TOP

Ntaganda azzeeyo mu kakiiko ne bamukunya'

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2018

EGGULO Ephraim Ntaganda yakedde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka ne baddamu okumuggyako sitetimenti, ng’annyonnyola ku ngeri gye yafunamu ettaka ly’ekibira ky’e Kajjansi eriweza yiika 350.

Ntagandajabega1 703x422

Ntaganda ( ku ddyo) ne munnamateeka Kabega mu kakiiko.

Bya ALICE NAMUTEBI
 
EGGULO Ephraim Ntaganda yakedde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka ne baddamu okumuggyako sitetimenti, ng’annyonnyola ku ngeri gye yafunamu ettaka ly’ekibira ky’e Kajjansi eriweza yiika 350.
 
Kino kyaddiridde omulamuzi Catherine Bamugemereire akulira akakiiko k’ettaka okulagira abaserikale ne bamukwata ku Lwokubiri ne bamutwala ku poliisi e Wandegeya ng’Omulamuzi agamba nti obujulizi Ntaganda bwe yabadde awa mu kakiiko yabadde alina by’alekayo eby’omugaso eri akakiiko.
 
Olwamukutte baamututte butereevu ku poliisi e Wandegeya gye yasuze mu kaduukulu okusinziira ku munnamateeka we Macdusman Kabega. Eno gye baamuggye ku Lwokusatu ku makya okumuzzaayo mu kakiiko n’akola sitetimenti oluvannyuma ne bamuta okudda ewuwe.
 
Endagaano ez’enjawulo ezaabadde mu kakiiko zaayolese nga Ntaganda y’atunda ate y’agula ettaka lino ne bibuzaabuza kyokka yagambye nti kirabika yali nsobi eyakolebwa munnamateeka wa Eria Mubiru gwe yali aguza ettaka.
Ettaka yaligula ng’ayita mu kkampuni ze ez’enjawulo nga Logic Real Estates And Developers, Lala Apartments.
 
Ng’ali mu kakiiko yasoose kwegaana kkampuni zino ne bagenda nga bamuggyirayo ebiwandiiko ebizikwatako ng’olukiiko olufuzi lwayisa ekiteeso ezimu aziggulirewo akawunti endala abeere nga y’ateeka omukono ku biwandiiko ebitongole okuggya ssente mu bbanka.
 
Akakiiko kakyagenda mu maaso nga kabuuliriza ku mivuyo egyetobese mu by’ettaka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’e Kween Abasabinyi gye bali mu kuttunka n’Ababukusu abalumiriza nti baabasindiikiriza okuva ku ttaka kwe baali babeera obutabanguko bwagenda okuggwa nga babagobaganya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....