TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti kyaddaaki ezzeemu okuyimbula Senfuka ku musango gw'okutta Kaweesi

Kkooti kyaddaaki ezzeemu okuyimbula Senfuka ku musango gw'okutta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2018

KKOOTI e Nakawa ezzeemu okuyimbula, Ahmada Shaban Senfuka omu ku basibe abali ku musango gw’okutta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi gwe yali yayimbula kyokka ebitongole byokwerinda ne bimukwatira ku Spear Motors ne bamutwala ng’ayambuddwa.

Wata 703x422

Ahmada Shaban Senfuka (ku kkono) ng’agenda okulinnya pikipiki emujje ku kkooti e Nakawa oluvannyuma lw’okuyimbulwa okuva mu kkomera e Luzira (wakati) Geofrey Turyamusiima omu ku balooya be.

Senfuka okuyimbulwa kiddiridde looya we, Anthony Wameli okuteekayo okusaba kwe mu kkooti y’omulamuzi, Noah Sajjabbi ng’awakanya ekya Senfuka okubeera ku limanda mu kkomera e Luzira okumala emyezi mukaaga kyokka oludda oluwaabi ne lulemererwa okuleeta obujulizi obulaga nti Senfuka ne banne 13 benyigira mu misango gy’obutemu n’obutujju egibavunaanibwa.

Nga January 9, 2018, Senfuka ne banne abalala basatu, omulamuzi Sajjabbi yabakkiriza okuyimbulwa okuva mu kkomera e Luzira n’abalagira okusasula 2,000,000/- ez’akakalu ka kkooti kyokka ne zibalemerera okusasula ne bazzibwayo mu kkomera e Luzira.

Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, Shaban Kasule, Taata wa Senfuka yasasudde ssente zino era ku Lwokubiri nga January 23, yaleese empapula eziraga nti ssente zino zisasuddwa era omulamuzi Sajjabbi n’azikakasa n’amukkiriza okuva mu kkomera gy’amaze emyezi mwenda naye n’amulagira okweyanjulanga ku poliisi esangibwa mu kitundu gy’abeera buli mwezi.

Senfuka olwayimbuddwa, yeebazizza abooluganda lwe abamulwaniridde okulaba ng’ava mu kkomera ne balooya be wabula yenna abadde atya era agendedde ku bodaboda ebadde emulinze.

Omulamuzi Sajjabbi ayongeddeyo omusango gy’obutemu okutuusa nga March, 6 2018 ate egy’obutujju n’obuyeekera giddamu nga February 6, 2018.

Wabula fayiro z’emisango gino tezibaddewo oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti, Racheal Nabwire okutegeeza kkooti nga poliisi bwe yazitutte.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup