Kino kiddiridde Moze okulwana n'omu ku bakanyama b'ebbaala ebbaala ya Freedom Beach e Ntebe ku Mmande era wakati mu kuwuuba enguumi amuddize yalemereddwa okuyimirira obulungi ku ttaka n'akubawo omutwe wansi!
Wabula kigambibwa nti Moze ye yatandise olutalo bwe yafuse omwenge ku badigize n'okubavuma , kanyama olwamugambyeko n'amukuba ebikonde naye kwe kuva mu mbeera n'amukuba eng'uumi eyamusudde ku ttaka n'akubawo omutwe, ne bamuggyawo nga tamanyi biri ku nsi.
Omu ku mikwano gya Moze abamuli ku lusegere ategeezezza nti okuva eggulo ali mu kkoma tamanyi biri ku nsi!
Wabula obubaka obuli peegi ne Radio ne Weasal eya Facebook bagumizza abawagizi baabwe nti Radio kati ali bulungi, takyali mu koma nga amawulire bwe gabadde gasaasaanira ku mikutu gya yintaneti egyenjawulo, akyafuna obujjanjabi obw'ekikugu.