
Pulezidenti Museveni ng'akutte mu ngalo z'omwana Janet Mercy Anyait eyasangibwa ayonka omulambo gwa nnyina eyali attiddwa Abakaramoja
PULEZIDENTI Museveni alaze Bannayuganda akabi akali mu kuzannyira eby’obufuzi ku musingi gw’amawanga n’amaddiini n’agamba nti kye kimu ku byavaako obutabanguko bw’omu myaka gy’enkaaga.
Museveni yagambye nti oluvannyuma lw’okulaba ng’ebyobufuzi bya 1965 byesigamiziddwa ku mawanga na madiini ng’ekibiina kya DP kyesigamye ku Bukatuliki, UPC ku Bapolositante ne Kabaka yekka nga kya Baganda, Abapolositante baalabula gavumenti eyaliwo nti kyali kigenda kuleeta obuzibu kyokka n’etawulira.
Era waayitawo akaseera katono Obote n’atandika okulwanyisa Ssekabaka Muteesa era gavumenti ya UPC yamala n’egwa mu 1971 nga Amin agiwambye.
Bino Museveni yabyogeredde ku mukolo omubaka w’essaza ly’e Usuk e Teso mu buvanjuba bwa Uganda , Peter Ogwang , kwe yaweereddeyo ebintu bye yasuubiza abantu nga yeesimbyewo ku bubaka.
Museveni yagambye nti NRM kibiina ekitunuulira eby’obufuzi ng’okuvuganya kw’ebirowoozo ng’asinga y'awangula n’agamba nti abazannya eby’obufuzi balina okuwa abantu omukisa okukubaganya ebirowoozo basobole okwesalirawo obulungi.
Museveni era yagambye nti mu kulwanyisa Idi Amin waliwo abantu abaali bawagira atemulwe abalala ne bakiwakanya era abaakiwakanya be baawangula. Amin oluvannyuma yawambibwa n’afiira mu buwangunguse mu myaka gy'e 2000.
Ku nkulakulana Museveni yagambye nti ebintu bajja kukwata mpolampola kuba ne Katonda ebintu byonna teyabitonda lunaku lumu.
Museveni yalagiddwa omwana Janet Mercy Anyait eyasangibwa ayonka omulambo gwa nnyina eyali attiddwa Abakaramoja. Kati ali mu siniya esooka.