TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye gasaanyizzaawo ofiisi za Boda boda 2010 zonna

Amagye gasaanyizzaawo ofiisi za Boda boda 2010 zonna

By Joseph Makumbi

Added 22nd January 2018

Amagye gasaanyizzaawo ofiisi za Boda boda 2010 zonna

Tag1 703x422

Ebimu ku bintu ebisangiddwa mu ofiisi za Boda Boda 2010 ezisaanyiziddwaawo leero

AMAGYE gakedde kuzingako ofiisi za Bodaboda 2010 e Bukesa okuliraana Club Ambiance ne bakwata abantu bonna bebasanze baddukanya ofiisi ne babakuba ku kabangali n’ebimu ku bintu byebabadde bakozesa.

Muno, mubaddemu fayiro, ebimeeza, ebijegere byebasiba ku bodaboda, enjegere zebabadde basibisa abantu, ne kafankunaali omulala byonna ne bitwalibwa e Mbuya.

Amagye okulumba e Bukesa, babadde bakakafu nti, ssentebe wa Bodaboda 2010 mu Kampala Central Antanansi Kafeero babadde baakumusangawo kyokka kyalabise ng’akyaalira ku nsiko okuva lweyasimattuka okukwatibwa ku Top Radio e Bwaise ku Lwomukaaga era tebaamusanzeewo.

 ABA BODABODA BATABUSE BOOKEZZA OFIISi;

E Bukesa; Eggulo, aba bodaboda mu Kampala beekungaanyiza ne batandika okukola omuyiggo ku ofiisi za Bodaboda 2010 zonna gyeziri. Baatandikidde ku y’e Bukesa ng’amagye gaakavaawo ne bamenya oluggi ne bayingira munda ne bapakulula buli kantu kebaasnze munda ne babikungaanya byonna ne babikumako omuliro.

Abatuuze, baalabye ku ndaba kuki nga nabo balinga ababadde bakoowa edda ak’abinja kano era abavumu badduse mangu nebayingira mu ofiisi buli omu kyeyabadde asobola okwetikka nga kyaggyamu bwatwala ewuwe.

 E Nateete amasasi ganyoose;

Olwavudde e Bukesa, baavuze pikipiki zaabwe ne balumba e Nateete ku ofiisi ezitwala Lubaga gyezaabadde. Baasanze nzigale ne bamenya oluggi ne bayingira munda. Muno, baasanzeemu pikipiki mpitirivu nga n’ezimu zikukuliddemu ate endala nga mpya zakakwatibwa ku bannanyini zo ababadde baakazigula.

Baafulumiza ebintu byonna wabweru ne babikumako omuliro nga bwebakuna ncakaali wamu n’okusaakaanya. Abantu ku kitundu baakungaanye okulaba ekigenda mu maaso bakira nga nabo bawoza kimu ‘mubatuwonyezza babadde baatutama dda’.

Mu bintu byebaafulumizza mwabaddemu n’ebyawongo ebyabadde bisibiddwa mu kibbo ne babikumako omuliro.

Poliisi okuva e Nateete, yabasanze bakyali mu ‘tumuza awedde tumuwonye’ nebakubamu amasasi okubagumbulula nebabuna emiwabo okwetaasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.