TOP
  • Home
  • Buganda
  • Bakunze abeewandiisa okufuna obutimba bw'ensiri okubukima

Bakunze abeewandiisa okufuna obutimba bw'ensiri okubukima

By Dickson Kulumba

Added 24th January 2018

MMENGO esabye abantu ba Buganda okunoona obutimba bw’ensiri mu bifo mwebuteekeddwatekeddwa okugabirwa ng’omu ku kaweefube w’okulwanyisa omusujja gw’ensiri ogutta abantu abangi ng’ate Kabaka ayagala abantu be babeere balamu.

Butimba3 703x422

Minisita w'ebyobulamu e Mmengo, Dr. Ben Kiwanuka Mukwaya (wakati), Dr. Henry Katamba (ku ddyo) nga y'akulira enteekateeka y'okugaba obutimba bw'ensiri mu Kitongole ekirwanyisa Omusujja gw'ensiri mu Minisitule y'ebyobulamu mu ggwanga nga boogera eri Bannamawulire ku nteekateeka y'okugaba obutimba bw'ensiri mu Disitulikiti y'e Wakiso nga January 27 ne 28, 2018.

“ Omusujja bwe bumu ku bulwadde obusinga okutta abantu ba Kabaka naye Obwakabaka nga bukolaganira wamu ne Minisitule y’ebyobulamu mu Gavumenti eyawakati, pulogulamu eziwerako ziteereddwawo okubulwanyisa. Emu ku nteekateeka eno kwe kulaba nti buli maka gabeera n’obutimba bw’ensiri.

Ku nkomerero ya wiiki eno, abantu mu ssaza ly’e Kyadondo ne Busiro abali mu disitulikiti y'e Wakiso bagenda kuweebwa obutimba. Tusaba abantu bagende babuggyeyo era babukoze ekyo kye buteekeddwa okukola,” Dr. Mukwaya bwe yakunze abantu.

Enteekateeka eno okusinziira ku Dr. Henry Katamba nga y’akulira pulogulamu y’okugaba n’okusaasaanya obutimba mu kitongole kya Minisitule y’ebyobulamu mu Uganda ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa omusujja gw’ensiri, yaakumala ennaku bbiri ku Lwomukaaga ne Ssande January 27-28,2018 ku byalo abantu gye baawandiisibwa.

“Buli muntu waakufunira obutimba ku kyalo we yeewandiisizza. Olina okujja n’ebikwogerako okuli densite y'eggwanga, ey’oku mulimu, ey’ekyalo saako paasipooti.

Enteekateeka eno nnambulukufu bulungi nga tetwagalamu nguzi yonna okuli okusasuza abantu ate n’abakozi abanaabeera mu mulimu ensimbi zaabwe twakkanyiza nabo n’olwekyo bw'ofuna okutawaanyizibwa mu nteekateeka eno tusaba omuntu akube ennamba eno etali yaakusasulira 0800100066,” Dr. Katamba bwe yannyonnyodde.

Obutimba 1n650n000 bwe bugenda okugabibwa mu Wakiso mu maka 600,000 agaawandiisibwa nga galimu abantu obukadde busatu.

Omwogezi w’enteekateeka erwanyisa omusujja, Rukia Nakamatte, yeebazizza Obwakabaka saako n’obukulembeze bw’e Wakiso olw’okukunga abantu okubeera abangi mu kwewandiiisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte