TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagalana abatakyatya kwasanguza byama bya mu kisenge ku bannaabwe

Abaagalana abatakyatya kwasanguza byama bya mu kisenge ku bannaabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

NGA bwe bagamba nti eby’omu nju tebitottolwa, abafumbo oba abaagalana bandibadde na bingi bye basirikira ebikwata ku bannaabwe naddala ku nsonga z’omu kisenge kyokka ennaku zino bangi tebakyalina mmizi.

Yamba 703x422

Abakazi abamu bwe banyumiza ku bannaabwe ebizibu by’omu kisenge ate babeefuulira ne basendasenda babbaabwe ne babeewangulira.

Abafumbo n’abaagala ennaku zino tebakyasirikira bikwata ku bannaabwe naddala ku by’okusinda omukwano.

Ate omukwano bwe guba guweddewo olwo nga baasanguza buli kintu ekibadde mu mukwano gwabwe omuli n’eky’obutamalaako mu nsonga z’omukwano oba okutomerwa endiga. Jjuuzi nasanze Nandawula ng’anyumiza mukwano gwe Suzan nga bba bw’anaatera okumwesonyiwa mu nsonga z’okusinda omukwano.

‘Okimanyi nti omusajja oyo kati asooka n’anteeka mu muudu kyokka essaawa y’okuyingira Namboole bw’etuuka ate n’avuya okukkakkana ng’alemedde ku mulyango.

Olulala omutuukako nga taliimu yadde endasi nga ne bw’omwezingako abeeko ky’akola n’atavaamu mwasi. Ebiseera bino tuyinza okumala n’omwezi omulamba oba ebiri nga tewali kye tukoze mu buliri ate lw’agezezzaako n’avuya…. kale nze mpulira nkooye okunteeka mu muudu ate n’andekawo olwo ekiro kyonna ne nsula ng’omutima guntundugga,’’ Nandawula bwe yategeezezza Suzan mu nnaku.

Ate Suzan gwe baabadde banyumiza ye yabadde yaddeyaddeko kyokka nga naye yeemulugunya.

Yagambye nti bba gwe yayise Mike ye akoma ku ‘kaluutu’ kamu ate oluusi nga tekamatiza. Yagambye nti ebiseera ebisinga amuleka tamatidde.

EBIRALA BYE BEEMULUGUNYAAKO

  • Ng’ovudde ku abo ate waliwo be beemulugunyaako nti okubagyamu otuzzi otuseereza ekkubo waakiri bakutuma e Kenya ku bigere. Bagamba nti ab’engeri eno balwawo okwaka ate omusajja bw’alumba ne beemulugunya nga bwe babalumya oba okubanuubula.
  • Wabula bwe nabuuzizza Nandawula lwaki ayasanguza ensonga za bba, yazzeemu nti oluusi abeera yeebuuza ku banne ku kiyinza okuyamba bba adde engulu yadde oluusi yeesanga nga ne banne balina okwemulugunya kwe kumu.
  • Ate bbo abeemulugunya mu bannaabwe ng’abasajja baabwe bwe batamanyi kubanoonya nabo bayitirivu. Bagamba nti engeri abasajja gye banguwa okucamuka babeera baagala kuyingirirawo essaawa eyo kyokka nga bbo abakazi babeera bakyali bakalu. Wano we basinziira okugamba nti babalumya kuba babeekakaatikako nga tabannafuna bwagazi oba kiyite okubateekateeka ekimala.
  • Abakazi abalala babeera baasanguza baganzi baabwe nga bwe bawunya akamwa oba okuwunya olusu olubamalako emirembe. Ab’engeri eno baboogerako ng’abatamanyi kusenya kyokka nga mu kwagala okusaba kiisi beekansa.
  • Omulala yanyumiza munne nga ggaayi eyali amaze akaseera ng’amukwana bwe yamumalako ekyagala bwe yamufunza n’amutwala ewuwe kyokka bwe yatuuka okweyambula ng’asakaatidde okuva mu nkwawa okutuukira ddala ku bitundu ebyalina okukola emirimu. Ggaayi ono gwe yayogerako ng’asakaatidde nga Mabira (kibira kiri ku lw’e Jinja) agamba nti yali avaamu n’olusu ekyamumalako emirembe era teyaddamu kugenda naye mu nsiike.
  • Ate mu basajja beemulugunya ku bakazi baabwe ababeera ng’emiteteme mu buliri nga ne bw’ogezaako okubanoonya bbo tabazza muliro. Waliwo n’abagamba nti ne bw’ogezaako okubanoonya basooka kukumalamu maanyi nga balinga abalwana baleme kubakwatako. Abamu basooka na kusiba magulu nti oleme kukwata ku nsusuuti zaabwe.
  • Ate ku ky’abakazi abatatuuka ku ntikko kyafuuka baana baliwo. Bagamba nti ne bwe wefuumuula otya ng’olowooza nti onoobaggyamu omwasi, obeera weekutulira bwereere. Ku njuyi zombi munno bw’atuuka mu banne be yabuulira ebikukwatako abeera mu kuswala n’afuuka ekisekererwa.

Oluusi babinyumiza banganda zaabwe naye teebereza obuswavu bw’obeerako gy’okyaddeyo oba ng’abasisinkanye! Abalala ensonga zino bazinyumiza abantu abalala be babeera bakwana basobole okuwangula emitima gyabwe.

Ate bwe kituuka ku bawala abamu, babeera mu kukuba kasonso nti bamaze okwewangulira omusajja olwo ne batandika okubaza engeri gye banassa ebisoko mu mukwano omusajja asobole okumuggya ku mukazi gw’ali naye.

Ekimu ku bisinze okusattulula amaka bwe butabeera na mmizi nga bwe gwalinga edda. Dan Ddamulira owa Nana counselling services agamba nti ebizibu by’omu kisenge kumpi bifaanagana mu maka mangi.

Agamba nti ensonga ezimu abaagalana bandibadde bazikwatira wamu okugeza ku ky’omuntu wo okuwunya akamwa, okuvaamu olusu n’obuteemwa.

Agamba nti ensonga zino zandibadde nnyangu okugonjoola ne munno ng’omulaga obukulu bw’okubeera omuyonjo ne kitakwetaagisa kukinyumya mu bantu n’oswaza munno.

Ddamulira agamba nti okuzibira omwagalwa wo kye kimu ku bintu ebiwangaaza omukwano kyokka mwembi ne mufuba kulaba bwe mulongoosa embeera.

Agamba nti ebintu by’omukwano bibeera ku njuyi bbiri nti mwembi abakwatibwako mutuula ne mwogera ku bibasanyusa ku ngeri gye musindamu omukwano. Awa eky’okulabirako ku munno gw’okwatako n’asiba amagulu.

Agamba nti wandimuwabudde nti bw’akikola kimulaga ng’atayagala by’okola era gye muwunzikira weesanga ng’oweddemu amaanyi.

OBUZIBU OBUKIRIMU

Abantu bangi naddala abawala beesanga nga bannaabwe be banyumiza bino babeekyusirizza ne baganza abaagala baabwe naddala abali mu mbeera ennungi bwe bazuula obunafu obuliwo bo ne batandikira awo okutereeza embeera. Bawabudde ku

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...