TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyapangisa Chameleon okuyimba e South Afrika n'atalabikako addukidde mu kkooti: Ayagala bamuliyirire obukadde 53

Eyapangisa Chameleon okuyimba e South Afrika n'atalabikako addukidde mu kkooti: Ayagala bamuliyirire obukadde 53

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

OMUYIMBI Jose Chameleon [Joseph Mayanja] atwaliddwa mu kkooti enkulu lwakufera ssente obukadde 53 okuva ku pulomoota eyamusasula ssente okukola konsati ya Wale wale mu South Africa nakoma kulya ssente naye natalabikako ku lunnaku lwa konsati.

2690376815614552972648482787617850330614419n 703x422

Bya ALICE NAMUTEBI

OMUYIMBI Jose Chameleon [Joseph Mayanja] atwaliddwa mu kkooti enkulu lwakufera ssente obukadde 53 okuva ku pulomoota eyamusasula ssente okukola konsati ya Wale wale mu South Africa nakoma kulya ssente naye natalabikako ku lunnaku lwa konsati.

Zaina Muwonge  nnannyini Sezana promotions y'atutte Chameleon mu kkooti. Agamba nti yamufera emirundi 2 nga bakkaanya agenda e South Africa okukuba abaayo omuziki kyokka yalaba ennaku za konsati zinaateera okutuuka essimu ze zonna n'aziggyako.

Muwonge agamba nti mu 2015 yawa Chameleon obukadde 25 nga bamaze okukkiriziganya nti agenda kukola konsati ya Wale Wale okumala ennaku 3 mu bibuga; Pretoria, Cape town ne Durban e South Africa.

Agamba yasooka n’amusasulako obukadde 25, oluvannyuma n'amuweereza ssente endala obukadde 12 akole ku bya pasipooti ye n’ekibinja ky'ayimba nakyo ng'amaze okumutegeeza nti ebitambuliiso bye neby’abantu be abamu byabbibwa!

Muwonge annyonnyola nti yagenda mu maaso okupangisa woteeri ey’omulembe Chameleon n’ekibinja kye we baali bateekeddwa okusasula n'akubbisa n’ebipande ebiranga  ebivvulu kyokka ku lunaku Chameleon lwe yalina okulinnya ennyonyi okugenda e South Africa n’ekibinja kye amassimu gonna baagaggyako n'abulwa engeri gy'ayogeraganyaamu nabo era konsati bw'etyo n'eyiika.

Ng’ayita mu kkampuni ya Lukwago and company advocates, Muwonge agamba nti mu 2016 Chameleon yamukubira essimu nga yeetonda olwebyo ebyatuukawo n’okumukozesa loosi ne bakkiriziganya bakole konsati endala agenda ayimbe.

Muwonge agamba nti konsati ya Wale wale ey’okubiri nayo yali yaakumala ennaku 3 mu bibuga; Durban, Pretoria and Cape town era n'agenda mu maaso okusasula wooteri  w'anaasula n’ekibinja kye nga batuuse e South Africa n’okubisa ebipande saako okulanga kyokka era Chameleon n'adda mu buzannyo bwe bumu n'aggyako essimu ze ku lunaku lwe yalina okulinnya ennyonyi, n'atagenda South Africa, bw'atyo Muwonge n'akola loosi omulungi ogwokubiri nakola loosi omulundi ogw’okubiri.

Yagambye nti ebikolwa bya Chameleon bimuviiriddeko okumwonoonera erinnya mu bizinensi y’okuyimba n’okukola loosi kwe kusaba kkooti eragire Chameleon amuliyirire ssente obukadde 53 agatteko n'okumuliyirira ensimbi endala  olw’okumwonoonera erinnya ly'azimbidde ebbanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....