TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi Bamugemereire alagidde akulira abapunta mu Wakiso alekulire

Omulamuzi Bamugemereire alagidde akulira abapunta mu Wakiso alekulire

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

OMULAMUZI akulira akakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka, Catherine Bamugemereire alagidde akulira abapunta mu disitulikiti y’e Wakiso Dr. Joseph Kizito Batume alekulire bw’alemwa bamusindiikirize ave mu ofiisi.

Mugisa1 703x422

Mugisa owa NFA (wakati) ng’atwalibwa Poliisi okukola sitatimenti.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

OMULAMUZI akulira akakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka, Catherine Bamugemereire alagidde akulira abapunta mu disitulikiti y’e Wakiso Dr. Joseph Kizito Batume alekulire bw’alemwa bamusindiikirize ave mu ofiisi.

Batume yabadde mu kakiiko k’ettaka eggulo ng’annyonnyola ku mivuyo gy’ettaka ly’ekibira ky’e Kajjansi.

Mayiro emu erimu yiika 664 nga Batume akolagana n’ekitongole ky’ebibira baagisalako yiika 494 ne baziguza Ephraim Ntaganda n’abalala.

“Twawandiikira dda abakulira disitulikiti y’e Wakiso bakugobe Dr. Batume naye simanyi kigenda mu maaso kubanga okyali mu ofiisi. Nkuwa amagezi otambule ogende bw’olemwa era ojja kusindiikirizibwa oveewo,” Omulamuzi Bamugemereire bwe yaggumizza.

 kulira akakiiko mulamuzi atherine amugemereirwe Akulira akakiiko Omulamuzi Catherine Bamugemereirwe

 

Okutuuka okutaamira Batume, Michael Mugisa akulira ekitongole ky’ebibira (NFA) ye yasoose mu kakiiko ng’awerekerwako munnamateeka Ruth Kisakye. Bingi ku bye baamubuuzizza ng’abyogerako si mulambulukufu bwe yabadde amaliriza okuwa obujulizi.

Omulamuzi n’amubuuza oba yandyagadde bamuggye mu lujjudde bamutwale mu kisenge awatali kkamera ayongere okubabuulira bye yabadde asirikidde.

Mugisa yagaanye okumuggya mu kkamera. Omulamuzi yamulagidde aweeyo akawunti ye basobole okumanya ssente z’alina ku akawunti bageraageranye n’omuwendo gwe bamanyi kubanga baakitegeera dda nti ddiiru y’okutunda ettaka ly’ekibira ky’e Kajjansi yalimu obuwumbi bubiri nga tebatunudde ku ttaka lya bibira birala bye bazze batunda.

Yalagidde abaserikale okumutwala mu bakulira okunoonyereza mu kakiiko baddemu okumuggyako sitatimenti kubanga baazudde nga bye yasooka okwogera bya bulimba.

Era ne Kisakye munnamateeka wa NFA baamulagidde akole sitatimenti annyonnyole ku mivuyo gino.

Mugisa baasoose kumuwa bbaluwa gye yawandiika mu October 2016 n’agyegaana. Ne bamuwa endala gye yawandiika mu September 2016 ng’ekwata ku ttaka lino okusalawo okulitunda n’agikkiriza, endala n’agiwandiika mu March 2017 nayo ng’eri ku nsonga za ttaka lino kyokka bwe yamala okuliwaayo ate mu August 2017 n’awandiikira Omuwabuzi wa gavumenti ku by’amateeka okwebuuza kye babeera bakola ku ttaka lino kubanga yali akitegedde nti akakiiko katandise okulibuulirizaako.

Omulamuzi yakyukidde Mugisa n’amubuuza oba yali asisinkanye Ntaganda. Yabadde ayanukula nti nkinnyonnyodde bulungi nti…. Omulamuzi n’amulya ekimuli nti nedda nedda nedda mwami Mugisa oyitiridde okutubuzaabuza.

Soma endagaano eyo (yamuwadde endagaano eyakolebwa Ntaganda ng’eraga nti yali ayongera okusasula ku ssente ezaali zibulayo asonjole obuguzi ku ttaka lino).

Munnamateeka John Bosco Suuza yamubuuzizza lwaki ebbaluwa ez’enkizo yazisirikira kyokka akakiiko kaasobodde okuzikwekula. Yakimutaddeko nti kino yakikola agezaako okukweka obujulizi.

Kaminsona Joyce Habasa, yabuuzizza Batume annyonnyole ku ttaka lino eriri ku bbulooka 376 Busiro ne Bbulooka 537 ne poloti ze baasalamu.

 r oseph atume ku ddyo ngali mu kakiiko ne munnamateeka we mbrose ebyasa Dr. Joseph Batume (ku ddyo) ng’ali mu kakiiko ne munnamateeka we Ambrose Tebyasa

 

Bulooka ezimu baazitondawo mu kimpatiira, emu esangibwa Kakiri endala Bukasa.

Okuzuukusa emivuyo ku ttaka lino, muzeeyi Deziderio Kasujja yeekubira enduulu mu Kakiiko ng’agamba nti Ephraim Ntaganda ne muganda we Sedrick Songoza baasaanyawo ekibira kya kalittunsi ku ttaka NFA lye yali emupangisizza alimireko emiti ng’alundirako n’enjuki ze baakumamu omuliro ne zifa.

Wiiki ewedde, John Kisembo naye yawadde obujulizi ng’emiti gye yali alimira ku ttaka lino gyasaanyizibwawo.

Akakiiko kazzeemu okuyita Ntaganda annyonnyole ebyaliwo ne William Bonge alina ekitundu ku ttaka lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso