TOP

Obubonero bwa S1 amasomero gabukuumidde waggulu

By Ahmed Mukiibi

Added 25th January 2018

Nabisunsa Girls, Kibuli SS, Kawempe Muslim, Trinity College Nabbingo, Ndejje SS, St. Henrys Kitovu, Turkish Light Academy, Seeta High School (Seeta) n’amalala gaatutte abayizi abatasussa buboneero mukaaga.

Gayazahigh 703x422

Bya AHMED MUKIIBI
 
AMASOMERO ag’amaanyi mu ggwanga gakuumidde waggulu obubonero kwe gatwalidde abayizi mu S.1 okufaananako nga bwe kyali omwaka oguwedde.
 
Bino byabadde mu kusunsulamu kw’abayizi abagenda mu S1 okwatandise n'ebbugumu eggulo ku Lwokusatu nga kukomekkerezebwa olwaleero.
 
Minisita omubeezi ow’Ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku masomero aga pulayimale, Rosemary Sseninde ye yagguddewo okusunsula ku mukolo ogwetabiddwako ne Minisita oMubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu Dr. JC Muyingo n’abakungu ba Minisitule ey’Ebyenjigiriza.
 
Abakulu b’amasomero agasoba mu 3,000 be beetabye mu kusunsulamu kuno okwabadde mu UMA hall e Lugogo, ng’abakulu b’amasomero ag’amaanyi n’ettutumu be baasoose okulangirira obubonero obwessalira kwe batwalidde abayizi mu S1.
 
Minisita Sseninde bwe yabadde aggulawo okusunsulamu yasoose kulabula abakulira amasomero ku ky’okulinnyisa n’okupaaluusa ebisale naddala eby’abayizi abagenda mu S1 n’abajjukiza ekiragiro Gavumenti kye yabawa ku kwongeza ebisale, okuggyako nga basoose okutegeeza ku Minisitule.
 
Sseninde yagambye nti Gavumenti tejja kukigumiikiriza ng’abakulira amasomero banyigiriza n’okunyunyunta abazadde n’alabula ab’amasomero abanaaziimuula ekiragiro kya Gavumenti nti bajja kukangavvulwa.
 
Minisita Dr. JC Muyingo yalabudde ab’amasomero okukomya enkola ey’okutunda ebifo n’abasaba okunywerera ku bubonero nga bwe babusazzeewo mu kunsunsulamu bakomye enkola ey’okutunda ebifo n'oluusi ne ku bayizi ababa batuusizza obuboneero obw’essalira.
 
Abayizi 57,198 baayitidde mu daala erisooka nga bano be baafunye obubonero obuli wakati wa 4 ne 12 mu bigezo bya P7 ebyafulumiziddwa nga January 12, 2018, era be baasoose okufuna ebifo ku lunaku olw’okusunsula era abasinga obungi amasomero amanene gaabawadde ebifo .
 
Ng’emyaka egiyise bwe gibadde, amasomero ag’amaanyi okuli; King’s College Buddo, Gayaza High School, St. Marys Kitende, Uganda Martrys Namugongo, Mt St Mary’s Namagunga, Namilyango ne Ntare School (Mbarara) gaatutte abayizi ba bubonero 4 ne 5 bokka.
 
Nabisunsa Girls, Kibuli SS, Kawempe Muslim, Trinity College Nabbingo, Ndejje SS, St. Henrys Kitovu, Turkish Light Academy, Seeta High School (Seeta) n’amalala gaatutte abayizi abatasussa buboneero mukaaga.
 
AGAMU KU MASOMERO N’OBUBONERO KWE GASALIDDE OKUYINGIZA ABA S1
- King's College Buddo abalenzi obuboneero 5 ate abawala 6.
- St Mary's Kitende abalenzi 4 ate abawala 5.
- Mt St Mary's Namagunga 5
- Uganda Martrys Namugongo abawala 5 ate abalenzi 4
- Gayaza High School 5
- Namilyango 5
- Ntare School 5
- St Henry's College Kitovu 6
- Trinity Col Nabbingo 6
- Nabisunsa Girls 6.
- Seeta High School abawala 5 ate abalenzi 6.
- Kawempe Muslim abalenzi 6 ate abawala 6.
- Immaculate Hearts 7.
- St Charles Lwanga SS 7.
- Ndejje SS abwala 7 ate abalenzi abajja kutwala 6.
- Turkish Light Academy abawala baja kutwala 6 ate balenzi 6.
- Gombe SS abawala 6 ate abalenzi ba buboneero 7.
- Kibuli abawala bajja kutwala ba bubonero 7 ate abalenzi 6.
- Mengo SS abawala bajja kutwala ba bubonero 7 ate abalenzi 7.
- St Peter's Nsambya abawala 8 ate abalenzi 9.
- Seroma Christian High Sch abawala 7 ate abalenzi 8.
- Tororo Girls 8.
-St Kagwa HS 8
-Muntuyera H S 8,
-Kyambogo SS abawala 9, abalenzi 10.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...