TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi attottodde olukwe olwatta omukozi wa Case Hospital

Omukazi attottodde olukwe olwatta omukozi wa Case Hospital

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2018

OMUKAZI gwe baakutte nga kiteeberezebwa nti yali mu lukwe lw’okutta omubazi w’ebitabo mu Case Hospital bamwogezza engeri olukwe gye lwalukibwa.

Bolamu 703x422

Nannyondo. Ku ddyo ye mugenzi Ekalungor

Resty Nanyondo kyokka olumu nga yeeyita Nalunga akolera mu bbaala emu e Mutungo mu Kampala yasoose kukkiriza nti yali amanyi Francis Ekalungar eyali akola ku ddwaaliro lya Case wabula n’awambibwa nga January 2, 2018 n’attibwa n’omulambo ne bagwokera okumpi ne Kajjansi.

Resty ng’abeera Kabuuma – Busaabala yattottodde byonna ebyaliwo nga Ekalungar asimbula emmotoka ye ku ddwaaliro okugenda ku Bbanka n’engeri gye baamugoberera okutuusa lwe baamukwata.

Bwe baamukwata baamuggya mu mmotoka ye Premio UAW 899U ne bamussa mu mmotoka endala Super Custom UAU 506A eteeberezebwa okuba nga mwe baamuttira ne batambulizaamu omulambo okugutuusa e Kajjansi gye baagukumirako omuliro.

Emmotoka eno Super Custom kigambibwa nti ya Bodaboda 2010 ate emmotoka ya Ekalungar nayo oluvannyuma baagikwatidde e Kabowa mu Kampala ng’eri mu kikomera era nga bagikyusizza ennamba ne bagissaako UAT 764L wabula ate amataala gaayo baabadde tebannagakyusa nga gakyaliko ennamba enkadde UAW 899U.

OMUKAZI ATTOTTOLEDDE BAMBEGA EBYALIWO

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire yagambye nti Resty yabuulidde bambega nga bwe yatukirirwa Muzamiru Mawa ng’ono ye ddereeva wa Dr. Kato Ssebbaale n’amutegeza nga bw’ayagala okubaako omuntu gw’ayagala okulondoola era n’ayingiza omukazi ono ddiiru y’okulondoola Ekalungar.

Yattottodde nti, Mawa yali atera okugenda ku bbaala e Mutungo era we yamusanga okumuyingiza mu ddiiru.

Resty bwe yabuuza Mawa ekimutabula ne Ekalungar nti n’amutegeeza ng’omusajja oyo bwe yali ayagala okumulemesa omulimu. Nti Mawa yategeeza Resty nga Ekalungar bwe yali amutaddeko eky’okubba eddagala ly’eddwaaliro era n’amusaba amuyambe amulondoole.

Wabula Resty nti teyasooka kumanya nti ebigendererwa byalimu okutta.

Ku lunaku lwe bawamba Ekalungar, Resty yagenda ku ddwaaliro lya Case era kkamera ziraga ng’atuuka ku ddwaaliro era y’omu ku kkamera be ziraga nga beetayirira emmotoka ya Ekalungar eyali esimbye mu luggya lw’eddwaaliro.

Mu kujja ku ddwaaliro, yali awuliziganya ne Mawa ku ssimu.

OMUSAJJA BAAMUTTIRA MULUNGU - MUNYONYO

Resty yattottodde nti oluvannyuma lw’okuwamba Ekalungar nga tannatuuka ku bbanka gye yali atwala ssente, Mawa ne banne okuli Huzairu Kiwalabye (muganda wa Abdallah Kitatta), Deo Yiga n’abalala bana abakyanoonyezebwa, baamutwala e Mulungu –Munyonyo gye baamuttira oluvannyuma omulambo ne bagutwala e Kajjansi ne bagukumako omuliro.

Emmotoka ya Ekalungar baali bamaze okugikwasa bannansi ba Congo ababiri Kikandi Muhindo ne David Bizimani abaagitwala mu kikomera e Kabowa era we baabakwatidde baabadde mu ntegeka ezigitwala mu D.R Congo bagitundire eyo.

Owoyesigire yagambye nti bambega baakizudde nti abantu 8 be beenyigira obutereevu mu kutemula Ekalungar kyokka mu kiseera kino baakakwatako abantu 4 nga omu ku bbo ye nnannyini maka we bamuttira e Mulungu – Salaama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam