TOP

Okusunsula aba S1 kutandise leero

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2018

OKUSUNSULAMU abayizi abagenda mu S1 kutandise olwaleero mu bbugumu ng’abakulira amasomero beesooka abayizi abaasinze okuyitira waggulu.

Select 703x422

Abakulu b'amasomero nga basunsula abayizi bebanatwala

Bya AHMED MUKIIBI
OKUSUNSULAMU abayizi abagenda mu S1 kutandise olwaleero mu bbugumu ng’abakulira amasomero beesooka abayizi abaasinze okuyitira waggulu.

Abakulu b’amasomero agasoba mu 3,000 bakuhhaanidde mu kizimbe ekya Uganda Manufacturers Association (UMA) Hall e Lugogo, ng’amasomero ag’amaanyi n’ettuttumu galina enkizo okutwala abayizi abaasinze okuyita PLE owa 2017.

Ku bayizi 571,252 abaayise ebya PLE, abayizi 57,198 baayitidde mu guleedi esooka nga bano baafunye obubonero obuli wakati wa 4 ne 12 era amasomero aga siniya ag’amaanyi gagenda kubalwanira okubawa ebifo mu S1.

Abayizi abaayitidde mu guleedi eyookubiri, bali 293,977 nga bano baafunye obubonero obuli wakati wa 13 ne 23 kyokka bano emikisa gyabwe mitono okufuna ebifo mu masomero aga siniya ag’amaanyi.

Okuvuganya kusuubirwa okubeera okw’amaanyi ne ku mulundi guno ng’amasomero ag’ettuttumu galinnyisa obubonero kwe gatwalira abayizi nga bwe gubadde emyaka egiyise.


Ng’emyaka egiyise bwe gibadde, essomero lya King’s College Buddo, lisuubirwa okuwanika obubonero kwe liyingiriza abayizi nga lya kusalira ku bubonero buna eri abalenzi ate ku bawala obubonero butaano.

Amasomero ag’amaanyi nga; Gayaza High School, Nabisunsa Girls, Namilyango College, Mt St Mary’s Namagunga, gasuubirwa okutwala abayizi ab’obubonero buna n’obutaano ate Kibuli SS, Kawempe Muslim, Trinity College Nabbingo, Ntare School, Ndejje SS, St. Henrys Kitovu, gasuubirwa okukoma ku bubonero mukaaga.

Abayizi abaayitidde mu guleedi eyookubiri, eyokusatu n’eyokuna abanaaba batatwaliddwa masomero ag’obwannannyini n’agayambibwako Gavumenti, balina omukisa okufuna ebifo mu masomero ga Gavumenti agali mu pulogulaamu eya USE, Gavumenti mw’eyita okuweerera abaana aba siniya ku bwereere.

Okusunsulamu abayizi kukomekkerezebwa enkya ku Lwokuna era abayizi abagenda mu S1 basuubirwa okutandika olusoma olusooka mu wiiki eyookubiri eya February 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....