TOP

Aba FDC baagala Kayihura alekulire

By Muwanga Kakooza

Added 22nd January 2018

FDC eyagala omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura akwatibwe era abuulirizibweko ku nkolagana ye n’ab’ekibiina kya Bodaboda 2010 okuli n’akikulira, Abdallah Kitatta abaakwatiddwa nga bateeberezebwa okwenyigira mu butemu.

Semu1 703x422

Omwogezi wa FDC SSemujju Ng’anda , ssentebe w’akakiiko akakola ku bisuubizo bya gavumenti Hassan Kaps Fungaroo n’omwogezi w’olukiiko lw’abakyala mu FDC Sarah Eperu nga bali mu lukung’ana lwa bannamawulire.

Mu ngeri y’emu omwogezi wa FDC era nnampala w’ababaka b’ekibiina kino mu Palamenti,  Ssemujju Nganda (Kira munisipaali)  ategeezezza nti agenda kwanja  ekiteeso ng’asaba Palamenti ebuulirize ku Kayihura n’enkolagana ye ne ‘Bodaboda 2010’.

Ekiteeso kigenda  kuzingiramu n’okubuuliriza ku nkolagana y’ebitongole ebikuumaddembe ebirala  nga ISO ebirina enkolagana  n’abantu abalala abaavaayo ne baKkiriza mu lwatu nti bamenyi b’amatteeka.

Bino bibadde mu lukung’ana lwa bannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi era kiddiridde militale poliisi okukwata bammemba ba ‘bodaboda 2010 abawerako nga bagambibwa okuba n’akakwate ku kutemula eyali omukozi w’eddwaliro lya CASE Hospital, Francis Ekalungar.

‘’Kayihura yabadde mu Palamenti  n’agamba nti abadde akolagana n’aba Bodaboda 2010 okuli ne Abdallah Kitatta okulwanyisa obubemenyi bw’amateeka. Kyetaaga naye akwatibwe agattibwe ku ba Kitatta annyonnyole enkolagana ye nabo.. ..’’ Ssemujju Nganda bwe yategeezezza.

Yagambye nti poliisi yaweebwa  obuwumbi 525 mu bajeti y’omwaka guno ate ab’ekitongole ekikettera munda ekya ISO ne kiweebwa obuwumbi obukununkiriza mu 60 n’olwekyo tewali nsonga lwaki tekikola bulungi mirimu gyakyo ne kigirekera abantu ba bulijjo olumu abamenyi b’amateeka.

Ssemuju yayongeddeko nti aba Bodaboda 2010 baludde nga bakola effujjo ku Bannayuganda singa baakwatibwa dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo