TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balumirizza poliisi okutuulira emisango gya Kitatta 600

Balumirizza poliisi okutuulira emisango gya Kitatta 600

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2018

POLIISI erina emisango egisoba mu 600 abavuzi ba bodaboda mu Kampala gye bazze baggulawo ku poliisi ezenjawulo nga baloopa basajja ba Abdul Kitatta eyakwatiddwa kyokka nga tewali ayamba!

Manya1 703x422

Moses Tumuhayise; Bankuba bubi kyokka tewali kyakolebwa okunnyamba. Ku ddyo, Bosco Kalungi e Kansanga avunaana Kitatta ne banne okwekomya obukadde 500 Pulezidenti ze yabawa. Wakati mu katono ye Kitatta

Abavuzi ba bodaboda baagambye nti baakola ne lipooti gye baatwala mu Palamenti n’ebitongole bya Gavumenti eby’enjawulo ekwata ku kalonda w’ebikolebero ebizze bibakolebwako mu bbanga lya myaka musanvu, kyokka ne batayambibwa.

Oluvannyuma lwa Abdul Kitatta okukwatibwa baafunye amaanyi ageerwanako era eggulo abavuzi ba bodaboda okuva mu bibiina ebyenjawulo ebibagatta baatudde e Kibuye abamu ne balombojja embeera ey’obunkenke mwe babadde bakolera.

Baategeezezza nti abavuzi ba bodaboda batono mu Kampala abatalozezza ku bukambwe bwa basajja ba 2010.

Ssentebe w’ekibiina ky’abavuzi ba bodaboda ekya Kampala Metropolitan bodaboda Entrepreneurs (KAMBE) John Ssemujju yagambye nti ye yasooka okuloza ku bukambwe bwa Kitatta ne basajja be.

Yategeezezza nti yagwa mu kibinja kya Kitatta ne bamusaba kaadi ya 2010 bo gye bagamba nti y’ekkiriza aba bodaboda okukolera mu kibuga nga tagirina. “Ebisajja byankwata ne binnyoola emikono omulala n’ava ebbali n’ankuba ejjinja ku mutwe. Navaawo ng'omutwe bagwasizza .

Abazirakisa bantwala mu ddwaaliro kyokka n’okutuusa kati bwe nzijukira embeera gye natuukako omubiri gumera olutiko,” John Ssemujju bwe yagambye.

Yategeezezza nti fayiro z’emisango nnyingi eziri ku poliisi nga neeyiye nnamba SD: 24/30/9/ 2013 e Katwe mw'eri kyokka tewali abayamba.

“Abaserikale ba poliisi bwe balaba ku fayiro eriko 2010 tewali agiyingiramu nga bagamba nti bannange abasajja abo bagenda kutta abantu era awo webikoma. Ssemujju yagambye nti ekisinze okutabula omulimu gwabwe be banene abagwerimbikamu ne babikkirira abakozi b’ebikolobero nga bagenderera okufuna ssente.

iyembaKiyemba

ABDUL KIYEMBA

Yagambye nti nga July 20, 2013, yali atwala omusaabaze e Kampalamukadde n’agwa mu basajja ba Kitatta.

“Enkola yaabwe nga batandikira ku kaadi. Bansaba kaadi ya 2010 ne mbaddamu nti nina ya KAMBE siri mmemba wabwe. Babiri baakwata pikipiki omulala n’ankuba okuddamu okutegeera nga ndi mu ddwaaliro. Naggulawo omusango ku fayiro nnamba 09/20/07/2013 e Katwe.

PATRICK SABIITI

Basajja ba 2010 baatusanga tusimbye pikipiki e Katwe ku siteegi ne bazikwata nti tetulina kaadi. Twabalemerako ne wabeerawo olutalo ne batusinga nga ffenna batukubye mizibu n’embiriizi nga bazinudde.

Twagenda ku poliisi e Katwe okuggulawo omusango ku fayiro nnamba CRB 1892/16. Ekyennaku nze gwe baggalira era okuvaayo banneeyimirira era abaserikale oluvannyuma amagezi ge bampa gaakugenda ku ofiisi zaabwe e Nakulabye tuteese.

Nagendayo era pikipiki yange UDR 445Z nagisangayo ku ofiisi nga bagisimbye wakati mu busungu bangamba nti nsasule ssente 800,000/- eza paakingi nga buli lunaku esasula 2,000/- emisana n’ekiro 2,000/- era yannemerayo n’okutuusa kati pikipiki yange baagiremera.

 abiiti Sabiiti

IBRAHIM KALEMA

Nkolera ku Buyuuni siteegi e Katwe. Nali ntutte omusaabaze okulinnya bbaasi ku Namirembe Road ne mbasanga ku Mbuzi nga nkomawo e Katwe. Bantaayiza ne bakwata pikipiki lwa kaadi yaabwe.

Nagiremerako kyokka babiri ne bankwata emikono omulala n’alonda ejinja eddene nankuba eriiso.

Awo we byakoma era nasibira mu ddwaaliro. Naggulawo omusango e Kampalamukadde ku fayiro nnamba 77/01/2012 naye gwafa nga tewali annyamba.

KALUNGI BOSCO

Yagambye nti ye akolera Kansanga naye Pulezidenti Museveni yawa abavuzi ba bodaboda ssente obukadde 500 kyokka Kitatta ne basajja be kigambibwa nti baazeekomya.

Yagambye nti yaggulawo omusango ku Kitatta ne banne ku kitebe kya ba mbega e Kibuli nga guli ku fayiro namba GEF 407/2013 naye tebaayambibwa ssente zaabwe ne zifa mu mbeera eyo.

PATRICK MANDE

Yagambye nti yali ava Nakulabye n’asanga basajja ba Kitatta nga bazibye oluguudo balwana n’abamu ku ba bodaboda

. “Nayimiriza pikipiki yange ndabe ogubadde. Agavubuka gankwata ne batwala pikipiki yange. Naggulawo omusango e Kampalamukadde ku fayiro nnamba MCB 405/2010 naye tewali muserikale asobola kugulondoola.

Pikipiki yabula saddayo kugirabako. Abalala abaayogedde ku ngeri basajja ba Kitatta gye baabakubamu kuliko; Patrick Tumuhaise akolera ku siteegi e Kibuye ng'omusango guli ku fayiro nnamba 23/18/08/2014.

Kanyike Kiviiri akolera ku Ben Kiwanuka, yawaaba ku fayiro nnamba MCB 406/2010 e Kampalamukadde ate Godfrey Rugumya akolera e Lubaga yawaaba ku poliisi y'e Wandegeya ku fayiro nnamba 60/06/12/12 Kitatta ye muyima w’ekibiina kya bodaboda 2010 era yavaayo nga KCCA eyagala okuwandiisa pikipiki n’akiwakanya era kyakoma awo.

KCCA yawandiikako pikipiki 54,393 ku pikipiki ezisoba mu 200,000 ezikolera mu Kampala era enteekateeka yonna n’eyimirira.

 ande Mande

Ababodaboda abalumiriza Kitatta okulemesa buli kintu bategeezezza nti poliisi etandike okuyita abatwala obujulizi mu kkooti bagenda babalumirize kubanga buli kimu bakirina.

Siraje Mutyaba, ssentebe wa Century Riders Association mu Kampala Central yagambye nti, balina fayiro nnyingi ez’abantu baabwe abazze batulugunyizibwa akabinja ka Bodaboda 2010 gye batwala ku poliisi ne batafuna kuyambibwa kwonna.

Yagambye nti balina fayiro ezisoba mu 300, babadde baggya baloopa emisango naddala ku poliisi ya Kampalamukadde wabula nga buli musango gwe batwalayo, ng’abaserikale bakubira Abdullah Kitatta essimu ng’azinona.

Abadde takoma ku fayiro kuziggya ku poliisi, wabula abadde akola ekisoboka kyonna okuzisaanyawo n’emisango ne gikoma awo.

Mutyaba yagambye nti, kino kye kiseera okuzuukusa fayiro z’abantu bonna Kitatta n’akabinja ke bebazze batusaako obuvune, abafudde n’ababbiddwaako bodaboda.

Ono, yazzeemu okulaga Deziderio Byamukama eyatemwako omukono omwaka oguwedde aba Bodabpda 2010 bwe beefuula abasaabaze bwe batuuka e Makindye mu kifo ekiziyivu ne bamwefuulira ne bamutemaatema amajambiya mu mutwe n’omukono ogwa ddyo ne bagutemako. Ono okutuuka okumutemako omukono, yali yeetaasa, ejambiya yagukutulira mu kiseke nga kati alina kikuggu ne pikipiki ne bagitwala.

Byamukama alumiriza nti, abaamutema abamanyi ba bodaboda 2010 era abadde abasanga nnyo nga bakola ebikwekweto mu Kampala wabula nga talina bw’ayinza kubatambaala kubabuuza pikipiki ye gye baagiteeka.

Ssentebe w’akakiiko akakola emirimu gy’ekikugu mu Century Riders Association, Ssaalongo Peter Kankaka yagambye nti, abantu bangi ababadde batuusibwako obuvune aba bodaboda 2010 naye nga tebalina wa kubaloopa kubanga poliisi ebadde ekolagana nabo n’ategeeza nti, bataddewo emmeeza ku buli ofiisi zaabwe gyeziri mu Municipaali za Kampala zonna egenda okukola ku misango gye bavunaana 2010.

 iviiri anyike Kiviiri Kanyike

BABADDE BEENYIGIRA NE MU BIKWEKWETO BYA POLIISI

Ensonda mu poliisi zaatutegeezezza nti, abasajja abasinga abaakwatiddwa, babadde bakola nabo naddala nga poliisi erina ebikwekweto.

 

“Abo mukama waffe abadde abeesiga nga mmundu mmenye naddala nga waliwo ab’oludda oluvuganya Gavumenti abaagala okucankalanya ekibuga.” Ensonda bwe zaategeezezza.

Akabinja ke kabadde kakulembera poliisi n’eryoka ekola ogwayo nga ne bwekuba kukwata, aba Bodaboda 2010 be babadde bakwata ababa badduka ne babakwasa abaserikale.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura bwe yabadde mu Palamenti ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, yategeezezza nti, Kitatta ne basajja be babayamba nnyo mu bikwekweto n’okubawa amawulire ku bantu abaagala okumenya amateeka kyokka nga bbo teberoopa nti be bakulembera abagamenya.

Ensonda zeezinze ku Muzamiru Mawa ddereeva wa Dr. Ssebbaale Kato akulira Case Hospital nti abadde akola n’emirimu gya poliisi abalala gye babadde tebakola nti yandibadde n’amagezi agasingako obutamala gakwatibwa mu misango nga gino.

POLIISI EWADDE AMAGEZI

Luke Owoyesigyire, omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano yagambye nti bulijjo abantu babawa amagezi nti bw'oloopa omusango ku poliisi n’otayambibwa olina okugenda ku poliisi esingawo okusobola okuyambibwa.

Yawadde eky’okulabirako n’ategeeza nti omuntu bw'aloopa omusango ku Old Kampala ne yeesanga ng’aduumira poliisi (DPC) tamuyambye asaana okweyongerayo e Kawempe ku Region awatuula RPC.

Singa weesanga ng’era toyambiddwa obeera wa ddembe okujja okugenda ku ofiisi ezitwala Kampala ne miriraano eza Kampala Metropolitan Police.

Yasabye abaloopa aba Bodaboda 2010 nga bakakasa nti tebaayambibwa okugenda ku poliisi ezisingawo basobole okufuna obwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...