TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba FDC baakwetoolola eggwanga nga bagaba omusaayi

Aba FDC baakwetoolola eggwanga nga bagaba omusaayi

By Muwanga Kakooza

Added 24th January 2018

ABAVUBUKA ba FDC eby'obufuzi babisibye ku mpagi ne balangirira nga bwe bagenda okutalaaga ebitundu bya Uganda ebitali bimu nga bakung'anya omusaayi mu kawefube w'okukendeeza ebbula lyagwo.

Wo 703x422

Omumyuka wa ssentebe w'olukiiko lw'abavubuka mu FDC Walid Mulindwa Lubega ng'ayogera eri bannamawulire. Ku kkono y'akulira eby'obulamu mu FDC Asinansi Nyakato.

Bino abavubuka ba FDC abeegattira mu FDC Youth League  okwabadde Mulindwa Walid , Asinansi Nyakato ne Thomas Kayanja be babitegeezezza mu lukung'ana lwa bannamawulire.

Bagamba nti bakolaganye  n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku musaayi ekya ''National Blood Transfusion  Service'  okutandika okukung'aanya omusaayi bataase obulamu.

Bagamba nti nga January 26, bagenda kubeera k ku yunivasite e Makerere,  January 28 babeere e Kyambogo, January 29  babeere ku City House mu Kampala ne January 31 babeere e Wakiso.

Kampeyini bajja kugitwala mu bitundu bya Uganda ebirala era baagala okutaasa abantu bonna.

Bano okwesowolayo kiddiridde  abaddukanya eby'obulamu mu ggwanga okutegeeza nga bwe waliwo ebbula ly'omusaayi  ne bategeeza nti kyetaagisa kaweefube ow'enjawulo ow'okugukung'aanya.

Uganda yeetaaga yuniti z'omusaayi  ezisoba mu mitwalo ebiri omwaka kyokka waliwo 140 zokka ng'obulamu bw'abantu abagwetaaga buli mu katyabaga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.