TOP

Bakwatiddwa lwa kufera bukadde 687

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2018

ABANTU bataano abaafeze obu­kadde 687 ku musuubuzi okuva e Lebanon bwe baamuguzizza zaabu ow'ebicupuli bakwatiddwa.

Assi1 703x422

Richard Kamugisha ne Nasser Kibirige nga batuuka mu kkooti.

Bya MUSASI WAFFE

ABANTU bataano abaafeze obu­kadde 687 ku musuubuzi okuva e Lebanon bwe baamuguzizza zaabu ow'ebicupuli bakwatiddwa.

Stella Birungi Dindi, David Kironde oluusi nga yeeyita Daudi Sam Ssimbwa, Richard Kamugisha, Nasser Kibirige ne Yazidi Wamala Kabonge be baaluse olukwe ne bafera obukadde 687, 960,000 ku Muhammad Soub Assi nga bamu­limbye nga bwe bagenda okumu­guza zaabu aweza kiro musanvu kyokka ne bamuguza ebicupuli.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate yagambye nti abaakwatiddwa olukwe baalulukidde Ntinda mu Kampala nga Soub Assi baamu­sisinkana Dubai ne bamumatiza nga bwe basobola okumuguza zaabu ne bakola n'entegeka ezimuleeta kuno.

Yagambye nti baamunona ku kisaawe e Ntebe ne bamutwala mu Sheraton Hotel oluvannyuma ne bamuleetera zaabu gwe yeeke­bejja n'akizuula nga mutuufu.

Yabasasula ssente ng'amaze okulaba sampulo ne bamusuu­biza nga bw'ajja okumusanga e Dubai nga baamuwa n'empapula oluvannyuma ze yazuula nti zaali njingirire.

 tella irungi indi yeekubisa ebifaananyi nga yakafuna doola Stella Birungi Dindi yeekubisa ebifaananyi nga yakafuna doola.

 

Sekatte yagambye nti abasajja bano balina ekibinja ky'abantu be bakolagana nabo e Dubai nga eya­sisinkana Assi yeeyita omulangira Charles Baya ng’ono poliisi mu United Arab Emirates yamukwata nakkiriza nga bw'aliko abantu baakolagana nabo e Kampala ne Kenya.

Yagambye nti okusobola okuk­wata abantu bano, Assi yayise mu­ganda we abeera e Canada amuy­ambeko ng’ono yeefudde ayagala okugula zaabu n'akwatagana ne Stella Birungi ne bakkaanya okusisinkana nga January 6, 2018 nga ku mulundi guno baabadde bakyusizza amannya.

Ssekate yagambye nti Assi yatuukiridde aba Flying Squad oluvannyuma olw'okukitegeera nti waliwo zaabu aweza kiro 14 gwe baabadde bagenda okuguza muganda we nga baabakwatidde mu Yunivasite e Makerere nga bagenze okwekebejja zaabu.

Yagambye nti abantu bangi be banyanga nga babalimbye okuba­guza zaabu babasisinkana Dubai.

Yannyonnyodde nti oluvannyu­ma lw’okuggulawo fayiro nnamba E/012/2018 abaserikale baagenze ne baaza amaka g'abaakwatiddwa ne bazuula kaadi za ATM eza bbanka ez'enjawulo, kaadi z’essimu n’ebintu ebirala ebigenda okubayamba mu kunoonyereza kwabwe.

tella irungi indi ngali ne ssiStella Birungi Dindi ng'ali ne Assi.

 

Abaakwatiddwa basimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi Beatrice Kainza ne babasomera emisango okuli; okufuna ssente mu lukujjukujju, okwekobaana ne bazza omusango n’okweyita kye batali.

Birungi ne banne basabye kkooti okweyimirirwa era omul­amuzi Kainza n'akukkiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo