TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obujulizi obuluma abaabuzaawo Nakalema bunaava wa nga ne poliisi yaggyamu enta!

Obujulizi obuluma abaabuzaawo Nakalema bunaava wa nga ne poliisi yaggyamu enta!

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2018

Mu mbeera eno abamu batuuse n’okwogera ebitakwatagana nga bagamba mbu yabuzibwawo musambwa, abalala yattibwa abandi nti bano abasezi abalya abalamu bandiba nga baamulya!

Nakalema1 703x422

Ennyumba mwe bajja Nakalema(mu katono), ku bbali ye Brian Yiga eyali mu nju olunaku lwe baamuwamba emyaka ebiri emabega.

OLUGERO oluamba nti ozaayanga n’otafiisa, lunyuma nga eyali azaaye alabise.

Wabula bw’olw’olugerera mu maaso g’abooluganda lw’omumbejja Tereeza Nakalema 79 omutuuze ku kyalo Bukesa mu ggombolola y’e Ngando mu Butambala, bakuyita mukinaggusi olw’omuntu waabwe okubula kati emyaka ebiri! 

Era batuuse n’okuggwaamu essuubi nti ddala akyaliyo mulamu, abamu bagamba ssinga tumanya nti yattibwa n’aziikwa mu kifo gundi waakiri ne tunona ebisigalira bye ne tuweweererako awo nti mnunaffe yeebase wano! 

Mu mbeera eno abamu batuuse n’okwogera ebitakwatagana nga bagamba mbu yabuzibwawo musambwa, abalala yattibwa abandi nti bano abasezi abalya abalamu bandiba nga baamulya!

NAKALEMA ABULA

Shamimu Namatovu 38, omutuuze w’e Lwanjiri era omusomesa mu Butende P/S e Butambala ne mukuluwe Vincent Yiga omusuubuzi w’emmwaanyi bannyonnyola engeri nnyabwe gye yabula emyaka ebiri egiyise. 

Mu kiro ekikeesa January 01, 2016 Nakalema yali mu nju nga yeebase ne muzzukulu we Brian Yiga 8, omuntu n’amukonkona, olwaggulawo tewali yaddamu kuwulira kivaayo era okuva olwo maama taddangamu kulabika! 

Tufubye okumunoonya buli we tumusuubira okuba naye abuze.  Muzzukulu wa Nakalema ayitibwa Yiga bwe baali mu nnyumba nga jjajjawe abuzibwawo, yanyumya nti: Omuntu ng’amaze okukonkona, nali mpulira era ne mbuuza jjajja oba hhende nzigulewo kwe kungamba nsigale nga nneebase.

Kye yaddamu okung’amba nti kanzigye mangu, nalinda jjajja akomewo nga simulaba, otulo twambula kwe kugenda ku muliraano okubuuza oba gy’ali naye nga taliiyo! 

Namatovu agamba: Maama yali Mulerwa (omuzaalisa) era abantu baateranga okumunona ekiro ne bamutwala okuzaalisa ne bamuzza n’akomawo enkeera, ne ku luno kye kyasooka okulowoozebwa kumbe yali agenze butadda! 

Ate era tulowooza omuntu eyamuyita yali amumanyi kwe ku ggulawo nga talina kye yeeraliikirira. Twanoonya maama mu buli kanyomero ne tutuuka n’okugenda mu nsiko wabula yabula.

Poliisi nayo yatwegattako mu muyiggo n’okukunga abantu ne tusamba ensiko nga buteerere!

Twalanga ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo naye nga tukootakoota mu ga lumonde!

 hamim amatovu muwala wa akalema agamba essuubi libaweddemu okuddamu okulaba ku nnyaabwe Shamim Namatovu, muwala wa Nakalema, agamba essuubi libaweddemu okuddamu okulaba ku nnyaabwe.

 

MULIRAANWA ASONGEBWAMU

Namatovu agamba: Margaret Namulema ennyumba ye etunudde mu ya maama. Namulema ne mutabani we Badru Mugera baalina obutakkaanya ne maama nga buva ku kibanja era bano baakwatibwako naye ne bateebwa. 

Namulema ye nnannyini ttaka maama kw’alina ekibanja era baali bamugoba mu kibanja n’agaanirako kuba amazeeko emyaka egiri eyo mu 40 nga naffe kwe tukulidde.

Maama nga tannabula yali yantegezaako ku but-akkaanya buno, era ng’akingamba entakera nti obulamu bwe buli mu matigga olwa bano okwewera okumutusaako obulabe.

Ensonga z’ekibanja zatuuka ne mu b’obuyinza nga Namulema ne Mugera basusizza okumutulugunya ne batuuka n’okumussaako eky’obulogo.

NAMULEME NE MUGERA BAKWATIBWA

Abooluganda n’abatuuze abaali bamanyi ku butakkaanya bwa Namulema ne Nakalema baasaba poliisi ebuulirize ku Mugera ne nnyina.

Newankubadde nga bom¬biriri beesamba okuba n’akakwate ku kubulawo kwa Namulema. 

Namulema ku poliisi yategeeza nti ‘kituufu obutakkaanya bwaliwo, naye nga tebuyinza kubatuusa ku mbeera ebuzaawo muntu, ye bamutwala wa?

Ssentebe w’eggombolola y’e Ngando Livingstone Kugumiikiriza n’abooluganda baasaba poliisi ekwate Namulema ne Mugera, ekyakolebwa era ne ogw’okubuzaawo omuntu n’ekigendererwa ky’okutta omuntu ku fayiro nnamba CRB0017/2016 omusango ne gutuuka mu kkooti e Mpigi n’okutuusa leero Mugera ne nnyina bakyaleppuka nagwo.

 amulema ne mutabani we ugera bano baasibwa ku bigambibwa nti balina kye bamanyi ku kubula kwa akalema amulema agamba buli kimu yakikwasa atonda Namulema ne mutabani we Mugera, bano baasibwa ku bigambibwa nti balina kye bamanyi ku kubula kwa Nakalema. Namulema agamba buli kimu yakikwasa Katonda.

 

MUTABANI WA NAKALEMA

Vincent Yiga 45,nga mutuuze ku kyalo Bukesa agamba: Essuubi lya maama okulabika ligenze liseebengerera.

Kyokka okubula kwa maama kwagala okwefaananyirizaamu okwa kitaffe Lawrence Sseguya enjawulo nti abamubuzaawo bbo baamanyibwa kuba baali bajaasi ba Obote wabula naye teyaddamu kulabika!

Nneewuuba mu kkooti e Mpigi nga ndowooza kkooti eneeyambisa obujulizi poliisi bwe yakungaanya kyokka omuwaabi wa Gavumenti yantegeeza nti obujulizi obwo tebumala kusingisa bawawaabirwa musango nti ate n’omwana eyali ne mu nnyumba talina muntu gwe yalaba wadde okwawula eddoboozi eryayita jjajjawe.

Wadde n’engeri ennyangu okumanya nti eyamuyita yali musajja oba mukazi kyamulema, ne kiba nga kizibuza okunoonyereza okuzuula obujulizi obuluma omuntu mu musango guno. 

Eno y’ensonga gye yeesigamako okuta abawaabirwa ku kakalu ka kkooti ng’okunoonyereza bwe kuigenda mu maaso, era Nakalema ne Mugera ne bayimbulwa.

Kyokka saali mu mativu kuba kyali kiyinza okubaako engeri gye kitaataaganya okunoonyereza ku musango. Wabula ne poliisi eringa eyabivaako etakyanoonyereza ku musango guno. 

TETUMANYI BYA KUBULA  KWA NAKALEMA

Namulema bwe nayogeddeko naye yangambye nti: Ono namusanze ava ku lubimbi era olwawummuzza enkumbi, yeekanze omuntu akutte kkamera.

Mu kutya okungi kwe kugamba ‘simanyi bannonye kunziza mu kkomera? Omuntu abonyebonye n’okubula kwa Nakalema’ Bwatyo bwe yanneesoose.

Oluvannyuma na mu nnyonnyodde era naye kwe kuntegeeza bino; Nasigala kubeerawo ku bwa Katonda, kuno nze mulogo, omutemu, omusezi ye kiki kye siri, naye byonna nabikwasa Katonda!

  Nakalema tuwangadde naye myaka giri mu 40, lwaki era mubuzaawo kati? Ekiseera kyonna abadde ku ttaka lyange, nalemwa okumutta nga nkyalina amaanyi kati n’agayuunja ettooke sikyagalina nga nfuna gabuuzaawo na kutta muntu? 

Nafuuka ekisekererwa ku kyalo era n’abaana banjeeya mbu wuuyo omusezi! Naye ensi eno, yagenze okumalirizaayo ekyo ng’amaziga gatandise okumuyitamu.  Emboozi yaffe yasoose kusiriikiriramu, ate oluvannyuma n’asonda amaanyi agaddamu okwogera.

Ebyasigadde yabyogedde ebiyeengeyeenge bijja. Nakalema eyali omutamiivu waddanga anywa n’agwa ku kkubo n’olumu nga nze amuyamba okumutuusa mu amaka ge ate nze okumubuzaawo? 

Nze nnyingiranga nkoko, ate oluba okuyingira sifuluma kuba ndi mu kutya okuva mu booluganda lwe abanneewerera nga bwe zijja kubeera mirembe, buli olukya nsaba Katonda okwoleka amazima ku kubula kwa Nakalema.

TUKOOYE OKWEWUUBA KU KKOOTI

Mutabani wa Namulema Badru Mugera agamba nti: Baatusiba ne maama okumala emyezi munaana ku musango gwe tutalinaako kakwate, ekintu kino tekitulese kye kimu naddala maama omukadde.

Ebbanga lyonna ne famire yaffe teri mutemu, ye maama Nakalema ne bwe liba ttaka olwo bwe twandimusse n’alivaako talina bantu be.

Okuva lwe twateebwa mu August 2016, tukyewuuba mu kkooti kyokka obujulizi bwabula, naffe tubikooye eby’okweeuuba ku kkooti.

 ugera ngali mu maka ge e ukesautambala essamula ebyokubuzaawo akalema Mugera ng’ali mu maka ge e Bukesa-Butambala. Yessamula eby’okubuzaawo Nakalema.

 

KKOOTI

Omu ku bayambi ba kkooti enkulu e Mpigi (amannya ngasirikidde) yangambye nti: Ekivuddeko omusango guno okulwa okusalwa gukyabuzeeko abajulizi ate nga okubula kw’omuntu kinene eri eggwanga n’abooluganda lw’abuze kale kkooti erina okusooka okwetegereza.

Ssinga gugobwa leero, enkya obujulizi ne bulabika oba ssinga osingisa omuntu omusango nga teweetegerezza, Nakalema n’alabika mu nnaku eziddako ate nga taliiko kamogo!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...