TOP

Omujaasi awambye omusuubuzi w'ettaka

By Musasi wa Bukedde

Added 26th January 2018

POLIISI eyigga omujaasi w’enkambi y’e Kakiri aba famire gwe balumiriza nti yabuzizzaawo omusuubuzi w’ettaka Alex Lutaaya owa Sure Deal Properties e Nansana.

Tash1 703x422

Aba poliisi n'amagye mu kifo we bawambidde Lutaaya.

Bya ROGERS KIBIRIGE

POLIISI eyigga omujaasi w’enkambi y’e Kakiri aba famire gwe balumiriza nti yabuzizzaawo omusuubuzi w’ettaka Alex Lutaaya owa Sure Deal Properties e Nansana.

Lutaaya abadde asula ku nnyumba eri mu kikomera kye kimu n’omujaasi Lt. Col. Robert Lutainama e Mpunga - Kasahombe mu Wakiso.

Tracy Nandawula omu ku bawala ba Lutaaya alinda bigezo bya S4, yategeezezza nti yabadde yeebase n’awulira akavuvuhhaano era yagenze okuva mu kisenge yaggukidde ku basajja abaabadde ne Lutayinama nga batulugunya kitaawe ne bamulagira okudda mu kisenge ne bamugaana n'okukuba enduulu.

Zaabadde ssaawa 7:00 ez'ekiro ekyakeesezza ku Lwokuna, abantu ne bakonkoka ku nnyumba ya Lutaaya, omukozi w’awaka Ivan n’abaggulira.

Baalumbye Lutaaya mu kisenge nga yeebase ne bamukwata era baatandikiddewo okumutulugunya nga bw’alaajana.

 utaaya eyabuziddwaawo Lutaaya eyabuziddwaawo

 

Omukuumi Steven Sande eyabadde wabweru yalabye Lutayinama ne banne era yawulidde okulaajana n’atya okubahhaanga kwe kusalawo okukasuka amayinja ku bbaati bwe batyo abaabadde munda ne bagugumuka nga Lutayinama bw’abuuza ani eyabadde azze ne yeekweka mu lusuku.

Lutayinama ne banne baggyeyo Lutaaya ne bamuyingiza mu nnyumba yaabwe ne bongera okumukuba n’alajaana.

Abaana badduse ne bagenda ku poliisi okugitegeeza nti kitaabwe baabadde bamutta kyokka poliisi yagenze okutuuka nga bagenze ne Lutaaya nga bamututte era we bwakeeredde nga tebannaba kumanya gy'ali.

Annet Ndagire mwannyina wa Lutaaya yasabye aboobuyinza babayambeko okuzuula awali omuntu waabwe kuba eyamututte mujaasi wa Gavumenti.

Eggulo limu Lutayinama yatabuse ne mukyala we Shirah Mutoni Kama n’amugoba.

Omukazi olwageze, Lutayinama abaana n’abatwala ewa Lutaaya n’amutegeeza nti yabadde abamuwadde abalabirire. Ensonga Lutaaya yazitutte ku poliisi y'e Wakiso n’aggulawo omusango.

Abaana ba Lutayinama yabaleseewo nga tebaliiko ayamba n’abulawo.

Poliisi ng'ekulembeddwa Jastus Tashobya, aduumira poliisi y'e Wakiso baagenze mu nnyumba ya Lutayinama ne basanga essuuka mu kisenge nga zibunye omusaayi.

Abaana baategeezezza nti nga bakyabeera e Mutungo gye baasenguka okudda e Wakiso, Lutayinama bwe yatabukanga ne baliraanwa be ng’abakwata n’abayingiza mu nnyumba ye n’abakuba.

Omwaka oguwedde Lutayinama yalwana ne mukama we Col. Joseph Balikuddembe eyali akulira enkambi y’e Kakiri n’amukuba bubi.

Lutaaya abadde yakagula emmotoka Mark Grand UBB 063L efaanana n’eya Rutayina.

Mutoni olwategeezezza bba nti Lutaaya abadde aguze emmotoka efaanana eyiye weyatandikidde okutabuka ng’amubuuza bwe yabitegedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze