TOP
  • Home
  • Buganda
  • Katikiro atongozza olukiiko olugenda okutegeka ebijaguzo by'amatikkira ga Kabaka

Katikiro atongozza olukiiko olugenda okutegeka ebijaguzo by'amatikkira ga Kabaka

By Dickson Kulumba

Added 23rd January 2018

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga atongozza Olukiiko olugenda okutegeka ebijaguzo by’emyaka 25 bukya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ebinabeerawo nga July 31, 2018 nga Kabaka yalangiridde bimaleko omwaka mulamba.

Kakiikomatikkira4 703x422

Katikkiro Mayiga ng'ali mu Kifananyi n'Olukiiko olugenda okutegeka amatikkira ga Kabaka 2018 aganabeerawo nga July 31,2018.

Katikkiro yalutongolezza Bulange - Mmengo ku Lwokubiri nga January 23, 2018 n'ategeeza nti ekirondeseza olukiiko luno olukulemberwa Dr. Twaha Kigongo Kaawaase kwe kuba nti Obwakabaka bwagala bukole omukolo ogwamaanyi oguggya mw'ebyo ebituukiddwako mu myaka 25.

“Tutandise enteekateeka zino ng’obudde bukyali kitusobozese okuteekateeka omukolo ogusaanidde ebijaguzo by’emyaka noolwekyo ntongoza olukiiko luno nga njagala lutandikirewo emirimu, mubage enteekateeka eneggyayo obulungi ebijaguzo bino,” Mayiga bwe yagambye.

Robert Waggwa Nsibirwa ye Mumyuka wa Ssentebe, Mulema Mukasa (Muwandiisi), Joseph Kawuki, Amb. William Matovu, Mohamood Thoban, Ying. Martin Sseremba Kasekende, Henry Ssekabembe, Noah Kiyimba, Joyce Nabbosa Ssebugwawo, Omulangira Chrispin Kiweewa Jjunju, Omumbejja Joan Nassolo, Patrick Luwagga Mugumbule, John Fredrick Kiyimba Freeman (n’aba Buganda Twezimbe), Godfrey Kirumira, Emmanuel Katongole, Paddy Kiganda, David Ssekamatte, abakulu b’ebitongole n’abalala be bamu ku bali ku lukiiko luno.

“Tujaguza kuba Katonda asobozeseza Kabaka okutuula ku Nnamulondo emyaka 25 be ddu! Oyo yenna agoberera enteekateeka z’Obwakabaka, asobola okulaba nti emyaka 25 gibaddemu ebintu bingi ebitwongeddeyo mu maaso. Abaganda beeyongedde okumanya, okutegeeza n’okuwagira ebyobuwangwa n’ennono zaabwe ebyali bifudde. Ssaabasajja akumyekumye abantu nga tetufuddeeyo ku mbeera zaffe; eddiini, amawanga, Ebyenjigiriza bitumbuddwa, Ebyobulamu byongeddwaamu amaanyi, amakampuni gatandikiddwaawo, obukulembeze bw’emitendera gyonna egy’Obwakabaka bwongeddwaamu amaanyi n’ebirala bingi era bwe mbagamba nti emyaka 25 gibaddemu ebibala bingi mukkaanya nange,” Mayiga bwe yategeezezza.

Mu ngeri y’emu, Mayiga yatongozza enkola y’Oluwalo 2018 n'ategeeza nti Obwakabaka bwetaaga ensimbi ez’okutambuza emirimu egya buli lunaku noolwekyo enkola eno ewa abantu ba Kabaka omukisa okwetaba mu kutambuza emirimu gya Kabaka.

Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki yasabye abaami b’amagombolola okukola enteekateeka mu budde ezinaabasobozesa okukiikanga mu maanyi mu nkola eno wabula si kulindanga wasigadde wiiki bbiri ne batandika okukunga abantu kuba omwaka guno enkola eno Obwakabaka bwagala eveemu ensimbi ezisukka obukadde 400.

Amagombolola agasoose okuleeta Oluwalo okuli Ntenjeru, Mutuba VIII Koome, Ssaabawaali Buikwe n’endala ezaakulembeddwaamu Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo baaleese ensimbi ezisukka obukadde musanvu.

Ssekiboobo yalaze obwennyamivu olw’abantu ba Kabaka okwesamba enteekateeka zonna ezikolebwa mu ggwanga okuli ebyobufuzi, okwewandiisa okufuna densite n’ebirala ebimu ku bintu ebibakuumidde emabega.

Ronald Kawadwa akulira Majestic Brands yategeezezza nti ebirabo bingi ebigenda okuwangulwa abo okuli pikipiki enaatwalibwa eggombolola enneesinga okukuhhanya Oluwalo nga yeegasse ku nte.

Ente eya 2017 yawangulwa ggombolola y’e Makindye Mutuba III era Katikkiro yagibakwasizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza