TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebintu 10 ebitera okutta enkwaso y’abasajja ne babonaabona okuzaala

Ebintu 10 ebitera okutta enkwaso y’abasajja ne babonaabona okuzaala

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

OMUSAJJA omulamu obulungi buli lw’atuuka ku ntikko y’okusinda omukwano alina okufulumya enkwanso ezitakka wansi wa 20,000,000 mu ‘millilita’ emu y’amazzi g’ekisajja. Era ssinga bakukebera ne bakizuula nga z’ofulumya zikka wansi w’omuwendo ogwo, wabeerawo obuzibu.

Sse 703x422

Okubeera mu bbugumu eringi ng’okwokya ebyumya nakyo kikosa enkwanso.

Kiyinza okuba ng’ofulumya ntono (oligospermia) okusinziira ku muwendo ogwetaagisa oba ng’amazzi g’ofulumya temuli nkwanso n’emu “ azoospermia” ekyeraliikiriza kubanga emikisa gyo egy’okufunyisa omukazi olubuto oba okuzaala gibeera wansi .

Dr. Emmanuel Bukalu, omusawo w’abakyala era nga mukugu mu by’okuzaala okuva mu Zziwa Memorial Medical Centre e Bweyogerere agamba nti enkwanso okukolebwa nga zituukiridde bulingi ebitundu by’ekisajja birina okubeera mu mbeera ennungi era nga zikolaganira wamu n’ebirungo by’oku bwongo ebivunaanyizibwa ku kufulumya enkwanso.

Enkwanso bwe zikolebwa, zisomosebwa obuseke obuli mu busajja ne zifuluma okutuuka mu nnaabaana gye zisisinkanira eggi okusobola okutonda omwana. Enkwanso ennamu obulungi erina okuba n’omutwe, obulago, omubiri n’omukira okwefaanaanyirizaako akayamba mu mazzi.

Ekintu kyonna ekitataaganya omutendera guno ogw’enkwanso ekolebwa, kikosa n’ekikula kyazo ekiziviirako okufuluma nga tezituukiride ne kivaako okulemala nga tezirina mutwe oba mukira, okukendeera, okunafuwa nga tezisobola kuwuga, sinakindi okufa.

Ekyennaku, tewali bubonero bwa nkukunala omusajja bw’ayinza kumanyirako nti alina ekizibu kino okuggyako bw’okizuula nti olemereddwa okufunyisa omukazi olubuto.

Wabula ssinga okizuula nga tolina maanyi ga kisajja, omalamu mangu akagoba, okufuna obulumi oba ng’olina ekizimba mu kisawo ekibeeramu entula z’ekisajja n’ebifo ebyetooloddewo, laba mangu omusawo akwekebejje.

EBIVIIRAKO ENKWANSO OKUFA

  1. Ebbugumu bwe lisukka nalyo kiyinza okutta enkwanso. Bw’obeera mu bifo ebirimu ebbugumu erisusse oba ng’osiiba mu musana omungi kikosa enkwanso. Okunoonyereza kulaga nti omusajja gy’akoma okubeera mu sawuna, okwennyika mu bibaafu by’amazzi agookya oba okusiiba mu musana pereketya, kikendeeza enkwanso ezikolebwa, okuzinafuya oba okuzitta. Embeera eno esobola okuva ku; -Ku kutuula mu kifo ekimu okumala ebbanga eddene. -Okwambala engoye ezikukwata ennyo naddala ak’omunda. -Okukozesa laptop ngeri ku bisambi okumala ebbanga eddene.
  2. Asidi omungi mu bukyala: Asidi bw’ayitirira mu bukyala, nakyo kikosa enkwanso ne zifa. Zigenda okuyingira omumwa gwa nnaabaana nga nfu.
  3. Eddagala: Eddagala erimu lye tumira nalyo litta obutoffaali obukola enkwanso ekiziviirako okukolebwa nga ntono oba nga nafu okugeza erijjanjaba ssukaali, alusa, kookolo, eritta obuwuka n’eddala.
  4. Omubisi gw’omubiri nga tegwenkanankana mu mubiri; Omubisi gw’omubiri oguvunaanyizibwa okukola enkwanso omuli “ hypothalamus, pituitary” bweguba tegwenkanakana mu mubiri, kiyinza okuvaako enkwanso ezikolebwa obutaba nnungi. Ziyinza okuvaayo nga nafu, nga nnema, nga ntono oba nga tezikuze bulungi ekiziremesa okuwuga ne zifi ira mu kkubo.
  5. Abaserikale b’omubiri okulumba enkwanso: Abaserikale abalwanyisa endwadde mu mubiri waliwo oluusi lwe bulumba enkwanso ne bazoonoona nga baziyiza abalabe, nakyo kireetera enkwanso okufa.
  6. Entula obutakka wansi mu bisawo: Omusajja bwaba akula, ensigo emu oba zombi oluusi zeewanika mu lubuto ne ziremererwa okukomawo mu bisawo byazo ekiyinza okuvaako okukalirayo era abasajja abalina obuzibu buno kiyinza okubeera ekizibu okuzaala naddala ng’ensigo zombi tezakka mu bisawo byazo.
  7. Obukosefu ku nseke ezitambuza enkwanso; Enseke ezitambuza enkwanso bwe zibaako obuzibu naddala nga zaazibikira. Kitera kuva ku mbeera nti baazirongoosaako, obutejjanjabisa ndwadde za kikaba oba yinfekisoni ne zikulekamu enkovu mu nseke n’ebirala. Okuzibikira kuyinza okubeera mu nseke ezitambuza enkwanso n’ebitundu by’obusajja ebirala ekitataaganya entambula y’enkwanso ekiyinza okuviirako enkwanso okufi ira mu kkubo.
  8. Endwadde z’ekikaba: Obutejjanjabisa ndwadde za kikaba naddala kabotongo, enziku n’endala kikosa enkwanso kubanga zitaataaganya obutonde ate ne zisigala nga zirya obutafaali obukola enkwanso ekiziviirako okufuluma nga tezituukiridde ne zifa.
  9. Enkwaso ziyinza okufa okusinzira ku mbeera y’ebifo ebitwetoolodde oba mwe tubeera: Ebiragalalagala okuva mu makolero. Gy’okoma okubeera mu makolero omuli ebiragalalagala ng’omuli eddagala eritta ebiwuka, langi ekozesebwa okusiiga, n’ebirala, kiyinza okuviirako enkwanso okufa.
  10. Enkwanso zisobola okufa ng’onywa omwenge, sigala n’okukozesa ebitamiiza.

BY’OLINA OKULYA OKUZITEREEZA

  • Obutiko obubaala: Bufumbe mu luwombo owuuteko kubanga buyamba okulongoosa enkwanso ne zifuluma nga zituukiridde.
  • Muwogo n’ebinywebwa ebibisi: Meketako ku mawogo omubisi oba ebinywebwa kubanga birimu ebirungo ebiyamba okwongera ku bungi bw’enkwanso.
  • Ssenga Melan Namatovu omukugu mu kubudaabuda abaagalana okuva mu Ba Kitonsa Research Centre agamba nti ensangi zino abaami abamu tebakyalya bintu bisobola kukuuma birungo byabwe eby’omubiri nga bikola bulungi ekinafuya enkwanso ne kizireetera okufa. Ebyokulya ebigimusa enkwanso;
  • Omusajja alina okulya ku nsujju, ebiryo, obuguju n’essunsa. Bino biyamba okukuuma ebirungo by’omubiri ebikola enkwanso nga byenkanankana ekiyambako okukola enkwanso ennungi. Ensigo z’ensujju zirimu ekirungo kya zinc ekiyamba okutereeza enkwanso.
  • Enkomamawanga: Ekibala kino bw’okirya, kiyamba okwongera ku mutindo gw’enkwanso nga bisinga kusangibwa mu byalo.
  • Enva endiirwa nazo omusajja yenna asaanye okuzettanira kubanga zirimu ekiriisa kya “ Folic acid” ekisaale mu kukola enkwanso ennamu obulungi naddala nga zirina amaanyi. Kuliko nakati, ejjobyo, ebbugga, ensugga, katunkuma n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...