TOP
  • Home
  • Buganda
  • Amagye okukwata abamenyi b'amateeka kiraga Poliisi eremeddwa ogwayo - Katikkiro Mayiga

Amagye okukwata abamenyi b'amateeka kiraga Poliisi eremeddwa ogwayo - Katikkiro Mayiga

By Dickson Kulumba

Added 22nd January 2018

Amagye okukwata abamenyi b'amateeka kiraga Poliisi eremeddwa ogwayo - Katikkiro Mayiga

Yamba 703x422

Katikkiro Mayiga ng'abuuza abaami b'amasaza. Wano yabadde abuuza ku Francis Mugumya Ntambaazi ow'essaza ly'e Kabula. Ku kkono ye Pookino Vincent Mayiga ne Muteesa Felix Nsamba ( Mawogola) ku ddyo.

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga yagambye nti amagye okutandika okukwata abamenyi b’amateeka kiraga nti poliisi tekyasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwayo n'asaba Gavumenti eya wakati okwongera amaanyi mu kulwanyisa ettemu n’obubbi mu ggwanga.

Yabadde mu lutuula Olwokuna olw’Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 25, e Bulange - Mmengo eggulo ne yeewuunya eky’amagye okutandika okukola emirimu egyandibadde gikolebwa poliisi.

“Ettemu lingi, poliisi yanafuwa? Ndowooza tekyasobola kunoonyereza kale kyeraliikiriza naye Gavumenti ensonga eyo egirowoozeeko. Nalabye nga bakwata bano bagundi, Abdallah Kitatta simanyi 2010, amagye ge gaayisizza ekiwandiiko naye ebintu ebyo tebirina kuba bya poliisi?

Naye kirabika aba poliisi tebasobola oba! Kuba omumenyi w’amateeka ono owabulijjo, atta abantu, abba abantu, akola atya! Mujjukira kyennabagamba mu December nga tulina wano?,” Mayiga bwe yeebuuzizza.

Kino kiddiridde amagye okufulumya ekiwandiiko ku Ssande nga January 21, 2018 nga galaga nga bwe gakutte aba Bodaboda 2010 abeenyigira mu ffujjo n’ettemu eritali limu mu bitundu bya Kampala ng’ate guno gulina kuba mulimu gwa poliisi.

NEMA EWEEBWE AMAANYI

Katikkiro Mayiga yasabye Pulezidenti Museveni okuwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi (National Enviroment Management Authority-NEMA) amaanyi okukuuma entobazzi n’ennyanja bireme kwonoonebwa nga bazimbamu amakolero n’enju, okuyikuulwamu omusenyu ekintu ekiteeka eggwanga mu katyabaga bwatyo n'asaba abantu ba Buganda okwongera okusimba emiti mu kwanjula, okwabya ennyimbe n’obubaga bw’okusanyuka obukolebwa.

“Nsaba Pulezidenti Museveni, kino nkimusabira ddala butereevu aveeyo bukuukuubira ku nsonga y’obutonde bw'ensi. Gavumenti esaana okwongera NEMA amaanyi etuukirize obutonde bw'ensi. Twagala abantu bazimbe amayumba naye okikolera buli w'osanze. Wasaana okubaawo ebitundu ebikkirizibwa okusimamu omusenyu naye si buli w'osanze. Nawulidde Salim Saleh agamba nti tulina okusima omusenyu mu Nnalubaale, tuzimbe amayumba. Ako si kabaate. Buganda yeetolodde nnyanja Nalubaale, ejjuddemu entobazzi era ffe ng’Obwakabaka bwa Buganda tuwagira ssentebe wa Wakiso, Lwanga Bwanika era ne Bassentebe ba disitulikiti abalala balabire ku mukulu ono,” Mayiga bwe yasabye Museveni era ne yeebaza Bwanika okulwanirira obutonde bw'ensi.

Mayiga yayongedde okukiggumiza nti ettaka ly’e Golomolo- Buikwe mu Kyaggwe nti lya Namasole nga teririna kutwalibwa muntu yenna era ne yeewuunya Minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule okugamba nti tamanyi Namasole kye kitegeeza wabula n'agumya bonna abali ku ttaka ly’Obwakabaka nti tewali nteekateeka za kubagoba.

Kabaka yasiimye omwaka guno guba ogw’okujjaguza ng’Obwakabaka bujaguza nga bwegiweze emyaka 25 bukya Bwakabaka buddizibwawo era n'asaba abavubuka beenyigire mu nteekateeka eno ng’entikko yaakwo yakubeerawo nga July 31, 2018.

Mu kubuulirira abavubuka ku bye balina okutambulirako omwaka guno, Katikkiro Mayiga yabasabye okwekolamu ebibiina eby’obwasseruganda nga bitunuulidde okusiga ensimbi n’okwekulaakulanya ate n’okwewala okugoberera abavubuka abayiwaayiwa ssente n’okwewala beetingi.

Ng’omuzindaalo gwa Kabaka, Mayiga yannyonnyoredde Obuganda ensonga 12, Kabaka ze yalambikamu Obuganda okugoberera omwaka guno okuli okugenda mu maaso n’okukulaakulanya Olubiri lw’e Mmengo, okumaliriza amasiro g’e Kasubi, okwenyigira mu bukulembeze, okuwandiika n’okusoma ebitabo, okwewala mukenenya, okusomesa abaana, okutumbula obuyonjo, obuntubulamu, okwewala enguzi n’okuwangana ekitiibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.