TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mwenyigire mu nkulaakulana y'obutaka by'ebika byammwe - Mayiga

Mwenyigire mu nkulaakulana y'obutaka by'ebika byammwe - Mayiga

By Dickson Kulumba

Added 28th January 2018

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti obutaka bw’ebika y’ensibuko y’Ekitiibwa kya Buganda n’olwekyo waliwo ebbanja ddene okumanya ebibifaako, okulamaga ku butaka saako okwenyigira mu kaweefube w’okubukulakulanya.

Kyasa1 703x422

Katikkiro Mayiga ng'awuubira ku bantu oluvanyuma lw'okuggulawo enju eyazimbiddwa ku butaka bw'ekika ky'ekinyomo. Ate ku kkono ye Samson Nabbimba Nakigoye omukulu w'ekika ky'ekinyomo. Omukolo gwabaddewo nga January 27,2018.

Bino yabyogeredde ku Butaka bw’ekika ky’Ekinyomo e Kyasa mu ggombolola y’e Kyanamukaka e Masaka mu Buddu ku Lwomukaaga January 27, 2018 nga baggulawo enju amatiribona eyazimbiddwa mu kifo kino n’okutongoza oluyimba lw’ekika.

“Tulina ebbanja ddene okusooka okumanya obutaka bwaffe, weddira otya Ekinyomo nga totukangako Kyasa? Tulina obuvunanyizibwa okulamaga ku butaka kuba Yesu okugenda okuzaalibwa ab’olubu lwa Daudi bali bagenda kulamaga-(Abalokole abataputa ebintu ebikwata ku bika ekifuulannenge kye balina okumanya), tulina obuvunanyizibwa okukulaakulanya obutaka kuba guno omulembe gwetulimu ebintu biddukira ku sipiidi ya yiriyiri,” Mayiga bweyambye.

Katikkiro Mayiga yakubirizza abantu naddala abalina ensimbi n’abali mu bifo ebyawaggulu okuwagira emirimu gy’ebika nga Dr. Herman Kigoye Byansi eyawaddeyo ensimbi ennyingi eziwera obukadde 100 okuzimba omutendera ogusooka ogw’enju eno.

“Nkubiriza abantu ba Buganda bonna okuwagira enteekateeka z’ebika by’ebika byabwe, mukuume obuwangwa bw’ebika byammwe era mukuume ebifo ebikulu eby’ebika byammwe. Mukuume embuga ez’ebika era mutwaleyo enkulaakulana. Bw'oba oyitibwa Kalinzi, Kankaka, Muwawu oteekwa okubeerako ky'okola okulaga nti weddira Kinyomo ng’oggyeeko erinnya eryo. Okweddira Ekinyomo tekisobola kukoma ku linnya lyokka. Olina okwenyigira mu nteekateeka z'ekika ne bwekuba kulamaga. Nkubiriza ebika byonna okutuuzanga enkiiko mu  masiga, emituba, ennyiriri, mu mpya kuba ezo enkiiko bwe zitatuula ate ku kasolya nayo tezisobola kutuulayo. Nkubiriza abazzukkulu bonna mu Buganda tutwale akalombolombo ak’okulamaga nti kakulu ate bwemujja, muleete abaana nga bwendabye wano,” Mayiga bwe yakunze abantu ba Buganda.

Ye Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Fredrick Kasibante Kayiira Gajuule yakubirizza Abataka okuyingiza abavubuka mu mirimu gy’ebika kubanga kino kyakuyamba okutumbula enkulaakulana mu bika ate n’asaba abazzukulu okubeera obulindaala, Kabaka bwalisiima okulambula Obutaka obusangibwa mu masaza gy'abeera alambudde, babeerengawo mu bungi.

Omutaka Samson Nabbimba Nakigoye akulira ekika ky’Ekinyomo wamu ne Katikkiro we Mathias Kigoye beebazizza ABANYUMA (Abeddira Ekinyomo) olw’okujjumbira emirimu gy’ekika era ne bategeza nti oluvannyuma lw’okuteeka enju ku butaka, Okulamaga kwakubeerangawo buli mwaka.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako