TOP

Bebe Cool atwala Weasal mu kkooti

By Martin Ndijjo

Added 30th January 2018

Entabwe yavudde ku Weasel ng’ayita mu mikutu gya yintaneti okulumiriza Bebe Cool nti yabadde afunye ssente obukadde 40 okuva mu maka g’Obwapulezidenti ezaamuweereddwa okujjanjaba Moze kyokka nti Bebe Cool n’azisirikira.

180109065025 703x422

Ng’abajjanjaba Moze basobeddwa olw’embeera ate kati gy’alimu, ssente ezinoonyezebwa okumujjanjaba zitabudde munnywanyi we omuyimbi Weasel (Douglas Mayanja) ne Bebe Cool (Moses Ssali).

Entabwe yavudde ku Weasel ng’ayita mu mikutu gya yintaneti okulumiriza Bebe Cool nti yabadde afunye ssente obukadde 40 okuva mu maka g’Obwapulezidenti ezaamuweereddwa okujjanjaba Moze kyokka nti Bebe Cool n’azisirikira.

Kino kyasaanudde Bebe Cool n’ategeeza nga bw’akooye olummanyimmanyi lwa Weasel ne banne era nti ku mulundi guno amutwala mu kkooti lwa kumulebula “Weasel ku luno mmutwala mu kkooti. Njagala akule kuba kati azadde n’abaana naye takula.

Ajja kwejjusa okundebula,” Bebe Cool bwe yaweze enkolokooto.

Bebe Cool yeegaanyi eby’okufuna ssente okuva mu maka g’Obwapulezidenti n’agattako nti okwewala ebigambo by’abavubuka ba Goodlyfe nga bye batandise okumusalako y’ensonga lwaki ne bwe baamutuukira nga Moze aweereddwa ekitanda nga bamusaba abatuusize okusaba kwabwe eri Pulezidenti abaddukirire n’obuyambi yaagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana