TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Abdallah Kitatta gy’abadde apanga ssente

Engeri Abdallah Kitatta gy’abadde apanga ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2018

ABDALLAH Kitatta okutuuka ku bugagga bw’alina ayise mu bukuluppya obw’amaanyi n’abamu n’abaleka n’ebinuubule nga bakolima olw’engeri gy’abadde abaggyako ebyabwe ku mpaka asobole okutuukiriza ebiruubirirwa bye.

Kitattaapanga1 703x422

Aba NRM abamu e Lubaga lwe beekalakaasa ne bakunga abalala obutawa Kitatta kalulu.

ABDALLAH Kitatta okutuuka ku bugagga bw’alina ayise mu bukuluppya obw’amaanyi n’abamu n’abaleka n’ebinuubule nga bakolima olw’engeri gy’abadde abaggyako ebyabwe ku mpaka asobole okutuukiriza ebiruubirirwa bye.

Aba bodaboda, aba takisi, abasuubuzi, bannabyabufuzi, ab’amasomero, n’abalala bangi omusajja ono eyakoma mu S3 nga n’Oluzungu lumuzannya emu ku bbiri abadde yabateeka mu nkwawa ze.

Okusinziira ku nsonda ezimutegeera obulungi, abadde akola buli ky’asobola singa abeera alina ky’aluubirira okutuukiriza era mu ngeri eyo, akoze ebintu bingi mw’agaggawalidde abalala nga bakaaba.

Okuwandiisa bodaboda ku mpaka

Oluvannyuma lw’akalulu ka 2006, eyali kamisona wa poliisi akwanaganya abantu baabulijjo, Asan Kasingye, yalagira ekibiina ky’aba bodaboda ekyaliwo mu biseera ebyo ekya Kampala Union Boda Boda Cyclists Association (KUBOCA) okukolera awamu ne poliisi okutereeza ekibuga.

Aba KUBOCA abaali bakulemberwa Abdu Masokoyi baafuuka ekirala era akavuyo ke baaleeta mu Kampala nga basolooza ssente ezimenya amateeka ku pikipiki, kaaviiramu n’okufa kw’eyali munnakibiina kya FDC, Tom Jjulunga mu 2009.

Aba bodaboda baaziba oluguudo ne balemesa emmotoka za Pulezidenti okutambula ne bamusaba okuyingira mu nsonga zino n’ayita omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura annyonnyole ku ba KUBOCA wabula n’abeegaana.

 itatta mu kyenvu mu lukuhhaana akimera olumu e ubaga gye buvuddeko Kitatta (mu kyenvu) mu lukuhhaana Nakimera olumu e Lubaga gye buvuddeko.

 

l Nga March 7, 2010, Kayihura yayita aba bodaboda bonna mu Kampala mu lukiiko, mu biseera ebyo, Abdallah Kitatta yali mukulembeze wa NRM e Lubaga era olukiiko yalwetabamu n’ategeeza Kayihura nti aba KUBOCA, bambala emijoozi egya kyenvu ne bakuba abantu emiggo ne bakyayisa ekibiina.

l Nga March 7, 2010, eyali Town Clerk wa Kampala, Ruth Kijjambu yalangirira okulonda obukulembeze bwa Bodaboda mu Kampala mu ngeri abasinga gye baawakanya, kyokka ye n’agenda mu maaso ng’awagirwa eyali RDC wa Lubaga era nfanfe wa Kitatta, era kw’olwo, abakulembeze abakadde bonna baakwatibwa.

l Kitatta yalondebwa okubeera omuyima ate Atanansi Kafeero n’alondebwa ku bwassentebe bwa bodaboda mu Kampala era bwe katyo akabinja ka Bodaboda 2010 bwe kaatandikawo era ng’abakakulira beewaana nti balina obuwagizi bwa poliisi kubanga balinamu abanene bangi.

l Akabinja kaatandika okusolooza ssente mu ba bodaboda mu bukambwe ne bassaawo ne densite ez’obuwaze nga bwe bakusanga nga togirina gufuuka musango gwennyinni era n’obonerezebwa. Abamu baabaggyangako ssente eziri eyo mu mitwalo ebiri ate ng’abalala bakubwa nnyo era abamu baalufiiramu. Nga bakolera ku biragiro by’omuyima waabwe Kitatta, beddiza emirimu gyonna ku bodaboda nga ssente bazisolooza siteegi ku siteegi.

l Nga September 9, 2013, KCCA bwe yali egezaako okuwandiika aba bodaboda mu Kampala, Kitatta yaduumira basajja be ne balumba abaali bawandiika ne babakuba n’empapula ne bazookya, okuwandiika aba bodaboda ne kukoma awo.

Ekigendererwa mu kino, Kitatta yali tayagala KCCA kumanya muwendo gwa bodaboda guli mu Kampala okusobola okwesigaliza omulimu gw’okuzisoloozaamu ssente.

Ssente za SACCO ya Bodaboda

Omu ku ba bodaboda eyali mu nteekateeka z’okutandika akabinja ka Bodaboda 2010 kyokka oluvannyuma Kitatta ne banne ne bamwefuulira yagambye nti, mu 2010 nga batandika akabinja ka bodaboda 2010 akabadde kafuukidde eggwanga ekyambika, Pulezidenti Museveni yabakyalira okuggulawo SACCO yaabwe n’abawa obukadde 500 okwekulaakulanya wabula ssente zino zaabulira mu mikono gya Kitatta n’abatonotono.

Kitatta, ssente mu kifo ky’okuziteeka mu SACCO gye zaalina okugenda, Museveni olwabakuba omugongo, yasalawo okuzikozesa ebibye.

Y’abadde akutula ddiiru z’okukuba abooludda oluvuganya mu Kampala Mu 2011, Dr. Kizza Besigye bwe yatongoza kampeyini ya ‘Walk to Work’, aba bodaboda bangi abaamweyunira ku nkungaana ze yakubanga, akabinja ka Kitatta, kigambibwa nti kaaweebwa ssente mpitirivu okuyamba poliisi okubalwanyisa.

Kayihura bwe yabadde mu palamenti ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, yategeezezza nti, Kitatta n’akabinja ke baayamba poliisi okulwanyisa abooludda oluvuganya Gavumenti abaali batabangula ekibuga.

Okuva olwo, poliisi ne bannabyabufuzi abalala baatandika okukozesa akabinja kano okulwanyisa obwegugungo mu Kampala naddala obwa bannabyabufuzi booludda oluvuganya Gavumenti. Era omusimbi baayoola mungi!

Era, akabinja ke kamu, Kayihura bwe baamukuba mu kkooti e Makindye nga bamuvunaana okukuba abawagizi ba Dr. Kizza Besigye mu 2016, ke kaapangisibwa okukuba bannamateeka b’oludda oluwaabi okwali ne Loodi Meeya Erias Lukwago ku kkooti e Makindye.

 mbyulensi yaba odaboda 2010 Ambyulensi y’aba Bodaboda 2010.

 

Bodaboda ezibadde zikwatibwa Aba bodaboda bwe baakoze omuyiggo ne bookya ofiisi z’akabinja kano ku Mmande, baasanzeeyo nnamba puleeti za pikipiki nnyingi wabula nga zo pikipiki tezirabikako okuggyako entono ezaasangiddwaawo.

Aba bodaboda abaakulembeddwaamu Siraje Mutyaba owa Century Riders Association, balumiriza nti, Kitatta pikipiki ze babadde bakwata babadde bazitema sipeeya ne bazitunda.

Mu kutunda sipeeya wa pikipiki ze bakwata ku bantu ne batazibaddiza, Kitatta mw’abadde afuna ssente z’atakoleredde.

Mutyaba agattako nti, bwe babadde bakwata pikipiki, babadde bafuba okulaba nga nnannyini yo bamukamulamu buli kasente k’aba nako.

Ssente zino teziriiko mbalirira yonna wadde ofiisi endala gye ziraga okuggyako ewa Kitatta, Kafeero Atanansi ne bassentebe abalala.

 

Alina takisi mu Kampala

Mu kunoonya obugagga, bwe yafuna ku ssente, yayingira omulimu gwa takisi era abadde akolagana nnyo n’ekiwayi kya Mustapha Mayambala era bano b’abadde yakwasa takisi ze.

Olumu bwe yali mu lukiiko lw’aba takisi mu Kampala yategeeza Mayambala nti, “ Mayambala omusajja addukanya takisi zange simutegeera nfunira omulala.”

Akabinja ka Mayambala

Ekibinja kya Mayambala okusobola okukiwa obukuumi okuva ku kibinja kya Yasin Ssematimba bwe bagugulana, nakyo kibadde kiriko omutemwa gwe kisasula ewa Kitatta.

Era, alina ebizimbe ebivaamu ssente mu bitundu bya Kampala ebitali bimu n’ekifo we booleza mmotoka e Lubaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.