TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alagidde yunivasite n'amatendekero okutandika okusoma 'kkoosi' y'amafuta

Museveni alagidde yunivasite n'amatendekero okutandika okusoma 'kkoosi' y'amafuta

By Muwanga Kakooza

Added 24th January 2018

PULEZIDENTI Museveni awabudde amatendekero g’obwanannyini okutandikawo emisomo egyekuusa ku mafuta ng’agamba nti bajja kufunamu nnyo kuba abazadde ne gavumenti beetegefu okusindikayo abantu baabwe okukuguka mu misomo gino.

Dutkaf8w0aa2iuw 703x422

Abantu abasoba mu mitwalo 16 be basuubirwa okufuna emirimu egyekuusa ku mafuta okugasima n’okugalongoosa bwe kunaaba kutandise, okusinziira ku Minisita w’ebyamasannyalaze, Irene Muloni.

Bino babyogeredde mu Sheraton Hotel  mu Kampala mu lukung’ana lw’okulaba nga Bannayuganda tebalekebwa bbali mu by’amafuta olumanyiddwa   ‘skill and local content Forum’’.

Museveni agambye kino kijja kusinga eky’amakampuni g’amafuta okutandika okutendeka Bannayuganda  nga bwe babaggyako ssente.

Ayongeddeko nti abayizi bangi abasoma Ssayansi  era gavumenti kino yakirabuukirira n’etandika ettendereo ly’ebyamafuta e Kigumba.

” Abava mu ttendekero lino tebannafuna mirimu naye tekitweraliikiriza. Uganda ejja kukulaakulana amafuta ne bwe gatabaawo,’’ Museveni bw'agambye.

" Ebintu ebyekuusa ku mafuta tosobola kubissaamu baweesi b’e Katwe kuba bya bulabe bisobola okubatta era kye kiva kyetaagisa okutendeka abakugu," Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bw'ayongeddeko.

Ye Minisita Muloni agambye nti abantu 167,000 be bajja okufuna emirimu egyekuusa ku mafuta nga pulojekiti etandise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...