TOP

Eyammenya omutima antuusizza ku ssanyu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2018

OMUVUBUKA gwe nawa omutima gwange nagugalabanja yannyamba okufuna essanyu. Nze Jane Namusu 21, mbeera Wakiso nga nkola mu dduuka. Nafuna omulenzi n’ankwana ne tusiimagana.

Wamba 703x422

Twateesa okwagalana nga tewali kwerekerayo nga ndowooza nti tuli ku mulwamwa gwe gumu.

Twasooka kubeera ba mukwano era nga tukwatagana bulungi, wabula nga wayise emyezi mukaaga mu 2016, yatandika okukyuka ng’essimu gy’abadde akuba emirundi esatu olunaku nga kati agikuba lumu n’obutakubira ddala.

Tugenda okutuuka mu December nga omukwano gukendedde kyokka nga ye muntu yekka gwe nnali nsibiddeko olukoba.

Kino kyanneeraliikiriza ne mbulwa emirembe kuba nnali mmwagala okukamala naye nga mikwano gyange giwoza kimu nti omulenzi y’ankyawa. Nasigala mmukubira essimu era ng’azikwata naye nga bwe musaba tusisinkane twogeremu ng’abaagalana ng’agamba nti ali bbize.

Ssekukkulu bwe yatuuka ne mukubira essimu nga njagala tugirye ffembi, lwe yantegeeza nti, “Genda ewammwe kuba nange nnina gwe ηηenda okugirya naye, ebyange naawe byaggwaawo dda.” Nawulira nga nzigwerera era Ssekukkulu y’omwaka ogwo nagiyitamu nga ndi mu maziga era ne mpulira nga buli kitonde kisajja nkikooye.

Bankwananga nga mbakongooza bigere naye mu bankwana mwe mwali ne mwana mulenzi ono.

Ono namugambanga wabula nannemerako okutuusa nange bwe natandika okumulowoozaako olwo ne tutandika okuwuliziganya. Twateesa okusisinkana n’ambuulira ensonga ze nange ne mmugamba ezange naye ng’omutima gwange gwali gumusiimye. Ate nga naye anjagala.

Yatuuka n’okuntwala ewaabwe n’andaga ne maama we era wano we nakakasiriza nti ddala anjagala nange ne nsumulula omutima gwange. N’okutuusa kati omukwano gwaffe tegusalikangako.

Nneebaza Katonda eyanzigyako oli n’andaga ono kuba bingi bye ndabye nga ndi n’ono bye sandifunye nga ndi n’oli eyankaabya.

Yansangula amaziga ge nalina era mmusuubiza okumufumbirwa n’okumuzaalira abaana nandiki abalongo olwo omukwano gweyongere okunyuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...