TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okukwatibwa kwa Kitatta kitegeeza ki eri Kayihura

Okukwatibwa kwa Kitatta kitegeeza ki eri Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2018

BANNAYUGANDA bamaze emyaka mingi nga bakaaba Abdullah Kitatta olw’amaanyi n’obuyinza obuyitirivu bw’abadde alina kyokka nga ssi w’amagye, ssi ofiisa wa Poliisi yadde okubeera n’ekifo mu Gavumenti.

Kayihurapalamenti1 703x422

Kayihura mu Palamenti ng'annyonnyola engeri Kitatta gye yamuyamba okumalawo 'Walk to Work' mu Kampala.

  Bya MUSASI WAFFE 

BANNAYUGANDA bamaze emyaka mingi nga bakaaba Abdullah Kitatta olw’amaanyi n’obuyinza obuyitirivu bw’abadde alina kyokka nga ssi w’amagye, ssi ofiisa wa Poliisi yadde okubeera n’ekifo mu Gavumenti. 

Mu myaka nga munaana egiyise, Kitatta ajojobezza ssi baana buto bwokka oba abaavu, oba bamufunampola bokka, wabula atwaliddemu n’abawagguufu, abagagga n’abanene mu Gavumenti n’ebitongole byayo era abantu nga Jennifer Musisi, Kitatta bamwasimula bugolo. 

Bangi abakwatiddwaKitatta n’agayaaye ag’ekibinja kye ekya Bodaboda 2010 ne baggalirwa n’okutulugunyizibwa mu ‘makomera’ ga Bodaboda 2010 agali mu bifo eby’enjawulo mu Kampala kyokka nga tewali ayamba era bangi abatuusiddwaako ebisago eby’olubeerera ku mibiri ate abawambiddwaako Bodaboda zaabwe ne zibulira ddala abo tobala. 

Olulala ne Palamenti yamwesimbamu n’emukoonokako, ababaka bwe baakwata wansi ne waggulu ne bawa ebiragiro Kitatta anoonyerezebweko n’ekibinja ekya Bodaboda 2010 olw’abasajja be okukuba abaana n’abasomesa ab’essomero lya Winterland Primary school n’abaserikale ba Poliisi mu October 2017 kyokka ne bikoma awo, Kitatta n’asigala ng’aliisa abantu akakanja. 

Ekifo kye nga ssentebe wa NRM mu Rubaga tekiyinza kubeera nga kye kiwadde Kitatta; obuy¬inza, amaanyi, ssente, n’emmundu by’abadde akozesa okutigomya Bannayuganda ebbanga lyonna okuva mu 2010 lwe yatondawo ekibiina kya Bodaboda 2010, Pulezidenti n’akitongoza mu 2011 ku ssomero lya Mengo SS n’akissaamu n’entandikwa ya bukadde 500.

Ng’oggyeeko Pulezidenti Museveni, n’omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura tewabaddewo munene mulala yenna Kitatta gw’atya okutuusa ku Lwomukaaga akawungeezi, amagye lwe gaamuyodde ne gamutwala nga talinnya ne ofiisi ya Bodaboda 2010 e Bakuli ne zaazibwamu, amagye ne gatwala ebissi byonna ebyagibaddemu. 

Kitatta abadde yeewaana nti akolera IGP Kayihura era bwe yabadde mu Palamenti ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, ababaka ne bamubuuza ku bya Bodaboda 2010, Kayihura yawolereza Kitatta ne Bodaboda 2010 nti bayambye nnyo Poliisi mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka nti be baayamba okulwanyisa okwekalakaasa okwa Walk to Work okwa Bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya. 

Okukwatibwa kwa Kitatta kuddiridde Minisita ow’obutebenkevu Lt. Gen Henry Tumukunde okulabula aba Bodaboda 2010 okutwalira amateeka mu ngalo zaabwe bwe yabadde mu Palamenti gye buvuddeko oluvannyuma lw’ababaka okwemulugunya ku bu¬menyi bw’amateeka obwa Kitatta n’ekibinja kye. 

KAYIHURA ASIGADDE  MU BBANGA? 

Mu August 2016 , Kkooti y’e Makindye bwe yawa Semanisi IGP Kayihura okweyanjula mu musango gwe yawawaabirwa olwa boofisa ba Poliisi okukuba abawagizi ba Besigye, Kitatta yakunga ebbiina ly’abantu ne bazinda kkooti ne bakubakuba abantu omwali ne Balooya nga Poliisi etunula butunuzi era Kayuhira talina kye yabakola. 

Kitatta yeewaana nti bbo (Bodaboda 2010) balina obusobozi okukuuma IGP Kayuhira kubanga tebayinza kumukkiriza kusimbibwa mu kkooti kubanga emirimu gye agikola ku lwa Poliisi sso ssi ng’omuntu. 

Ensonda mu Poliisi zaateebezezza nti Kayihura abadde n’enkola ey'okweyambisa abantu baabulijjo mu mirimu ne misoni za Poliisi ez’enjawulo nga kiringa ekiraga nti bofiisi aba Poliisi abamu tabalinaamu bwesige kukola misoni ze.

  Eno y’ensonga lwaki Kayihura abadde akolagana n’abantu nga Kitatta, n’abalala b’abadde atuma ku misoni ez’enjawulo nga bano babadde bamanyiddwa mu Poliisi nti bakozi ba IGP.

Kitatta abadde alina emmundu ennene n’entono ng’atambula nazo mu mmotoka awatali amukuba ku mukono. 

Okukwatibwa kwa bofiisa;

Nickson Agasirwe, Joel Aguma n’abalala abaakwatibwa CMI mu November 2017, kwaleka Kayihura mu bbanga kubanga baali basajjabe ab’oku lusengere era okuva lwe baakwatibwa ne basimbibwa mu kkooti y’amagye, oluvuuvuumo lubadde luyita nti Kayihura takyali muggumivu mu kifo kya IGP nga bwe yali. 

Okutemulwa kwa Afande Felix Kaweesi eyatemulwa mu March 2017 nakwo kugambibwa okunafuya ennyo Kayihura kubanga yali amuyamba nnyo ku emirimu egyetaaga obwegendereza, obwesige n’obukugu era yali agumidde ku ba Nixon kyokka bwe baakwatibwa CMI n’ayongera okusannyalala. 

Kati CMI ne ISO okukwata Kitatta kwongedde okuleka Kayihura mu bbanga kubanga ne musajjawe Ssebina Sekitooleko ye yasala dda eddiiro kati obuwulize bwe buli eri Lt. Gen Tumukunde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA