TOP

Kitatta be yatuusaako obulabe bawadde obujulizi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

OKUKWATA Abdallah Kitatta kiddiridde abantu abawera okuli n'aba bodaboda ab'enjawulo okuvaayo ne bamulumiriza eri minisita w'ensonga z'Obutebenkevu mu ggwanga, Henry Tumukunde ne bamulaga ebikolobero by'abatuusizzaako.

Awa 703x422

Aba bodaboda nga balaga Tumukunde (ku kkono) ebisago. Ku ddyo, Omutwe gwonna aba Bodaboda 2010 bagukubaakuba

Embeera bwe yasajjuse ennyo kye kyawalirizza minisita w'ensonga z’obutebenkevu bw'eggwanga Henry Tumukunde okuwa ekiragiro ekikwata aba 2010 mu bikwekweto ebyatandise ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Nga August 2, 2016, ekibinja ky’abakungu ba Gavumenti ekyakulemberwa minisita Tumukunde ne ba minisita ba Kampala okwali; Beti Kamya ne Benny Namugwanya baayita ebibiina by’abavuzi ba bodaboda mu Kampala be baasisinkana ku ofiisi za Pulezidenti eziri okumpi ne Palamenti.

Mohammad Kasujja, ssentebe wa Century Bodaboda Riders awamu n’omwogezi waabwe Peter Kankaka be baakulemberamu bannaabwe abaalombojja ennaku aba 2010 gye babatuusizzaako.

Baalumiriza ekibiina kya Bodaboda 2010 ne bagamba nti baali beenyigidde mu kubatulugunya n’okutta abavuzi ba bodaboda mu Kampala ne bitundu ebirala.

 ba bodaboda nga balaga umukunde ku kkono ebisago Aba bodaboda nga balaga Tumukunde (ku kkono) ebisago.

 

Sadat Katabira omu ku bavuzi ba boda okuva mu Century yalaga embale n’ebisago ebyali ku ngalo n’omugongo bye yalumiriza nti byali bimutuusiddwaako basajja ba Kitatta mu kibiina kya Bodaboda 2010.

Ono yeegattibwako banne abalala abaalaga ebisago n’enkovu ez’amanyi mu mugongo ne mu mbiriizi ekintu ekyesisiwaza ba minisita ne baggyayo obutabo bwabwe ne bawandika bye baali balabye wakati mu kwewuunya n’okunyenya emitwe.

Abalala okwali Kasujja ne Kankaka baalombojjera ba minisita ennaku gye baali bayitamu olw’okutulugunyizibwa kw’ekibinja kya boda 2010 era ne basaba abakungu bano okubeerako kye bakolawo.

Bano baategeeza nti baali bagezezaako okwekubira enduulu ku poliisi ezenjawulo kyokka nga tebafuna kuyambibwa era nga baali bawulira nti abamu ku bakulembeze ba Bodaboda 2010 baali bakolagana n’abanene mu kitongole kya poliisi.

TUMUKUNDE BYAMUKUBA WALA

Embeera y'ennaku n’okutulugunyizibwa okususse yeewuunyisa Tumukunde n’abuuza nti;

‘Kye mugamba ebyo byonna bibadde bigenda mu maaso nga musirise era nga mulinga abalowooza nti mu ggwanga lino temukyalimu gavumenti?’

 no apooca na biwundu mu ddwaaliro Ono apooca na biwundu mu ddwaaliro.

Yayongera okutabuka n’akunya abaserikale ba poliisi okwali Jeff Ssebuyungo ne Kituuma Rushoke abakulira ebikwekweto bya poliisi mu kitongole kya KCCA ng’ayagala bamunnyonnyole ensonga lwaki ebyali bimulooperwa aba Century byali bigenda mu maaso nga tebalina kye bakolawo.

Bano baasanga obuzibu okumuwa okunnyonnyola okutuufu era wakati mu kukaluubirizibwa basaba aba Century okubatwalira obujjulizi ku bantu bonna be baali balumiriza okubeera emabega w’ebikolobero by’okuyiwa omusaayi gw’abavuzi ba Bodaboda gye bali babavunaane.

Oluvannyuma abakungu bano (aba Gavumenti) baasisinkana n’aba Bodaboda 2010 kyokka nga baatandikira mu kubabuuza lwaki Kitatta ne banne ab’oku ntikko baali tebalabiseeko mu nsisinkano eno.

Ensisinkano yagenda mu maaso nga Tumukunde abuuza basajja ba Kitata kajojijoji w’ebibuuzo ku byali biboogerwako kyokka ng’ebimu bibalema okwanukula obulungi.

Tumukunde yasuubiza nga bw'ajja okugenda mu maaso anoonyereza ku byali byogerwa era nga bwanaasanga nga bituufu bisalirwe amagezi.

Okuva olwo abantu abawerako bazze bawa obujulizi ku poliisi nga balumiriza okubatulugunya. Abamu babadde bafuna omukisa ne batuukirira Tumukunde butereevu.

 yamukama ngalaga omukono ogwatemebwako ekibatu Byamukama ng'alaga omukono ogwatemebwako ekibatu.

 

Emirundi mingi ensonga za Bodaboda 2010 zizze zituuka mu Palamenti naddala ensonga z’okukuba abayizi b'essomero abaakubwa e Busega bwe baali bagenda mu ku mukolo nga beesibye obutambaala obumyufu ku mitwe.

Wiiki ewedde, omubaka wa Palamenti owa Butambala, Muwanga Kivumbi yatabukidde Kale Kayihura ng’ali mu kakiiko k'ebyokwerinda n’amusaba annyonnyole Kitatta ne banne aba Bodaboda 2010 gye bajja obuyinza kuba basusse ate nga teri abakuba ku mukono.

Davis Byamukama olunaku lw'eggulo yakedde ku poliisi y'e Nateete n’aloopa aba Bodaboda 2010 abaamutulugunya n’afuna obulemu obutalimuvaako.

Yategeezezza nti yagwa mu ba Bodaboda mu 2010 ne bamukuba bubi ne batuuka n’okumutemako ekibatu ky’omukono ne kigwa wali. Baali bamulanga butabeera na kaadi ya kibiina kyabwe.

Baamukuba ne balowooza nti bamusse kuba yali takyavaamu kigambo nga bagenderera okubuza obujulizi. Oluvannyuma abadduukirize baamuyoolawo ne bamutwala mu ddwaaliro e Mulago.

Mu kiseera kino yafuna obulemu nga takyalina kye yeekolera nga mu kiseera kino abeera ne muganda we e Buloba amulabirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA