TOP

Nadduli ayagala Kitatta alekulire ekifo kya NRM

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2018

Abakulembeze ba NRM baagala ssentebe wa NRM e Lubaga, Abdallah Kitatta alekulire ekifo kye kuba eneeyisa ye teweesa kibiina kitiibwa.

Kitatta 703x422

Nadduli ne Kitatta

Hajji Abdu Nadduli, minisita atalina mulimu gwa nkalakkalira era ssentebe wa NRM mu Buganda yagambye nti okusinziira ku bintu eby’ogerwa ku Kitatta kiba kikyamu okugenda mu maaso okukulembera abantu.

Yagambye nti eby’ogerwa ku Kitatta ne bwe bitabeera bituufu alina okusooka okudda ku bbali n’anoonyerezebwako.

Yannenyezza n’abakulira ebyokwerinda olw’okukkiriza abantu abakyamu aba Bodaboda 2010 okujoonyeza Bannayuganda nga balaba.

Richard Todwong, amyuka ssaabawandiisi wa NRM mu ggwanga yagambye nti ng’ekibiina kitunuulidde ne liiso ejjogi emisango egyaggulwa ku Kitatta.

Yategeezezza nti ne bw'anabeera emisango agiwangudde, balina okumuyita mu kakiiko ke mpisa ng’ekibiina, kuba w'alina okubeerawo ensonga lwaki gwe baalonze mu bantu bonna.

Kyokka yawabudde nga bwe watali muntu alina buyinza kuggyamu Kitatta bwesige, okuggyako ng’agoberedde emitendera emituufu egikkirizibwa mu kibiina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.