TOP

Ekibonerezo ky'akalabba kikyaliwo - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

PULEZIDENTI Museveni alaalise nti agenda kutandika okuteeka omukono ku kiragiro ky’okuwanika abasibe abasingisibwa emisango gy’anaggomola ku kalabba abantu bakimanye nti ekibonerezo kikyakola.

Museveni 703x422

Okuva ku kkono omulamuzi Yorokamu Bamwine, minisita Kahinda Otafiire, Ssaabalamuzi Bart Katureebe, Pulezidenti Museveni ne Paul Gadenya oluvannyuma lwa Museveni okuggulawo olukuhhaana lw'abalamuzi e Munyonyo.

Bya ALICE NAMUTEBI

PULEZIDENTI Museveni alaalise nti agenda kutandika okuteeka omukono ku kiragiro ky’okuwanika abasibe abasingisibwa emisango gy’anaggomola ku kalabba abantu bakimanye nti ekibonerezo kikyakola.

Museveni yagambye nti y'abadde aginya abazzi b’emisango obutawanikibwa ku kalabba kyokka nga kkooti yalagira dda naye kati kagenda kubajjutuuka. Bino Museveni yabyogedde aggulawo olukungaana lw’abalamuzi olwa 20 olwatudde e Munyonyo.

Yagambye nti wadde ebibiina by’obwannakyewa bingi byagala ekibonerezo kya kalabba kiggyibwewo nga bwe kyakolebwa mu nsi z’e Bulaaya, balina okukimanya nti endowooza ya Bannayuganda ya njawulo nnyo ku b'e Bulaaya.

Museveni yakoma okuteeka omukono ku kiragiro ky’okuwanika abasibe ku kalabba mu 1999 era abantu 27 omwali ne Musa Ssebulumbi eyasingisibwa omusango gw’okutta Eldard Medard Luttamaguzi mwe yawanikibwa.

Yakuutidde abalamuzi okusooka okulowooza ku ndowooza z’abantu nga bagenda okusala ebibonerezo era nabakuutira nti bwe baba baagala okuleetawo embeera y’obwegugungo mu bantu, bageze bawe omuzzi w’omusango ekibonerezo ekisaamusaamu ng’abadde agwaana kalabba.

Museveni era yalaze obwennyamivu olw'engeri kkooti gye yakuttemu ensonga z’abakinjaagi abaasangibwa n’ennyama nga bagitaddemu eddagala ly’abafu. Yagambye nti “omuntu azannyira ku bulamu bw’abantu mumuwa mutya ekibonerezo ky’okusibwa emyezi 8 gyokka?

Ssinga nze eyabadde mu kkooti nandibadde musiba emyaka nga 20,” Museveni bwe yagambye.

Ku nsonga y’okwongeza abalamuzi emisaala Museveni yagambye nti tukyabbulula byanfuna bya ggwanga era tulina okukozesa akatono ke tulina.

Yagambye nti yadde ng'ensonga yaabwe ekolebwako, tagenda kumala gapapirira kukkakkanya ku kizibu wabula ayagala ensonga y’okubongeza emisaala ekolebweko lumu nga bwe kyakolebwa ku minisitule y’enguudo eyayongezebwa ssente n'etandika okukola enguudo eziri ku mutindo.

Museveni yagambye abalamuzi nabo balina okulowooza ku nsonga y’okukomya enguzi n’okulowooza ku musolo gwe bakungaanya.

Yagambye nti bwe baba basaba okwongezebwa emisaala, bave ku by’okusabira awamu n’ababayamba kubanga kiyinza okuzitoowerera Gavumenti .

Ate ye Ssaabalamuzi Bart Katureebe yagambye nti bakyetaaga okubongeza kumuwendo gw’abalamuzi mu madaala gonna n’okulongoosa ku mbeera mwe bakolera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam