TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Kitatta eyali omwetissi w'emigugu bw'afuuse bbereeje

Engeri Kitatta eyali omwetissi w'emigugu bw'afuuse bbereeje

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2018

Bwe yali akyali mu ssomero, ekintu kye yali akuba obudinda byali bya Luwarabu naye ng'amasomo amalala gamugoya bwenvu.

Abdallahkitatta3 703x422

Abdallah Kitatta gye buvuddeko

  Bya BASASI BAFFE  

ABDALLAH Kitatta 35, yazaalibwa mu 1982 ku kyalo Kisanjufu e Nakasajja mu ggombolola y’e Kyampisi e Mukono. Bazadde be ye Muhamood Ssonko ne Hasifa Nabukeera.

Okusoma teyakutwala wala nnyo, yasooka kusomera mu Kalagala Quran School e Kalagala gye yava n’adda e Kitegombwa C/U gye yatuulira P7. 

Ng’amaze P.7, yeegatta ku Namasumbi S.S. kyokka n’awandukira mu S.3 ng’emisomo gimuzannya nnyo naddala Olungereza, Ssaayaansi n’okubala.

“Ssaalina magezi mu kibiina kyokka Katonda nga bw’atamma byonna, yampa amagezi amazaale era ge gasobodde okuntuusa wano”, Kitatta bwe yategeeza Bukedde gye buvuddeko.

Bwe yali akyali mu ssomero, ekintu kye yali akuba obudinda byali bya Luwarabu naye ng'amasomo amalala gamugoya bwenvu.

Wabula Kitatta agamba nti bw’agenze akula yeesanze ng’obutasoma bumufiirizza ebintu bingi era yasalawo okuddayo mu ssomero omwaka oguwedde asobole okufuna ebbaluwa eya S.4.

 itatta ngayogera eri aba Kitatta ng'ayogera eri aba

 

YASOOKA KWETIKKA MIGUGU NA NSAWO ZA BUWUNGA MU KISENYI

Ng’ebyokusoma bigaanyi, yayingira ekibuga, amakanda n’agakuba mu Ndeeba.

Olw’okubanga teyalina butendeke bwonna nga ne ssente ezitandika bizinensi talina, Kitatta yamanya nti kapito gwe yalina ky’ekiwago kye kubanga wadde yali mulenzi mumpi, naye yalina emifumbi.

Yasookera mu kutikkula n’okwetikka amatooke n’ensawo z’emyeera, lumonde n’obuwunga era yazeetikka okumala ebbanga n’omugongo ne gukuusiira!

Abamanyi Kitatta bagamba nti yali mulenzi mujagujagu era nga mwangu nnyo naddala ku nsonga za ssente, nga bw’okola ddiiru n’osumagiramu katono ng’owedde!

Ogw’okwetikka emmere, Kitatta yagukolera akabanga ng’obusente bw’afuna abusiba ku luwuzi okutuuka lwe yaweza entandikwa n’atandika okusuubula ensawo z’amatooke okulenga emyera.

Wabula amagoba ku myera gaali ga buswazzi, era ebbanga lye yamala ng’alenga emyera, Kitatta agamba nti teyafunamu.

Eby’emyera nga bigaanyi, Kitatta yayingira mu Kisenyi n’atandika okwetikka ensawo z’obuwunga era omulimu guno yagukola okumala emyaka etaano okutuusa lwe yakuhhaanya obukadde busatu.

Zino ze yakozesa okutandikawo edduuka eritunda obuwunga, ebijanjaalo n’emmere enkalu mu Kisenyi n’e Katwe.

KITATTA AYINGIRA MU BYOBUFUZI

Abdallah Kitatta yatandika okumanyika mu 2006 ng'asinzira e Busega olw'okwenyigira ennyo mu nkayaana z'ettaka wamu n’akatale akali mu kitundu kino.

Yamanyika nnyo mu biseera Zaina Muwonge bwe yali RDC w’e Lubaga.  Mu biseera ebyo yali avuga mmotoka ey’ekika kya Corsa nga ya langi ya kiragala.

Kitatta yeeyambisa ofiisi ya RDC okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye naddala okukaayanira obukulembeze mu butale e Busega ne Nateete.

Mu 2008 bwe waliwo okulondo ekifo ky'okujjuza ssentebe wa ggombolola y'e Lubaga nga Winnie Makumbi afudde, Kitatta yakola nnyo okulaba nga Peter Ssematimba owa NRM awangula ekifo kino era ne kituukirira.

Mu mbeera eno, Kitatta mwe yeesoggera ddala ebyobufuzi bwe yeesimbawo mu kulonda kwa NRM mu 2010 n’alondebwa ku bwassentebe w’Abavubuka wakati mu mivuyo n’okulwagana n’ab’ekiwayi kye yali avuganya.

Ekifo ky’obwassentebe w’abavubuka mu Lubaga, Kitatta yakyeyambisa okumanyika mu banene mu NRM naddala ku kitebe kya NRM ku Kyaddondo Road, Poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe be yamatiza nti asobola okwanganga aba FDC, DP n’ebibiina ebirala mu Kampala.

Mu kulonda abakulembeze ku mutendera ogw'enjawulo mu kibiina kya NRM okwaliwo mu 2010 Kitatta yeesimbawo ku bwassentebe w’abavubuka mu Lubaga n’awangula wadde abavubuka baamwemulugunyaako nti ‘luliiramunnyana’.

Mu March wa 2011, waaliwo okulonda kw’abakulembeze b’abavubuka mu Kampala okwategekebwa akakiiko k’Ebyokulonda era Kitatta y’omu ku baali beesimbyewo wabula abavubuka ne bamusimbira ekkuuli nga bagamba nti si muyigirize kimala.

Kitatta yakunga abavubuka b’e Lubaga n’e Nakawa ne bagezaako okutabulatabula okulonda wabula Polisi yabagumbulula, okulonda ne kugenda mu maaso Tony Bu¬wande n’alondebwa ku bwassentebe ng’amyukibwa Mubarak Kalungi.

KITATTA MU BODABODA

Kitatta tabangako muvuzi wa bodaboda era yali tabibangamu okutuuka mu 2010, aba bodaboda bwe baafunamu obuzibu n’omuduumizi wa Poliisi, Gen Kale Kayihura nga bawakanya ebikwekweto bya Poliisi ku bodaboda omwali n’okusika bodaboda n’okuzikuba ebibaluwa.

Mu kiseera ekyo aba bodaboda baali beegattira mu kibiina ekya KUBOCA ekyawakanya en¬nyo ebikwekweto bya Poliisi era ekyava mu kino be bakulembeze b’ekibiina kino okutulugunyizibwa Poliisi n’abamu ne bakwatibwa.

Olw’okuba Kitatta yali amaze okumatiza Poliisi n’abamu ku ba NRM nti aba bodaboda abasinga mu Kampala ba Besigye, DP, n’ebibiina ebiwakanya Gavumenti, embeera eyaliwo wakati wa Poliisi ne KUBOCA baagyeyambisa okuwera ekibiina ne bassaawo ekibiina kya Bodaboda 2010 ne bategeka okulonda kw’aba bodaboda okw’ekimpatiira.

Wano Kitatta we yayingirira mu mulimu guno era ofiisi za Bodaboda 2010, Gen. Kayihura ye yaziggulawo e Nakulabye.

Kitata yatondawo ekibiina kya SACCO kye yayita ekya ba Bodaboda Pulezidenti Museveni yatongoza Bodaboda 2010 n’abawa obukadde 500 ez’okuyamba aba bodaboda okugulamu pikipiki era pulojekiti eno yakwanaganyizibwa omuyambi wa Pulezidenti Moses Byaruhanga.

Kyokka aba bodaboda ab’enjawulo mu Kampala bagamba nti ssente za SACCO obukadde 200 n’eza bodaboda obukadde 500 tebaaziganyulwamu era Kitatta baamuwawaabira omusango ku Poliisi n’ensonga ze zimu ziri mu Palamenti, Byaruhanga gye yayitibwa ababaka ne bamukunya olwa ssente ezo.

Mu 2013 ekitongole kya KCCA kyayanja enteekateeka z'okuwandiika siteegi za bodaboda zonna mu Kampala n'abavuga bodaboda bonna wabula enteekateeka eno n’agiremesa ng'agiraba nga abamugye mu kintu era yazuzumbya Jennifer Musisi.

 itatta lwe yakulemberamu konvoyi yemmotoka za ulezidenti useveni lwe yakyalako mu munisipaali ye ubaga Kitatta lwe yakulemberamu konvoyi y'emmotoka za Pulezidenti Museveni lwe yakyalako mu munisipaali y'e Rubaga

 

EMIVUYO MU BUTALE

Ng’oggyeeko emivuyo gya bodaboda, Kitatta ali wakati ne mu mivuyo egy’obutale obw’enjawulo mu Kampala.

Yasooka kwenyigira mu mivuyo gy’akatale k’e Nateete n’adda ne mu katale k’e Busega.

Mu February wa 2012, amasasi gaanyooka mu katale k’e Busega ng’ekibinja kya Kitatta kirumbye akatale okusiguukulula ssentebe w’abasuubuzi, Hajjati Hasifa Ssenkungu mu ofiisi bateekemu owaabwe. 

Kino kyaddirira abasuubuzi okumala wiiki bbiri nga beekalakaasa nga bagamba nti ssentebe waabwe abayisa bubi era abavubuka yabagoba mu katale n’ayingizaamu ban¬namwandu bokka. 

Kitatta ng’ali n’abamu ku basuubuzi mu katale kano baasooka kutegeka kulonda kw’abakulembeze abapya ne kuwangulwa Ssaalongo Charles Bugembe, kyokka omubaka wa Gavumenti mu Kampala, Alice Muwanguzi n’akusazaamu ng’agamba nti tekwali mu mateeka wabula Kitatta n’amujeemera! 

Kitatta kwe kuwa Gavumenti ennaku ssatu nga Ssenkungu avudde mu katale, Ssaalongo Bugembe asobole okukulembera era bwe kitaakolebwa n’alumba n’abavubuka be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.