TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukungu akkirizza okuwaayo ettaka ly'ekibira mu bukyamu

Omukungu akkirizza okuwaayo ettaka ly'ekibira mu bukyamu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2018

Eyali akulira ekitongole kino wakati wa 2011 ne 2012 era nga y'akulira akakiiko k’ekitongole akafuzi, Gashum Onyango yeetonze mu maaso g’omulamuzi Catherine Bamugemereire olw’ensobi ze yakola n'agamba nti, teyagenderera kuwa Ntaganda kibira kukisaanyaawo.

Qatar 703x422

Onyango (atudde) ng'ali mu kakiiko ne looya.

Onyango okwetonda yamaze kuteekebwa ku nninga annyonnyole ku bbaluwa gye yawandiika nga January 3, 2013 eyali ekakasa kkampuni ya Logistic Real Estate and Developers Ltd nga NFA bw'ekkirizza okusaba kwabwe ng'ebbaluwa eno ye yatwalibwa mu ofiisi y’ettaka e Wakiso ne bafuna ebyapa ku ttaka ly’ekibira.

Onyango yagambye nti, bwe yali awandiika ebbaluwa yali ategeeza nti, kkampuni eno esobola okukozesa ekibira n'ezimbamu ekifo ekiwummulirwamu si kutema kibira kuzimbako bizimbe.

Mu kusooka ettaka lino lyali liweereddwa abalimi b’emiti 46 okulipangisa balimireko. Ku bano kwaliko ne Dr. Kasujja eyatwala okwemulugunya kwe mu kakiiko ku ngeri Ntaganda gye yatema emiti gyabwe.

Onyango yakkirizza nti okuwaayo ettaka teyasooka kwebuuza ku bannamateeka ba kitongole wabula yeesalirawo kye yalaba nga kye kisaanidde ekibira n'akiwa Logistic Real Estate and Developers Ltd. Aba kkampuni eno ettaka baalisalamu poloti ne baliguza kkampuni endala eya International Camping Sites and Super Resort Ltd ey’omugagga Ephraim Ntaganda ne muganda we, Cedric Nsongoza.

Ntaganda olwagula ettaka naye yaliguza Eria Mubiru nnannyini kkampuni ya J2E Investments ku bukadde bwa doola bubiri n'ekitundu (mu za Uganda bwe buwumbi nga mukaaga) olwo Gavumenti n'efiirwa ssente kubanga tekyasobola kusolooza ssente mu bantu abaali bapangisa ettaka lino okulimirako emiti.

Bamugemereire yasoose kutegeeza kakiiko nti, ebimu ku bizibu ekitongole ky’ebibira bye birina y'ennyingiza entono n'awa ekyokulabirako eky'abaali balima emiti nga basasula 5,000/-zokka buli mwaka nga kontulakiti eba ya myaka etaano.

Bamugemereire bwe yabuuzizza Onyango ssente ekitongole kya NFA ze kyafuna ng'awaayo ettaka lino nga talina ky'ajjukira.

Bamugemereire era yakitadde ku ba NFA nti waliwo okwekobaana wakati wa Onyango akulira akakiiko akafuzi, akulira ekitongole Micheal Mugisha babikkirire Ntaganda n'agamba nti, Mugisha bwe yayitibwa mu kakiiko yeegaana okubaako ky'amanyi ku ngeri ettaka lino gye lizze likyusibwa kyokka ng'ebiwandiiko byonna byali mu ofiisi ye era n'alumiriza Onyango okuba ng'alwana nnyo Mugisha baddemu okumuwa kontulakiti yadde ng'eggwaako January 31 omwaka guno.

Bamugemereire yalagidde Ntaganda , Eria Matovu ne Micheal Mugisha nabo beeyanjule mu kakiiko ke.

Ebibira ebirala ebisaanyiziddwaawo kuliko eky'e Nonve e Kakiri mu Wakiso era nga kino eyali RDC, Ian Kyeyune n’omusuubuzi Haruna Ssemakula baakisalako yiika 600.

Eky'e Kimaka e Jinja kyakatemwamu poloti 46 n’ebyapa ne bifuluma. Eky'e Gulu kyasalwako okuzimba yunivasite y'e Gulu n’ebirala bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo