE BAASIMATTUKA AKALABBA

Mu 2009 Kkooti Ensukkulumu yasala omusango ogwali gwawaabwa abasibe abawera 417 abaali baweereddwa ekibonerezo ky’okuttibwa nga kuliko ne Susan Kigula eyatta bba olw'okuganza omukazi omulala.

Era ono yayambibwako yaaya w'awaka Patience Nansamba ne basalako bba obulago. Ensala ya kkooti yalaga nti, ekibonerezo ky’okutta kyali kikontana ne Ssemateeka.

Ensala eno yali etegeeza nti abasibe bonna abaali baweereddwa ekibonerezo ky’okuttibwa, kyokka ne wayita emyaka esatu nga tebannattibwa, baali bawonye.

Ekibonerezo kyali kigenda kufuukamu kya kusibwa mayisa.  Kyokka okuva omusango lwe gwasalwa Gavumenti yagaana okuddamu okutereeza amateeka nga baggyamu obuwaayiro obwali bukontana ne Ssemateeka. 

 ulezidenti useveni asinziira mu semateeka okussa omukono ku kiragiro ekituga omusibe asingiddwa ogwokuwanikibwa ku kalabba Pulezidenti Museveni asinziira mu Ssemateeka okussa omukono ku kiragiro ekituga omusibe asingiddwa ogw'okuwanikibwa ku kalabba.

 

ABALALA ABASIMATTUSE

1 Chris Rwakasisi, yali minisita mu Gavumenti ya Obote. Yakwatibwa Gen. Tito Okello Lutwa n’amuggalira e Luzira mu 1985. 1988 omusango gw’okulya mu nsi olukwe gwamukka mu vvi ne bamuwa ekibonerezo kya kuttibwa.

Pulezidenti Museveni yawandiikira omuwabuzi wa Gavumenti ku by’amateeka n’akulira amakomera Johnson Byabasaija ng’asonyiwa Rwakasisi nga yeesigama ku nnyingo 121 mu Ssemateeka wa Uganda.

2 Hajji Mohammed Birikadde mu 2009 yateebwa oluvannyuma lw’okumala emyaka 22 mu kkomera e Luzira ng’alindiridde kuttibwa. Bbirikkadde yali avunaanibwa kuwamba bantu n’abatta mu 1970 ng’akyali mu magye.

Okusonyiyibwa, waali wayise emyaka esatu nga kkooti Ensukkulumu ewadde ensala n’eragira nti, abantu bonna abaali bamaze emyaka esatu mu kkomera nga bali ku kibonerezi kya kufa kikendeezebwe basibibwe mayisa.

3 Hadijja Nassolo naye yali ku kya kuttibwa ne kikendeezebwa mu 2009 n’asibwa obulamubwe bwonna era yakyusibwa okuva gye basibira abalindiridde okuttibwa ne bamuzza gye basibira abakazi abalala mu kkomera e Luzira.

4 Omuyindi Sharma Kuki naye Pulezidenti Museveni yamusonyiwa nga yali asindikiddwa ku kalabba olw'okutta mukazi we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hap2 220x290

Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka...

Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka abali mu kulera engalo

Rip2 220x290

Lukwago atongozza ebimmotoka ebiyoola...

Lukwago atongozza ebimmotoka ebiyoola kazambi

Mab2 220x290

Male Mabirizi atutte Gavumenti...

Male Mabirizi atutte Gavumenti mu kkooti

Hb1 220x290

Abalabirizi baagala kusisinkana...

Abalabirizi baagala kusisinkana Kabaka

Kib2 220x290

Aketalo nga URA etunda mmotoka...

Aketalo nga URA etunda mmotoka ne pikipiki ku nnyonda.