TOP

Abajjanjaba Moze baddukidde wa Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2018

ABAJJANJABA b’omuyimbi wa Goodlyfe Moze Radio baddukidde mu State House okubayamba ku ssente z’eddwaaliro ezirinnya buli olukya.

Mana 703x422

Bryan White (wakati) ng’akwasa Chameleon ssente oluvannyuma eyaziwadde Jane Kasubo maama wa Moze (ku ddyo)

Kigambibwa nti omutendera ogusooka ogw’obujjanjabi gwandimalawo obukadde nga 75 ate nga zikyeyongera.

Eggulo embeera ya Moze yabadde etandise okulongooka era waliwo nti yandidda engulu kubanga bamuggye ku ‘Oxygen’ (soma okisigyeni) olw’obujjanjabi n’abasawo abakugu abagenda mu maaso okumukolako.

Omuyimbi Catherine Kusasira ne Ssaabavvulu Balaam Barugahare be batuukiridde amaka g’Obwapulezidenti nga bayita mu Lucy Nakyobe ne Maj. Gen. Proscovia Nalweyiso be baategeezezza ku mbeera omuyimbi gy’alimu n’ebizibu ebyamutuukako ne basaba Pulezidenti Museveni abayambeko ku bujjanjabi kubanga ssente ezeetagibwa nnyingi ate Moze we yafunidde ebizibu nga talina ssente.

Kusaasira gwe twayogedde naye eggulo yategeezezza nti, Moze y’omu ku bayimbi abaayimba oluyimba lwa NRM ‘Tubonga Naawe’ ssaako okuyimba ku nkung'aana za Pulezidenti mu kiseera we yali anoonyeza obululu kale y’ensonga lwaki baddukidde ewa Pulezidenti amuyambe mu buzibu bw’alimu.

“Okusaba kwaffe kwatuuse ewa Pulezidenti era singa leero (Lwakutano) terubadde lunaku lukulu ssente zibadde zivaayo leero naye olw’okuba Pulezidenti ali ku mikolo gy’amenunnula ate enkya (Lwamukaaga) wiikendi obuyambi tubusuubira okutandika ne Mmande.

ABAFERE BAYINGIDDE MU NTEEKATEEKA ENO

Emma Mulondo omu ku bamaneja ba Goodlyfe agamba nti, waliwo abantu abatandise okufera abantu nga bayita ku mikutu gya yintaneeti nga balaga nga bwe baaweereddwa obuvunaanyizibwa okukuhhaanya ssente z’obujjanjabi.

Mulonda agamba nti, bano bafere tebalina kubawuliriza wabula omuntu alina obuyambi alina kubutwala ku ddwaaliro lya Case Hospital awali omulwadde abuwe abakola ku kumujjanjaba okuli maama we oba bamaneja b’ekibiina Emma Mulondo ne Chagga.

Mulondo yategeezezza nga bwe basobodde okusasula ssente obukadde 15 naye ssente nnyingi zikyetaagisa olw’obujjanjabi n’ebbanga omulwadde ly’asuubirwa okumala mu ddwaaliro.

EKYABADDE KU DDWAALIRO

Omugagga Bryan White ng’awerekerwako Jose Chameleon n’ebbiina ly’abantu okwabadde abayimbi n’aba bodaboda beeyise ku ddwaaliro lya Case Hospital ku Buganda Road nga baagala okulaba ku muyimbi waabwe Moze.

Bano baalemesezza abaserikale abaabadde babatangira okuyingira ne bakozesa kifuba okweyiwa munda kyokka mu kasenge mw’ali bakkirizzaayo abantu bataano okwabadde Bryan White eyawaddeyo ssente 25,000,000/- ate n’omusawo eyasooka okuyamba Moze n’amuwa ssente 5,000,000/- mu mpeke n’asuubiza okubongera endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...