TOP

Kitatta alina ke yeekoledde

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2018

ABDALLAH Kitatta musajja mugagga okusinziira ku bintu bye. Alina amaka gagadde ge yazimba e Kabojja Zooni B agabalirwamu obuwumbi bwa ssente, alina ama­yumba g’abapangisa okuli ne ka­lina agasangibwa mu bitundu eby’enjawulo okuli Busega ne Kyengera.

Kitattahouse1 703x422

Kitatta

Bya BASASI BA BUKEDDE

ABDALLAH Kitatta musajja mugagga okusinziira ku bintu bye. Alina amaka gagadde ge yazimba e Kabojja Zooni B agabalirwamu obuwumbi bwa ssente, alina ama­yumba g’abapangisa okuli ne ka­lina agasangibwa mu bitundu eby’enjawulo okuli Busega ne Kyengera.

Ag’e Busega galiraanye loogi ya Half London. Kigam­bibwa nti Kitatta okufuna amayumba gano yawanyisig­anya n’omutuuze Peter Kindi n’amuwamu amaka ge agas­ooka agasangibwa e Busega mu Kitakka zooni.

Abadde n’olutobazzi lwe yaakatunda oluwezaako obugazi bwa yiika nnya nga luno yaluguzizza Hajji Kafuba, alina edduuka eritunda ebizim­bisibwa e Seguku eriyitibwa Kitatta Hardware.

Yaddukanyako ekifo ekiyitibwa S.L Restaurant and Washing Bay e Busega. Mu biseera ebyo, kigambibwa nti ekifo kyali kya bbulooka w’ettaka n’amayumba ayitibwa Katabalwa ow’e Makindye naye nga kikaayanirwa n’omuntu. Katabalwa kigambibwa ye yakikwasa Kitatta akiddukanye era n’amuyamba okukkak­kanya n’eyali akikaayanira bwe yamuggalira. 

 Oluvannyuma nga Kitatta atereezezza embeera, ekifo ky’adda mu mikono gya Kata­balwa n’okutuusa kati.

 maka gabadde azimba e akasajja Amaka g’abadde azimba e Nakasajja.

 

Kitatta alina n’ettaka eri­sangibwa e Nakasajja eriwer­ako obwagaagavu bwa yiika 6 kwazimba amaka galikwoleka, ekyuma kya kasooli n’olusuku olunene ddala.

Abantu abawangadde ne Kitatta okuva mu buvubuka bwe abata­ayagadde kwatuukirizibwa mannya baategeezezza Bukedde nti wabula bo Kitatta gwe bamanyi yali muvu­buka mukakkamu era omwetowa­ze gw’olinnya nako n’ogenda.

“Natandika okulaba Kitatta ng’akyayambala mpale nnyimpi kuba yali akola bwayaaya ewa ssentebe w’ekyalo Lauben Kibazo nga yamukolera okumala ebbanga ddene.

Bwe yakulamu yamuyigiriza okuvuga emmotoka n’afuuka dere­eva wa Kibazo okumala ekiseera ne bwe yava ku bwa ssentebe bwa Kitaka zooni.

 mu ku nnyumba za itatta zazimbye mu kaseera akatono Emu ku nnyumba za Kitatta z’azimbye mu kaseera akatono.

 

Kibazo yamwagala nnyo era okwandibadde ng’okumusiima yamuzimbira ennyumba ya bisenge bibiri wansi ku lutobazzi mu 2005 era wano Kitatta we yasinziira okutandika okutambuza obulamu n’okugaziwa.

Kitatta y’omu ku bantu abatano abasooka okusenga mu lutobazzi luno ne baalimirangayo amayuni. Bano be baagendanga baguza abantu poloti ekitundu ne kigazi­wa.

Mu 2010 yatan­dika okwenyigira mu byobufuzi bwe kibiina kya NRM era yanoonyeza Peter Ssematimba akalulu mu kamyufu n’awangula era wano we yafunira omuk­wano ku yali RCC wa Lubaga, Zaina Muwonge eyamuwa emmotoka ye eyas­ookera ddala.

Yeeyongera okukola erinnya n’okumanyika mu Lubaga bwe yaleeta bodaboda nga ziwan­diikiddwaako “bodaboda 2010” n’azitongoleza mu makaage,” omukyala eya­gaanyi okumwa­sanguza amannya bwe yategeezezza Bukedde.

 maka ga itatta age akiso Amaka ga Kitatta ag’e Wakiso.

 

Yagasseeko nti Kitatta bwe yali atongoza ekibiina kya “bodaboda 2010,” kyalimu baganda be, bakoddomi be abaawasa ban­nyina n’abamuwa abakyala n’emikwano gye egy’oku lusegere bwe babadde bakyali ng’era bbo baali baki­manyi ng’ekintu kya famire.

Yagasseeko nti: wabula abantu bakyuka kuba okusinziira ku mpisa n’obukakkamu Kitatta bwe yalina mu buvubuka nga tannayingira byabu­fuzi, bw’omusanga kati weewuunya kuba yali talina buzibu ku muntu yenna. Yadde byonna bibad­dewo, abatuuze b’oku kitundu be yatandika nabo abadde atera oku­jja n’abalambula n’okubabuuzaako n’abamu abaali balemeddwa oku­tunda n’abawa amagezi batunde ekifo kikule.

 mayumba ga itatta agabapangisa e usega Amayumba ga Kitatta ag’abapangisa e Busega.

 

KITATTA YANGUZA ETTAKA LY’EKKANISA

Henry Nsubuga owa Obama Wash­ing Bay e Busega n’okutuusa kati akyewuunya obukujjukujju bwa Kitatta bwe yatuuka okumuguza ettaka ly’ekkanisa omwali n’oluzzi ng’amukakasizza nti lirye bwoya.

“Bwe namugamba tukole endagaano yankakasa nga bwe ssaalina kweraliikirira kuba et­taka lirye tewali abanja yadde ajja okumugobaganya,” bwe yategee­zezza nti era bakkiriziganya amuwe obukadde 4 ng’azisasula mu bitun­dutundu ku kitundu kya ffuuti 40 ku 40 naye ng’amutegeezezza nti tebeetaaga na kukola ndagaano.”

Nsubuga agamba nti bwe yatan­dika okuzimba ekifo wagenda okussa ekyuma ekikuba amazzi, abakulira ekkanisa ne bamuyimiri­za nga bagamba nti ettaka lyabwe.

Yasalawo akkaanye n’ekkanisa kuba baali bamaze okumulaga ebiwandiiko ebituufu era n’agenda mu maaso n’okuzimba.

Annyonnyola nti ekyamwewuu­nyisa ate, aba agenda mu maaso n’okuzimba Kitatta n’akunga abatuuze bamulemese nga baki­muteekako nti yali assa amasan­nyalaze mu luzzi era olutalo poliisi y’e Nateete ye yalukkakkanya nga n’abamu ku baali bazimba baak­watibwa ne baggalirwa ku poliisi e Nateete.

 

 ashing ay e usegaitatta Washing Bay e BusegaKitatta

 

MUKWANO GWA KITATTA ABISAMBAZZE

John Bosco Nyanzi, ono Nsub­uga gwalimiriza okukozesebwa Kitatta era nga gwe yakwasa nti n’emitwalo 50 ge yali asasuddeko ku poloti bwe yatuukiriddwa bino byonna yabisambazze n’agamba nti Nsubuga abyogera lwa mpalana z’emirimu z’alina ku Kitatta.

Ayongerako nti Kitatta yali alina Washing Bay okuliraana eya Obama Nsubuga gyaddukanya era nga bonna beetaaga amazzi awo we wasibuka olutalo n’akissa ku Kitatta nti yali amuguza ettaka ly’e kkanisa naye nga si bituufu.

 maka ga itatta mwe yasooka okubeera e usega Amaka ga Kitatta mwe yasooka okubeera e Busega.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo