TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Msgr. Katende avumiridde abakolera hanemmuunu ku bbiici

Msgr. Katende avumiridde abakolera hanemmuunu ku bbiici

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

OMWOGEZI w’essaza ekkulu erya Kampala Msgr. John Wynand Katende awadde abafumbo abamaze okugattibwa amagezi obutakolera hanemmuunu ku biici okwewala ebikemo ebiyinza okutaataganya omukwano gwabwe.

Bagole 703x422

Msgr. Katende ng'akwasa abagole ekirabo kya Bayibuli oluvannyuma lw'okubagatta. EKIF: LAWRENCE KIZITO

Bya Lawrence Kizito

OMWOGEZI w’essaza ekkulu erya Kampala Msgr. John Wynand Katende awadde abafumbo abamaze okugattibwa amagezi obutakolera hanemmuunu ku biici okwewala ebikemo ebiyinza okutaataganya omukwano gwabwe.

Bino Msgr. Katende okubyogera yabadde mu kuyigiriza mu mmisa mwe yagattidde abagole; Martin Muddu n’Omumbejja Jascent Nassuuna muwala w’Omulangira Joseph Ndawula, eyabadde ku luttikko e Lubaga ku Ssande nga 20th/01/2018.

Yategeezezza nti ku bbiici wabeerayo abakazi abambadde mu ngeri eyeesittaza nga kino kiyinza okuleetera omugole omusajja okuva ku mwagalwa we ebirowoozo n’abizza ku bawala, ekintu ekiyinza okutabula obufumbo.

Katende yavumiridde n’ekya Gavumenti okuleeta ebbago lya ‘marriage and divorce bill’ lye yayogeddeko nga erigendereddwaamu okutta ekkula ery’obufumbo obutukuvu.

Yagambye nti eky’okwawukana mu bufumbo tekisaana na kuteesaako kubanga Bayibuli egamba nti Katonda ky'agasse teri tewaba omuntu yenna akigattulula.

Yayongeddeko nti obufumbo okusattulukuka kye kiviiriddeko okufuna abaana abatalambikiddwa bulungi nga kino kiteeka ebiseera by’eggwanga ne Ekleziya eby'omu maaso mu matigga.

Katende yasabye abaagattiddwa okufuba okulaba nga bakuliza abaana baabwe mu Katonda n'eddiini basobole okubeera abatuuze ab’omugaso mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....